ENNYANJULA
Ekibiina Ky’olulimi Oluganda (EKO) ekiwandiise mu Gavumenti eya wakati nga Ekitongole ekitakugirwa migabo. Kyawandiisibwa mu mwaka gwa 2011.
Kyali ekimu ku bitongole ebikola minisitule ya Obuwangwa n’ennono. Kyokka mu mwaka gwa 2018, Ssaabasajja Kabaka yasiima n’ateekawo minisitule ya Oluganda era ne kiyingira butereevu mu Minisitule eyo. Kyokka minisitule eyo baagigatte ne minisitule endala ne ziba nga zikulemberwa minisita omu: Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi, Ebifo ebyenkizo, Embiri, Amasiro, Oluganda ne Ebyokwerinda.
2.0 Ebyafaayo:
Mu 1947 empandiika y’oluganda yatereezebwa era n’ekakasibwa gavumenti ya Buganda awamu ne gavumenti ya wakati. Omulimu guno gwakulemberwamu Dr. A.N. Tucker ne bammemba abalala 34 abaava mu gavumenti ya Buganda.Kino kyakola omusingi omugumu ogwesigamizibwako ebiwandiiko by’Oluganda okusobola okutereeza enjatula y’ebigambo, empandiika y’olulimi, ensoma entongole, okunoonyereza ku byobuwangwa n’amagezi g’ekinnansi.
Mu 1950, EKO kyatandikibwawo n’ebigendererwa bino,
Okulwanirira enkozesa y’Oluganda entuufu mu bitongole bya Buganda ebyenkulaakulana.
Okukuuma, okutaatira n’okutumbula obuwangwa bwa Buganda nga tuyita mu nkozesa y’Olulimi Oluganda entuufu..
Okutumbula okusomesa n’okutendeka abantu empandiika y’Oluganda entongole kibeere omusingi gw’okukulaakulanya olulimi.
Okwagazisa abantu enkozesa y’Oluganda n’okubaleetera okufuna obuvumu/ okwemanya nga bakozesa olulimi Oluganda.
Okutumbula okunoonyereza n’okuteekawo obukakafu ku binoonyerezeddwako ku lulimi Oluganda n’obuwangwa nga kino kijja kuyamba abazzukulu ba Buganda abalibeerawo mu biseera by’omu maaso.
Okukulemberamu enzivuunula entuufu ey’ebiwandiiko ebisomesebwa, engabana y’obubaka n’okwongerayo okusoma.
3.0 Entandikwa ya EKO:
Bano wammanga be batandisi baakyo okuviira ddala mu 1948, okutuuka lwe kyatongozebwa mu 1950. Omw. Micheal NSIMBI Bazzebulala nga ye Ssaabawandiisi waakyo.
Dr. Micheal Nsimbi Bazzebulala
Omw. Joseph S. Kasirye
Omw. E. M. Ssali
Omw. M. M Kamya
Omw. E. K. Kibirige
Omw. L. Kalya
4.0 Ekigendererwa kya EKO eky’awamu
Ekigendererwa kya EKO kwe kukuuma, okutaatira n’okutumbula enkozesa y’olulimi Oluganda ennungi olwensonga nti gwe mukutu gw’empuliziganya era empagi sseddugi mu kukuuma n’okutumbula ebyobuwangwa. EKO kijja kukulemberamu okusaasaanya olulimi Oluganda n’okulugatta ku ezo ezikozesebwa mu bitongole by’enkulaakulana.
5.0 Obwannakibiina bwa EKO.
Obwannakibiina bwasengekebwa mu miteeko gino wammanga;
bannakibiina aba bulijjo, Bano babeera basasudde ensimbi zaabwe eza buli mwaka ezaabagerekerwa nga ssemateeka bw’alagira. Babeera waggulu w’emyaka 18. Mu bano mubeeramu n’abayizi ku mitendera gy’ensoma gyonna.
Bannakibiina ab’olubeerera. Bano basasula lumu ensimbi ezaabagerekerwa ne basobola okubeera bannakibiina ab’olubeerera nga bwe kiragibwa mu ssemateeka wa EKO n’olukiiko lwa bonna.
Ebibiina ebyafuna obwannakibiina. Bino bitongole oba matendekero agawagira ebigendererwa bya EKO era bisasula ensimbi z’obwannakibiina eza buli mwaka nga olukiiko lwa bonna bwe lubeera lusazeewo..
Bannakibiina ab’ekitiibwa. Bano bankizo nnyo mu EKO, olukiiko lwa bonna kye luva lubawa ekitiibwa ekyo.
6.0 Entegeka y’obukulembeze mu EKO
Bino wammanga bye bikonge bya EKO ebikulu.
Olukiiko lwa bonna. Luno lubeeramu buli munnakibiina kya EKO, gamba nga, bannakibiina ba bulijjo, ab’olubeerera, ab’olukiiko olukulembeze, ab’ebitiibwa, ab’ebibiina ebyafuna obwa mmemba n’ab’akakiiko akawandiisi.
Omuyima. Ssaabasajja Kabaka ye muyima waEKO.
Akakiiko akakulembeze. Akakiiko kano kabeerako abantu 15 abaweereza okumala emyaka ena. Ke kabaga amateeka era ne kalondoola enzirukanya y’emirimu mu kibiina.
Akakiiko akawandiisi. Kakulirwa omukulembeze ow’oku ntikko era kabeerako abakozi abalina obumanyirivu okusobola okuteekesa mu nkola enteekateeka ne pulojekiti z’ekibiina .
7.0 Obukulembeze bwa EKO.
Okuva mu 1950, bano be babadde abakulembeze b’Ekibiina:
Omulangira Kayima 1950 – 1953
Omw. J. S Kasirye 1953 – 1954
Omumbejja Ndagire 1954 – 1963
Dr. M.B Nsimbi 1963 – 1987
Prof. L. Walusimbi 1987 – 2003
Oweek. Arthur Bagunywa 2003 – 2012
Dr. Adam Kimala Nsubuga 2012 – 2018
Omw. Lukabwe Fred Kisrikko 2018 – 2023
Omuk. Nansubuga Grace Lubowa 2023 – Okutuusa leero.