
a). Abalangira n'Abambejja ba Mujaguzo
Bano be baana ba Kabaka. Edda Abalangira bonna tebaatuulanga ku Lukiiko lwa Kabaka. Bakyikirirwanga Kasujju Lubinga, oba Kiweewa.
Abataka b'Obusolya be bakulira ebika mu Buganda.
Ekika kye kibiina ky'abantu Abaganda ekyagunjibwawo edda, nga kirimu abantu ab'omusaayi ogumu, n'obujjajja obumu, era nga buli kika kirina obubonero bwakyo obwawufu, era obukulu ennyo busatu; Omuziro, Amannya, Omubala.
Ebika ebimu binnansangwa, ebirala byajja ne Kintu, ate ebirala byajja ne Kimera; Ebirala ne bitondebwawo mu ngeri endala. Buli kika mu Buganda kirimu abafuzi ba ngeri nnya abasinga okumanyika; Omukulu w'Ekika ow'Akasolya, Abakulu b'Amasiga, Abakulu b'Emituba, n'Abakulu b'Ennyiriri.
Omukulu w'Ekika ye muntu alamula ekika kyonna, ng'ali mu busika bw'omuntu abantu b'Ekika ekyo bonna mwebava.
Edda Abakulu b'ebika baabeeranga ba kitiibwa nnyo, era ng'abamu babaggyako akaba nga ba Kabaka. Era abamu kubo, olw'ekitiibwa kyabwe tebaalabanga ku Kabaka, era nga bano boogerwako ng'abataka abatabuuka ssanga. Abamu nga bambala n'ebikomo.
b). Abakulu b'Amasiga
Bano be bayitibwa abaana b'abakulu b'ebika. Era ba kitaabwe baabasimbiranga emituba ku mitala egiri okumpi n'Embuga y'Akasolya. Era bano be balamula ab'Emituba, ab'Ennyiriri n'Empya.
c). Abakulu b'Emituba
Bano be baana b'Abakulu b'Amasiga. Nabo bantu bakulu mu Kika. Wabula tebeetuukira ku bakulu ba Busolya. Bayingira mu bakulu b'Amasiga.
d). Abakulu b'Ennyiriri
Bano be bali wansi w'Emituba, naye nga nabo bafugibwa Bakulu b'Amasiga. Mu mbeera zaffe eza bulijjo, waliwo n'Abakulu b'Oluggya, ate n'Abakulu b'Ennyumba.
e). Mugema
Mugema ye Mutaka ow'Akasolya mu kika ky'Enkima. Obukulubwe mu nnono ya Buganda bwatandikira ku Kabaka Kimera. Olwatuuka nga Omulangira Kalemeera ateeberezebwa okusobya ne muka Katikkiro Walusimbi. Kigambibwa nti Omulangira ono yali ayitirizza okulondoola kitaawe, Kabaka Chwa Nabakka. Yamusingisa omusango era n'alagirwa agende e Bunyoro ewa Kabaka Winyi, akole ebyokuliwa omusango. Yawerekerwako abaana b'Abataka.
Kalemeera bwe yatuuka e Bunyoro yasuzibwa mu nju ya Kaddulubaale wa Kabaka Winyi, eyayitibwanga Wannyana, ow'Enseenene. Teyalwa n'asobya ne Wannyana, era n'afuna olubuto. Wannyana yalina musajja we Katumba ow'Enkima eyamubumbiranga entamu. Katumba yasala mangu amagezi, n'alagula Winyi obutaddayo kutunula ku mukyala we yenna afunye olubuto.
Katumba yasaba Omulangira Kalemeera asiibule mangu adde e Buganda wamu n'abantu be. Ebyembi Kalemeera y'afiira mu kkubo, e Buganda bazza luwanga. Wabula ebyafaayo bino biwanvu nnyo, kubanga eno e Buganda, Abataka baali baanyiigira Katikkiro Walusimbi, era ne bamuggya ku bwa Katikkiro, ne bateekako Ssebwana Owoolugave. Ono
Ssebwana yakulemberera ddala Obuganda okumala emyaka egisukka mu kkumi na musanvu. Abataka abaamanya nti Omulangira Kalemeera yalekayo olubuto e Bunyoro, baateesa ne Nakku Oweffumbe, ne bagenda e Bunyoro okuddukira Omulangira Kimera, eyali amaze okusajjakula, era ng'ayogera Lunyoro.
E Bunyoro Kimera yavaayo n'abantu bangi ddala, nga akulembeddwa Katumba. Abaamanya ku ngeri Katumba gye yawonyaamu Kimera okuttibwa, be baatuuma Katumba erinnya lya Mugema. Mu Lunyoro okugema kitegeeza kuziyiza oba kukwata.
Bwe yali ava mu bulamu, Kabaka Kimera yalaama nti Bakabaka be Buganda bonna bamuteekangamu ekitiibwa kinene ng'omuzadde. Era tafukaamirira Kabaka ng'amulamusa.
Era omulangira yenna bw'aba asikira obwakabaka, Mugema y'amulinnyisa ku Nnamulondo, era n'amusumikira olubugo ku ddyo, era n'amwambaza eddiba ly'ennyana y'ente.
Mugema teyasimbibwangako ffumu oba mpiima. Era lw'afa lwe bamussizaako omusika ng'amaze okubikka akabugo.
f). Kibaale
Omutaka Kibaale yeddira Mpeewo, era ayitibwa musigire wa Kabaka. Mu mpisa z'e Buganda, Kibaale nga y'awozesa Kabaka bw'aba afunye ekitateredde ne baka embuga oba abaami be. Kibaale y'aggula Kabaka bw'aba ayabizza olumbe lw'omulangira oba omumbejja wa Mujaguzo. Obwakibaale bwatandikira ku Kabaka Mutebi I.
Obwakibaale bwatandika bwe buti. Kasoma Nakatanza Owoolugave yali wa mukwano nnyo ne Seryazi Ssebbaale Owempeewo. Kasoma ne munne Ssebbaale baasanga Kabaka ng'amaze ennaku bbiri nga munyiivu ne bakyala be.
Kabaka olwalaba Kasoma n'amubuuza oba anaayinza. okusala omusango Kabaka gwe yali avunaana bakyala be. Kasoma n'akkiriza, era Kabaka n'atandika okuwoza. Kasoma olwalaba nga abakyala gubasinga, n'atya nti Kabaka ajja kubatta.
Kasoma yali akyeboolyaboolya, munne Ssebbaale n'akyasanguza nti mukama wange abakyala gubasinze!!! Kabaka olwawulira ekyo, n'asanyuka nnyo nti "Ggwe Ssekamwa kalungi, akasalira Kabaka emisango" Era kw'olwo kwe yagabira Ssebbaale ekifo Kkungu. Ku musango ogwo, Ssebbaale kwe yaggya obwami obw'okusaliranga Kabaka emisango.
Kibaale nga tatabaala. Asigala mu Lubiri ng'alukuuma. Kabaka bwe yatabaalanga nga Kibaale ne Kaddulubaale bamulinda mu Wankaaki n'abawoleza olutabaalo.
Kibaale bw'afa, anaamusikira abikka akabugo, ate era olunaku lw'azikibwa lwe bassaako
omusika. Ku bukulu n'ekitiibwa kye, kwe kwava enjogera egamba nti "mpaawo kinene kyetwaala, ne Kabaka afugibwa Kibaale". Era Omutaka Kibaale yateranga okuzimbirwa awo kumpi n'olubiri lwa Kabaka.
g). NNABIKANDE MU BUGANDA
Nnabikande ye mulerwa wa Kabaka, amakulu nti y’alabirira Abazaana okuva nga bali ettu lya Mugema okutuuka ku kusumulukuka. Omulimu guno agukola nga ayambibwako omukyala omula ayitibwa Bayomba.
Nnabikande ne Bayomba baba baaluganda ne Nnamasole nnyina wa Kabaka ali ku ŋŋoma mu kiseera ekyo. Kino kikulu nnyo olw’ensonga nti engeri gy’abeera muganda wa Nnamasole ate nga n’okuba Nnamasole ye nnyini y’amulonda , tasobola kukola kabi konna muzaana ono wadde omwana gw’agenda okuzaala kubanga muzzukulu we ye nnyini. Erinnya Nnabikande litegeeza nti alina omulimu munene nnyo okusamba ebikande eby’enjawulo nga anoonyeza omuzaana eddagala erimuyimba okuzaala obulungi
ENGERI NNABIKANDE GY’AKOLAMU OMULIMU GWE
Amawulire bwe gaatukanga ku Nnamasole nti ewa Kabaka waliyo omuzaana alina ettu, Nnamasole yalondanga nga baganda be be yeesiga ennyo n’abawa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira omuzaana oyo, omu yamuwanga erya Nnabikande (nga ye mukulu mu mulimu guno), n’amuteerako n’omuyambi nga ye Bayomba. Abakyala bano baagendanga mu Lubiri nga balina ensimbi emu n’ettembe limu. Ettembe nsigo eva mu kibala ekiyitibwa ekitembe, nga kifaananamu ekitooke, kibeera mu kibira.
Bwe baatuukanga mu nju omwabanga omuzaana ali ettu, nga baganmba nti “Mutuguze muno omuzaana.” Awo omukyla gwe baasanganga mu nju atali oli alina ettu nga abaddamu nti “kale mumugule.” Awo Nnabikande nga awaayo ensimbi n’entembe. Bwe baamalanga okuwayo ebintu bino nga bafuluma n’omuzzana alina ettu, nga yeetisse ensuwa etalimu mazzi nga mulimu olwendo. Abamulabanga bamanyirangawo nti alina ensonga .
Bwe baatuukanga ewa Nnabikande, nga Nnabikande amuyingiza mu nnyumba empya, etasulwangamu muntu mulala yenna. Yamuwanga ebintu ebyokweyambisanga mu bulamu okugeza; ensuwa ,entamu, obwambe, ebibya embugo, era bino byonna byabanga bipya, ekitegeeza nti takyali mukazi wa bulijjo kubanga muka Beene.
Omukyala ono yaweebwanga abazaana abamuweereza, naye teyalyanga nabo mmere, abo be yalondangamu okulya nabo tebaalyanga mmere na bantu balala, tebalwa kusobya mwana ali munda y’omuzaana ono.
Omukyala ono bwe yabanga anywa eddagala bw’eri empisa y’abakazi bonna abali embuto,emabegawe waayimiriranga yo omuwala ekivvuunulwa nti yabanga amukuuma engeri gye yabanga alina ettu, ekyayitibwanga okuba mu busibe, anti yabanga amutereseza ettu nga ye Nnyininsi. Kino kikolebwa okutuuka ono lw’asumulukuka
Omuzaana ono bwe yasumulukukanga, abazaana be baagenda nga mulusuku ne bayunja yo ettooke. Omwana eyabanga azaaliddwa bwe yabanga omulenzi baaliyunjanga ku mukono gwe gwa ddyo ogw’enju y’omuzaana , bwe yabanga omuwala bayunjanga ku mukono gwa kkono. Omugogo bagugogombola bulungi nnyo, era kino kye kyategeezanga abazaana abaabanga balima mu nsuku z’omuzaana nti mugole waabwe yasumulukuse, n’ekikula ky’omwana gwe yabanga azadde.
Oluvannyuma lw’omwana okugwa Nnabikande yabuuzanga omuzaana omuziro gwe nga tannaba kusala kirira (omulongo). Nnabikande bwe yamanyanga omuziro gw’omuzaana olwo n’asala ekirira. Omwana bwe yafiiranga mu ssanya, omuzaana ono baamuzanga mu Lubiri ku lunaku olwo lwe nnyini
Nnabikande yatumanga ewa Kabaka okumutegeeza amawulire agafudde ewuwe (ewa Nnabikande). Omwana bwe yabanga mulenzi nga amugamba nti “Ssaabasajja ozadde omutemu,” amakulu nti mu mpisa z’Abaganda Omulangira yaasikira Kabaka (ono ayinza okumusikira, ne kitegeeza nti mutemu). Omwana bwe yabanga muwala amugamba nti “Ssaabasajja Obuganda obuwadde Omumbejja.”
Omwana bwe yawezanga emyezi nga ebiri, Kabaka yajjanga ewa Nnabikande okulaba ku mwana. Omwana bwe yawezanga emyezi nga musanvu, nnyina yamuleetanga mu Lubiri okukiika, Kabaka yamusisinkananga munnyumba Nnakabunda. Abaana ba Kabaka bwe baatuukanga okwalulibwa, Kabaka yagendanga ewa Nnabikande. Nnabikande naafumba embaga nnene nnyo Kabaka naayalulirako abaana be. Kabaka yaddangayo mu lubiri, bwe bwawungeeranga naaweereza Nnabikande ebirabo bingi nnyo nga amwebaza okusamba ebikande. Ku birabo bino Nnabikande yagabirangako n’abakazi abalala abaabanga bamuyambye ku mulimu guno.
Obudde bwe bwabanga bunaatera okuwungeera, abazaana abaabanga balina abaana abaayaluddwa babaleetanga mu Lubiri ne basanga nga Kabaka abalinze mu mulyango gw’enju ye enkulu omwabanga Kaddulubaale (omukyala omukulu). Bwe baamalanga okwalulwa, Nnabikande ne Bayomba baalaganga Kabaka abazaana abazaala abaana nga bwe boogera n’emiziro gyabwe. Abaana abalenzi baabayisanga mmanju.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Muganga Rigan Nsujjumbi
KIBIINA KY’OLULIMI OLUGANGA (EKO) – BULANGE, MMENGO
h). Kasujju Lubinga
Omutaka Kasujju Lubinga yeddira Lugave, era mwana wa Kasoma Nakatanza e Migadde. Y'akuuma Abalangira, era Kabaka bw'ava mu bulamu, Kasujju Lubinga y'aleeta omulangira anaalya Obuganda n'amukwasa Katikkiro ku Wankaaaki nga bw'agamba nti "Ono ye Kabaka".
Era Mugema bw'amala okulinnyisa Omulangira oyo ku Nnamulondo, n'okumusumika eddiba ly'ennyana n'olubugo ku ddyo, ate ye Kasujju Lubinga n'asumika Kabaka eddiba ly'engo n'olubugo ku kkono, nga bw'alaamiriza nti "Okolanga bulungi emirimo gyo gyonna, era ofuganga bulungi abantu bo bonna". Bw'amala okumusumika n'amukwasa mu mukono gwe ogwa ddyo, empiima eyitibwa "Nalwangala", nga bw'alaamiriza nti; "Osaliranga abantu bo emisango mu bwenkanya."
Emikolo gyonna egy❜okukula kwa Kabaka, Kasujju Lubinga agibeeramu. Y'asala emisango gy'abalangira egijulira okuva ewa Ssaabalangira, era y'asumika Abalangira n'Abambejja bonna abasikira ba kitaabwe, ba jajjaabwe, ne baganda baabwe. Era y'abikkisa akabugo omulangira asikira eŋŋoma ya Buganda ne Bannaalinya.
Kasujju Lubinga ye yakuumanga abalangira mu kkomera, mpozzi okuggyako Kiweewa.
Ekitiibwa kya Kasujju Lubinga kyatandikira ku Kabaka Mutebi I. Kalali (oluvannyuma eyafuuka Kasujju Lubinga) obuganzi bwe bwava ku kusala musango ogw'okutta omwana omuwala (omuzaana wa Kabaka). Omusango guno gwali gulemye Omwami Nabugwamu eyali afuga Bulemeezi. Ate bweyamala okuganja olw'omusango gwe y'asala, era n'akola n'emikolo ne Kabaka Mutebi I, egyali giremeddwa abataka abalala bonna. Oluvannyuma Kabaka eyali talina mwana, n'asobola okuzaala.
Kasujju Lubinga yayongera okuganja eri Kabaka Mutebi I, era n'alaamira abaana be nti bamussangamu ekitiibwa nga kitaabwe; era Kabaka n'ava mu lubiri lwe Mwera-mukadde, n'alukwasa Kasujju Lubinga. Teyakoma awo, n'addira n'essaza Busujju n'aligyamu Kajubi ow'Enseenene, n'aliwa Kasujju Owoolugave.
Kasujju Lubinga nga tasimbibwako ffumu, era nga tafukaamirira Kabaka ng'amulamusa.