Obwami buno wamu
n'Omuwanika bwateekebwawo mu Ndagaano y'Olwenda (1900). Era Obulamuzi bwe bwadda mu kifo ky'obwami bwa Kimbugwe eyasitulanga Omulongo wa Kabaka.
Omulamuzi nga y'asala emisango gyonna egisukka
obuyinza bw'embuga z'Amasaza. Omulamuzi ng'asala emisango egimenya amateeka n'empisa z'ekinnansi, era n'amateeka ga Gavumenti Enkuumi, wamu n'egyempaka z'okuliyirira n'amabanja. Wabula teyawozesanga misango gya bussi, kyokka yayinzanga okusiba omuntu amayisa.