OKUTUMBULA OLULIMI OLUGANDA
“Olulimi lye Ggwanga-EKO70”
Ennyanjula
Mu 1947, Olulimi Oluganda lwatereezebwa era ne lufuna empandiika eyatongozebwa Buganda ne Gavumenti ya Uganda (Official Authography). Omulimu guno gwakulemberwa Omw. S. M Nsubuga eyali omubaka w’Olukiiko lwa Buganda n’abantu abalala amakumi asatu mu basatu (33) abaava mu Gavumentui ya Buganda nga baweebwa amagezi Dr. A. N. Tucker. Kino kyatuwa omusingi nga Abaganda okutereeza olulimi mu njogera, empandiika, ensoma, n’enkozesa yaalwo mu mirimu egy’ekikugu, ebiyiiye, emizannyo n’okunoonyereza.
Mu kunnyikiza okusoma, okuwandiika n’okufuna amagezi ag’ekikugu, Ekibiina Ky’olulimi Oluganda (EKO) kyatandikibwawo mu 1950 n’ebigendererwa bino:
- Okukubiriza n’okwagazisa abantu okukozesa olulimi Oluganda olutuufu mu mirimu gyonna egireeta enkulaakulana.
- Okukuuma n’okukulaakulanya obuwangwa n’ennono za Buganda nga kiyita mu lulimi Oluganda.
- Okusomesa n’okubunya empandiika y’olulimi Oluganda entongole nga erimu ku makubo ag’okukuza olulimi lwaffe.
- Okuzza mu bantu essuubi n’okwenyumiririza mu kukozesa Oluganda olutuufu mu nogera ne mu mpandiika.
- Okwongera okunoonyereza ku Byobuwangwa n’ennono zaffe, era biwandiikibwe okusobola okuyigirizibwa abazzukulu abaliddawo.
- Okukubiriza abo abalina obumanyi okuwandiika ebitabo n’ebiyiiye mu lulimi Oluganda nga erimu ku makubo agakulaakulanya olulimi.
- Okuvvuunula ebiwandiiko ebiyamba Buganda n’abantu kinnoomu.
Omulimu gw’okutandikawo Ekibiina Ky’olulimi Oluganda gwakulemberwamu bano wammanga:
- Dr. Micheal Bazzebulala Nsimbi
- Omw. Joseph S. Kasirye
- Omw. E. M. Ssali
- Omw. M. M. Kamya
- Omw. E. K. Kibirige
- Omw. L. Kalya
Dr. Micheal Bazzebulala Nsimbi era ye yali Ssaabawandiisi waakyo, Ssaabalangira E. K. Kayima Mpandwa ye Ssentebe eyasooka nga amyukibwa Nnaalinnya Irene Ndagire. Omuwanika yali Omw. J. S. Kasirye.
Okuva mu 1950, bano be babadde abakulembeze b’Ekibiina:
- Ssaabalangira E. K. Kayima Mpandwa 1950 – 1953
- Omw. J. S. Kasirye 1953 – 1954
- Omumbejja Irene Ndagire 1954 – 1963
- Dr. Micheal Bazzebulala Nsimbi 1963 – 1987
- Proffesor Livingstone Walusimbi 1987 – 2003
- Oweekitiibwa Authur Bagunywa 2003 – 2012
- Dr. Adam Kimala 2012 – 2018
- Omukungu Lukabwe Fred Kisirikko 2018 – 2023
- Omukungu Nansubuga Grace Lubowa 2024 – Okutuusa leero (2026)
Omuluŋŋamya / Omwasirizi / Omuyima w’Ekibiina ye Ssaabasajja Kabaka wa Buganda.
Enkola ya Gavumenti eya wakati ku by’obuwangwa n’ennono eya 2006 (National Cultural Policy 2006) ennyonnyola obuwangwa nga engeri ey’awamu ekitundu gye kikulaakulanamu okukuuma n’okukuŋŋaanya ebintu byakyo. Era emirimu gy’Ekibiina gyesigamiziddwa ku nkola eyo.
Ekibiina ky’olulimi Oluganda kino leero kiweza emyaka 75 bukya kitondebwawo. Era kikoze ekisoboka okukuuma olulimi Oluganda. Wabula okunoonyereza kulaze nti, newankubadde olulimi luno kati lwogerwa abantu abasukka mu bukadde abiri (20,000,000) mu nsi yonna, olulimi Oluganda luserebye nnyo mu nsagi zino mu njogera, mu mpadiika era ne mu nkozesa.
Mu ngeri y’emu, kizuuliddwa nti, nga oggyeeko ebigambo by’Oluganda ebimu ebyawandiikibwa mu bukyamu olwokuba nti abaali basobola okuwandiika baali teboogera Luganda, ate nga n’abaali boogera Oluganda baali tebamanyi kuwandiika, waliwo empandiika y’olulimi Oluganda eyandyetaaze okukolamu ennongoosereza.
Mu kkowe lye limu, kizze kyeraga lwatu nti waliwo obutamanya bungi mu Buganda, naddala mu Baganda ku bintu ebibeezaawo omuntu mu bulamu obwa bulijjo oba tubiyite ebyetaago. Kino kiva ku kuba nti amasomo agasomesa ku songa zino gabeera mu Lungereza, olulimi abantu baffe abasinga obungi lwe batategeera. Obutamanya buno buzingiramu enzirukanya y’ebyenfuna, ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi n’obulunzi, ebyobukulembeze n’Obuwangwa. Mu mbeera efaanana bw’eti, ensi yaffe Buganda ebeera etambula edda mabega.
N’olwekyo, enteekateeka ya “Olulimi lye Ggwanga-EKO70” etondeddwawo okujaganya emyaka gya Bbaffe 70 ng’ayuuguuma n’okuwagira Ekibiina ky’Olulimi Oluganda (EKO) ekijaganya emyaka 75 okuva lwe kyatondebwawo olw’ebigenderewa ebyo ebimenyeddwa waggulu.
Okusobola okutuukiriza ebigendererwa ebyo n’okukendeeza ku ndwadde y’obutamanya eyogeddwako waggulu, Abaganda tulina kutongoza misomo gya Luganda nga tuyitira mu masomero ga Buganda agasookerwako n’amatendekero amalala agali ku mitendera egy’enjawulo.
Wabula ate era kigenda kuba kya mugaso nnyo buli maka agasangibwamu Abaganda n’abo abalala bonna abakozesa olulimi Oluganda mu maka gaabwe, okukubirizibwa okwogera n’abaana baabwe mu Luganda okwo gattako EKO okufunira buli maka obutabo bw’Oluganda obutandikirwako ku miwendo emitono ddala.
Enkola eno ey’okuyita mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo okugolola n’okulongoosa mu mpadiika y’olulimi Oluganda enokoddwayo nga emu ku ngeri ezisinga okubeera ez’amaanyi mu kukuuma n’okukulaakulanya ennimi enzaaliranwa mu nsi yonna. N’olwekyo, esaanye etongozebwe Obwakabaka bwa Buganda nga tuyita mu lukiiko lw’Abataka Abakulu Aboobusolya, nga Abayima b’Ennono n’Obuwangwa bwaffe, oluvannyuma Ekibiina ky’Olulimi Oluganda kitandike kaweefube w’okugibunyisa mu Buganda mwonna.
Enkola “Olulimi lye Ggwanga-EKO70” eteekebwa etya mu nkola?
Wammanga gye mitendera egirina okuyitibwamu okusobola okussa enteekateeka eno mu nkola:
- Okwekenneenya ekigendererwa ekikulu ekya “Olulimi lye Ggwanga-EKO70” n’enkomera z’enteekateeka eno.
- Olulimi olulina okusomesebwa: – Oluganda era lwe lulina okusimbibwako essira, okwo gattako okugonza mu masomo amalala era ne gasomesebwa mu Luganda.
- Emitendera emisomo gy’olulimi Oluganda kwe gigenda okubeera: Okuviira ddala ku masomero agasooka okutuuka ku gasembayo waggulu mu Buganda.
- Enteekateeka y’ebinaasomesebwa n’engeri y’okubisomesaamu: Olulimi Oluganda n’emisomo emirala birina kusomesebwa mu biseera bya misomo mu masomero. We kitasoboka masomero kuwa mwagaanya misomo gino kusomesebwa, walina okutondebwawo enkola ey’okugisomesa oluvannyuma nga emisomo gy’amasomero emitongole egy’olunaku giggaddwawo.
- Obuvujjirizi bw’Enteekateeka eno
- Obuyambi okuva mu kitongole kya Gavumenti eky’Ebyenjigiriza
- Newankubadde essuubi lyaffe liyinza okubeera ettono okufuna obuyambi okuva mu bitongole bya gavumenti, tukimanyi nti Makerere University erina ettabi erisomesa ennimi era tusuubira nti gavumenti y’Obwakabaka esobola okukwatagana n’ettabi lino mu nsonga eno. Anti mu Luganda tugamba nti: “Tezifudde………..”
- Okukuuma olulimi Oluganda nga endala zonna, kigwa mu mirimu gy’ekitongole ky’Obuwangwa, Emizannyo ne Katemba. N’olwekyo, ekitongole kino nakyo kirina okutuukirirwa ku by’obuvujjirizi buno.
- Obuyambi okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja- Ssaabasajja ye Muyima w’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda (EKO). N’olwekyo, gavumenti y’e Mmengo yandisuubiddwa okubeera ensaale mu kuwagira enteekateeka ya “Olulimi lye Ggwanga -EKO70” nga eyita mu kitongole kyayo eky’ebyenjigiriza, nga eteekawo omutemwa mu mbalirira yaayo eya buli mwaka.
- Ebibiina by’Obwannakyewa
- Luganda Society: Kino kibiina kya bwannakyewa era nga kyewaayo okusomesa n’okutumbula olulimi Oluganda. Bwe kiba kituukiriddwa kisobola okubaako obuvujjirizi bwe kiyinza okukola naddala mu kufunira enteekateeka eno abasomesa abatendeke obulungi. Okwo gattako ebibiina ebirala ebyettanira okukozesa olulimi Oluganda mu nzirukanya y’emirimu gyabyo.
- Luganda Teachers Association (LTA):
- Ebibiina by’Obwannannyini n’Ensi yonna
- Ebibiina nga First Nations Development Institute, Ford Foundation, W.K. Kellogg Foundation ne UNESCO bitera okuyamba ku nteekateeka ezikolebwa okukuuma ennimi enzaaliranwa n’Obuwangwa mu mawanga ag’enjawulo.
- Amasomero ku mitendera egy’enjawulo
- Kyetaagisa okukolagana n’Obukiiko obufuga amasomero okulaba nga wabeerawo enzikiriziganya okugatta omutemwa ogusaanidde ku bisale by’abayizi okusobozesa EKO okubawa abasomesa b’olulimi Oluganda ku mitendera egy’enjawulo. Enteekateeka eno eyinza okuba ey’enkizo mu kulaba nti buli mwana abaako omutemwa gw’asasula buli lusoma okusobozesa EKO okugenda mu maaso n’okutumbula olulimi Oluganda, naddala nga bwe kiri nti ensawo eno nnyangu ya kutondawo okuwanirira, abasomesa b’olulimi Oluganda, okukubisa ebitabo by’Oluganda, n’okukola okunoonyereza ku ngeri y’okusomesaamu enzirukanya y’ebyenfuna, ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyobulimi n’obulunzi, n’ebyobukulembeze mu lulimi Oluganda.
- Obwegassi n’ebibiina ebirala
- Kyetaagisa okubeerawo enkolagana n’ebibiina ebyenjawulo ebikola ku kutumbula ebyobuwangwa ne zissettedekero ez’enjawulo mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu. Si nsonga ne bwe ziba nga ezimu ku zino zandyagadde kusomesa lulimi lulala.
- Enkolagana n’abantu abakulu abamanyi obulungi olulimi Oluganda okuluwandiika n’okulwogera wamu n’ebyafaayo by’ensi Buganda, okulaba nga beenyigira mu kusomesa wamu n’okuwa amagezi ku nnono y’olulimi Oluganda n’ennono y’Obwakabaka bwa Buganda
- Engeri y’Okussa “Olulimi lye Ggwanga-EKO70” mu nkola
- Okupangisa era n’okutendeka abantu abamanyi obulungi Olulimi Oluganda balusomese mu matendekero ga Buganda ag’enjawulo.
- Walina okutodebwawo ebikozesebwa mu kuyigiriza Oluganda nga bikwatagana bulungi n’Ennono wamu n’Obuwangwa bwa Buganda. Muno tutwaliramu ebitabo, Kalenda z’awaka, ebiweerezebwa ku mpewo, Emizannyo, Katemba, Ennyimba n’ebirala.
- Okwongera okunyweza emikolo gy’Ennono n’Obuwangwa egikyakolebwa mu Luganda. Wano tulina okutunuulira, emikolo gy’Okwanjula, egy’Embaga, Okwabya ennyimbe, Okwalula abaana, enkiiko z’Ebika ku mitendera egy’enjawulo n’emirala…
- Okutambuza emisomo gya Manyennonoyo mu masomero kinnalimu.
- Okutandikawo emisomo gy’olulimi Oluganda egy’abaana abato mu kkakkalabizo lya EKO, ne ku mutimbagano mu biseera by’empummula z’amasomero.
- Buli mwaka okulondoola enkyukakyuka mu nkozesa y’olulimi Oluganda, oluvannyuma lw’okuteeka enkola ya “Olulimi lye Ggwanga” mu nkola.
- Okukuuma enkola eno gye tutaddewo n’okugyagazisa abalala
- Okutondawo obukiiko bw’oku byalo ne ku mitendera egy’ejawulo n’okulaba ng’emikolo emikulu egikolebwa mu Buganda tegikoma mu Kampala, wabula gitambuzibwa mu masaza ga Buganda gonna okusobozesa buli Muganda okugyetabamu. Kino kikolebwa okwongera okunyweza emirandira gy’Ennono n’Obuwangwa mu byalo, abantu abasinga obungi gye babeera.
- Lubeerera okulaga abantu ebituukiddwako mu nkola eno empya okusobola okwagazisa abantu okugenda mu maaso n’okuvujjirira enkola ya “Olulimi lye Ggwanga-EKO70”.
- Okukozesa ebituukiddwako okulaba nga biwaliriza gavumenti okukyusa mu nkola yaayo naddala bwe kituuka ku ngabanya ya ssente mu kitongole ky’ebyenjigiriza; enteekateeka nga “Olulimi lye Ggwanga-EKO70” okubaako omutemwa ogugivujjirira buli mwaka.
Ekiwandiiko kino kiwandiikiddwa Omubaka wa EKO mu Bungereza-
Omuk. Muyimba Lawrence, Omukubiriza w’Ababaka b’Abataka mu Bungereza ne Ireland
Nga 11 Ssebaaseka 2025