OKUKOMAGA MU BUGANDA

ENNYANJULA

Omutonzi bwe yali atonda buli ggwanga yaliwangamu ebintu ebyefaanana byokka. Era omwo mwe muva enjawulo mu mawanga ag’enjawulo. 

Buganda nga erimu ku mawanga amatonde, nalyo lirina ebintu ebiryawulwa ku mawanga amalala nga kiva ku ntonda n’okuwanga kwa kwa lyo.

Muno mulimu: Ensinza, obukulembeze, emmere n’enva, emirimu n’ebikozesebwa mu mirimu, emikolo, obulombolombo emizizo n’empisa. 

Ennyambala: Kimanyiddwa nti Abaganda bazze bakulaakulana mu nnyambala yaabwe okuva ku mirembe egizze giddiriŋŋana. Okusinziira ku nsoma y’ekiganda ey’ennono nga tuyita ku Kyoto nga essomero ly’Omuganda erisooka, bajjajjaffe baatulaga enkyukakyuka zino nga bwe zajja zikyuka. 

Okusooka mu mirembe egiri emabega wa Kabaka Kimera, Abaganda baayambalanga amaliba g’ensolo. Ensolo ezaalina amaliba amalungi mu mabala era agaaleetera n’okubatuuma erinnya okuva ku nsolo ezo Ngeye, amaliba gaazo ga mabala meeru. Kwe kwava Abaganda okubakazaako erinnya ‘Abalasangeye’ eryava ku kuyigga engeye. Kyokka waliwo ensolo ezifaanana Engeye, zino ze Mmunyungu. Zino zirina amabala abiri okuli eriddugavu n’eryeru. Abantu batera okuzitabula ne bayita emmunyungu engeye.   

Ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera ekyambalo ekyatuumibwa Olubugo olw’okubugiriza obwereere bw’Omuganda kyavumbula omu ku bazzukulu mu kika kye ŋŋonge mu Buganda, era Kabaka ebiseera ebyo naalutongoza nga ekyambalo ky’Abaganda. Yasiima omuzuukulu wa Kisolo oyo era naamutuuma n’erinnya erya Wamala olw’okumala ku Baganda ensonyi.

EBYAFAAYO BY’OLUBUGO

Envumbula y’omutuba okugukomagamu olubugo yatandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera Bisaatobyomere mu kyasa eky’ekkumi n’ebina wakati w’emyaka 1374 – 1413.

  • Omwana wa Ssenkungu muzzukulu wa Kisolo owe Ŋŋonge owookubiri eyayitibwanga Lule ye yavumbula omutuba naaguyimbula naakola olubugo mukikuta kyagwo.
  • Bwe yalutwala embuga, Kabaka naalusiima nnyo era naamulagira ayambe Abaganda bave mu kwesiba ebikoola by’emiti n’amaliba g’ensolo.
  • Wano n’abeera nga yamala Abaganda ensonyi era kwe kumuwa erinnya lya ‘Wamala Abaganda ensonyi!!’.
  • Bwe yamala okusiimibwa Kabaka, yategeeza mugandawe gwe baayitanga Ssonko era naye mutabani wa Ssenkungu, bagende bakole omulimu gw’okukomaga. 
  • Ssonko yabeera mu Lubiri naakomagira ddala era Ssaabasajja Kabaka naasalawo okugenda alabe ku musajja we asiiba nga aboggoza ensaamu era n’asiima omulimu gwe yali akoze era naamuwa erinnya erya ‘Kaboggozansaamu’, n’amugattirako n’omulimu ogw’okukomagiranga Abalangira n’Abambejja mu Lubiri.

Omulimu guno yagukolera ddala era n’aweebwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukomaga Olubugo oluyitibwa ‘LUYIIRA’ lwakwasa Mugema naasumika Omulangira nga alya Obwakabaka.

OMUTUBA OKUVA OLUBUGO.

Omutuba muti munene mu nkula n’amatabi gaagwo maagaagavu ate obukoola bwagwo butonotono. Gumu ku miti egisuula obukoola kyokka nga tegubwatula bukoola bwago kuggwaako. Emirandira gyagwo gibaako obututtwa obutereka omukka ogukola obugimu mu ttaka

Wano mu Buganda gusimbibwa nnyo mu nsuku ne mu mmwanyi. Mu nsimba eno basimba gyesudde akabanga okwewala enzigotta. 

Abaganda batandise okusimba ebibira by’emituba okulongoosa ettaka lyabwe  n’okutumbula omulimu gwabwe obukomazi  ogukulemberwa ekika kye Ŋŋonge, ekika ekyavumbula okukomaga.

Ensimba y’omutuba

Okuva edda ne dda nga Abaganda batema ensimbo (ettabi ly’omutuba) eweza obuwanvu bwa ffuuti 8 – 12 wamu n’obugazi bwa yinki 2.  Ettabi lino balisimira ekinnya nga kigazi ko ffuuti 2 n’obuwanvu ffuuti 1. 

Omuganda azze afuna amagezi agalongoosa mu mirimu gye, mu kusimba omutuba abamu bagiganzika awannyogoga gisooke gikwate emirandira n’okuleeta amatabi olwo ate balyoke bagitwale mu nnimiro. 

Okusimba ebibira by’emituba kyaleeta okuyiiya obwangu mu mulimu guno, olw’okuba nga buli wali ekkongolijjo wamera ettabi, wadde nga kyongeza ebbanga ly’omuti okukula, Abaganda baatandika okukozesa ensimbo (ettabi ly’omutuba ery’okusimba) ennyimpi ddala ne kibawa omukisa okufuna ensimbo eziwerako ku nsimba eri ey’edda, okufuna omutuba ogwegolodde obulungi n’obuwanvu obusaanidde.  

Emirandira gy’omutuba nagyo gimera, era omulandira ogukulidde ku ngulu omutemeko gulokera awo we gutemeddwa ne guvaamu omuti.

Emituba gino gyemeza wano mu Buganda.

Okulabirira omutuba ogukula:

Endabirira:

  1. Omutuba nga gukula, gutemebwako amatabi agamera ku nduli yaagwo nga gukyali muto. 
  2. Omutuba gutemebwako enkisa (emirandira egimera mu makkati gw’omuti).
  3. Omutuba nga gukuze gutemebwako amatabi singa gaba mangi. 
  4. Okuggya omuddo mu nnimiro; okulima, okusaawa, okubikka ennimiro n’essubi. 

Weetegereze:

Okulabirira ennimiro twewalira ddala okufuuyira n’eddagala ery’ekika kyonna nga litta omuddo.

  1. Ettabi erikaze litemebwako. 
  2. Enzirugaze bwemera ku muti egyibwako /etemebwako ko n’embuukizi kyokka guno gwe gusinga okuba embuukizi ku miti emirala. 
  3. Tetusiba nsolo zirundibwa ku mutuba.

Okulabirira omutuba kiva ku nsonga zino:

  1. Okufuna obuwanvu obwetaagisa olw’omulimu ogusimbisizza omutuba ogwo.
  2. Okwewala enzigotta / enzikiza ereetebwa enkula embi ey’omuti guno.
  3. Okwewala omuti guno okutereka ebiwuka n’ebyewalula ebikambwe eri omutuba n’omulimi nga jjegeju n’emisota mu nnimiro.

Ebika by’emituba mu Buganda.

– Butana – Endogo – Njeruka – Entakire

– Nnantu – Akaliba – Entaweebwa – Kirundu      – Nkamuzi – Ennembe – Enserere

Emigaso gy’omutuba mu Buganda.

  1. Ebirandira gibaako obututtwa obutereka omukka ogukola obugimu mu ttaka
  2. Omutuba gusuula obukoola nga bungi ddala:
  • Obukoola buno bukuumira amazzi mu ttaka agayamba ku bimera.
  • Obukoola buvunda ne bukoola obugimu mu ttaka n’okukola ettaka lyennyini.
  1. Omutuba gukola ekisiikirize mu nnimiro, era gutangira omusana omungi eri ettaka n’ebirime nga ebitooke n’emmwanyi.
  2. Omutuba gukuuma ebirime eri embuyaga eyinza okubimenya oba okubisuula.
  3. Nga emiti emirala, omutuba guyamba mu kukola enkumba etonnya mu bitundu. 
  4. Omuganda alandiza emmere erina enduli eteesobola ku mutuba, nga balugu, byettumula, ekikongo, ekisebe n’ebibala nga obutunda.
  5. Okuvumula endwadde:
  • Enkusakusa z’emituba ziyamba omukyala okufulumya ekitanyi (omwana oweemabega) singa aba akyagaanye. 
  • Enkusakusa z’emituba ziwonya amabwa g’omu bulago
  1. Amatabi g’omutuba bwe gakala gakola enku.
  2. Emituba mu Nnono za Buganda gusimbirwa ba Kabaka nga Abalangira ne Abambejja abamuvaamu bonna basimba ku mutuba ogwo. Kyokka waliwo n’emituba emirala mu bo.
  3. Mu Bika bya Baganda mulimu omutendera gw’obuzaale Omutuba
  4. Omusajja Omuganda bw’azaala omwana asimba omutuba nga obulambe bw’omwana oyo, era gwe gulaga abaana b’azaala kwabo ababalige (abatali babe). 
  5. Emituba gikomagibwamu embugo.
  6. Enduli y’omutuba ekola nga omukomago n’ebibajje ebirala.
  7. Omutuba gumu ku miti ogukozesebwa Abaganda okugaziya olulimi lwabwe Oluganda nga bagugereesezaako: ssettuba kadde, terikwesiguza kuziika muliro. Ayuuguuma nga balugu akwata omutuba. Okutuuma amannya abaana Abaganda okugeza Ssettuba. 
  8. Abaganda bateeka essanya n’ekyoto ekifumba eddagala  wansi w’omutuba. 

EBIKA BY’EMITUBA EBISINGA OKUVAAKO EMBUGO

  1. Entaweebwa (Ensonga mukodo)
  2. Enjeruka
  3. Entakire
  4. Butana
  5. Enserere [kuvaako omulundi gumu)
  6. Kirundu (kuvaako omulundi gumu)

ENSIMBA Y’OMUTUBA

  • Otema ettabi ly’omutuba omukulu ettereevu nga liweza ffuuti 8 – 12 n’obugazi bwa yinki 2.
  • Oliyimiriza ku muti okumala wiiki 2 (nursery)
  • Enkondo (olw’okuwangiza ettabi)
  • Ekinnya kya ffuuti 2 obugazi ate obuwanvu ffuuti 1’.
  • Emyaka 3 – 4 okutuuka okuggibwako ekikuta ekisooka.

ENDABIRIRA Y’ENSIMBO

  1. Okuggyako ebiwakatirwa.
  2. Okuggyako enzirugaze.
  3. Okuwangiza guleme kugwa.
  4. Obutakkiriza bisolo kugulumako.
  5. Okutta ebiwuka ebizimbako.
  6. Alima obutakoonako nkumbi.

OKUYIMBULA / OKUSUBULA OMUKAAKU

  • Okumanya obudde oba ebbanga waggirako ekitentegere / omusala

Ebikozesebwa

  • Ejjambiya, omukuutu, akambe, ekibalangulo, enkandaggo/obuyungo (eddaala), ekisoka (ekikolokomba) obusa, endagala.
  •  

OKUKOMAGA KWENNYINI

Ebikozesebwa

  1. Ekkomagiro – Ekifo we bakomagira
  2. Omukomago: gubajjibwa mu; musasa, ovakkedo, omutuba, kibeere
  3. Ensaamu:
  • Esaaka
  • Etenga
  • Ettula
  • Enjeguzi
  1. Empiso – Ekozesebwa mu kubaziira nga olubugo lukomagibwa.
  2. Obugoogwa – Bukozesebwa mu kubaziira nga olubugo lukomagibwa.
  3. Amayinja – gakozesebwa mu kuleega olubugo nga lwanikibwa
  4. Awawanikibwa – Okwanika olubugo.
  5. Etterekero – Okutereka Olubugo.

Ensaamu zibajjibwa mu: nniimu, omucungwa, omupeera, enzo, olusambya.

OKULABIRIRA OMUTI KW’OGGYE OMUKAAKU.

  • Osiimuula waggulu w’okomoledde n’enkata
  • Osabika omuti n’endagala nga ova waggulu.
  • Sibako n’ebyayi wansi woosembera.
  • Ggyako endagala oluvannyuma lw’ennaku musanvu (7).
  • Wembera n’essanja oluvannyuma okumala ennaku nnya.

OKUTEREKA OLUBUGO

  • Ozinga olubugo nga kukaze bulungi.
  • Oluzinga ku bikukujju.
  • Oluwanika waggulu so si wansi.

EMIGASO GY’OLUBUGO.

  1. Olubugo Omuganda alukozesa mu mikolo gy’ennono okugeza:
  • Tusibamu abalongo.
  • Olubugo lukozesebwa mu kusumika 
  • Okwanjula n’emikolo emirala mingi egy’ennono.
  1. Olubugo lugoye lwaffe Abaganda olwambalibwa nga ekyambalo.
  2. Olubugo kikunta kya Muganda kye yeebikka.
  3. Omuganda akozesa olubugo okusiba omugugu.
  4. Olubugo tuzingamu abafu okubatereka obulungi n’okukuuma ebisigalira byabwe nga biri wamu, era Abataka kya Buwangwa okubazinga mu mbugo eziwera. 
  5. Olubugo lutungibwamu ensawo, enkofiira, amaliba g’engatto, emisipi, engoye z’emitto gy’emmotoka n’ebitunge ebirala.
  6. Olubugo lukozesebwa mu kuzimba okwawula omusingi wamu n’okwawula ebisenge mu nzimba y’ebibuga.
  7. Olubugo lutungibwa ku bintu okubikuuma nga ebibajje, ebitabo n’ebirala.
  8. Olubugo lukozesebwa mu kutimba. 
  9. Olubugo lukozesebwa mu busuubuzi era luyingiza ensimbi eri abalimi b’ebituba, abakomazi wamu n’abasuubuzi. 
  10. Olubugo lukozesebwa mu kukuuma omuliro eri Omuganda. 
  11. Olubugo lutangira ensiri eri alwebisse

Engero n’enjogera ebituukira ku Lubugo.

  1. Bakazi baggya kabugo kakadde tekaggwaamu nsekere. (Lug)
  2. Ssettuba kkadde, terikweyuniza kukuuma muliro. (Lug)
  3. Agaasaaka ge gattula, nga akuddako mulungi. (lug)
  4. Amaanyi ga Nnabugi, gamukubya akyali muto. (Lug)
  5. Atamanyi mpewo y’emagombe, yamma omufu olubugo. (Lug)
  6. Bwe bakutenda okukomaga tokoma Nsambya (Njog)
  7. Ekifundikwa kirinsabira, talya bwami.(Lug)
  8. Eyeebikka ebbiri, tamanya asula mpewo. (Lug)
  9. Mwana muwala mutuba, atagusimba yasubula. (Lug)
  10. Omukomago ddiba lya Mbogo, terireegwa omu. (Lug)
  11. Omukomago tegulekerwa omu. (njogera)
  12. Gw’okomaga naye ekibugo y’aba mumwanyi wo.(Njog)
  13. Kitentegere bw’okisubula, tokivaako nga tekusiize masanda. (Lug)
  14. Ekitentegere gye bakyagala gye kituulira ku nkata. (Lug)

Ebisoko:

Okukutwala nga nnabugi si mufungize: Okukutwala nga tebakulekedde budde kwetegeka.

Ebigambo: 

Omukomago: ye nduli y’omuti ogutemeddwa ne guwoolebwako oludda kwe bakomagira.

Ekkomagiro

Ensaamo:

  : Olubugo Omukomazi lw’ayambala nga akomaga

    :  Ekifo ewaanikibwa embugo

Obuleebo:  Amazzi agasammuka okuva mu lubugo nga lukomagibwa

Ekitentegere: 

Omukaaku: 

Enkandaggo: 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *