Ekibiina Ky’olulimi Oluganda (EKO) ekiwandiise mu Gavumenti eya wakati nga ekitongole ekitakugirwa migabo. Kyawandiisibwa mu mwaka gwa 2011.
Kyali ekimu ku bitongole ebikola minisitule ya Obuwangwa n’ennono. Mu mwaka gwa 2018, Ssaabasajja Kabaka yasiima n’ateekawo Minisitule ya Oluganda era EKO ne kiyingira butereevu mu minisitule eyo.
Oluvannyuma minisitule eyo yagattibwa ne minisitule endala ne zibeera wansi wa minisita omu: Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi, Ebifo eby’enkizo, Embiri, Amasiro, Oluganda ne Ebyokwerinda.
Bano be batandisi baakyo okuviira ddala mu 1948, okutuuka lwe kyatongozebwa mu 1950. Omw. Micheal Nsimbi Bazzebulala ye yali Ssaabawandiisi waakyo.
Dr. Micheal Nsimbi Bazzebulala
Omw. Joseph S. Kasirye
Omw. E. M. Ssali
Omw. M. M Kamya
Omw. E. K. Kibirige
Omw. L. Kalya
EKIGENDERERWA KYA EKO
Ekigendererwa eky’awamu
Ekigendererwa kya EKO kwe kukuuma, okutaatira n’okutumbula enkozesa y’olulimi Oluganda ennungi olw’ensonga nti gwe mukutu gw’empuliziganya era empagi sseddugi mu kukuuma n’okutumbula ebyobuwangwa.
EKO kijja kukulemberamu okusaasaanya Olulimi Oluganda n’okulugatta ku ndimi ezikozesebwa mu bitongole by’enkulaakulana.
OBWANNAKIBIINA
Emitendera gy’obwannakibiina bwa EKO
Bannakibiina aba bulijjo
Bano babeera basasudde ensimbi zaabwe eza buli mwaka nga ssemateeka bw’alagira, era babeera waggulu w’emyaka 18. Mu bano mubeeramu n’abayizi ku mitendera gy’ensoma gyonna.
Bannakibiina ab’olubeerera
Bano basasula lumu ensimbi ezaabagerekerwa ne basobola okubeera bannakibiina ab’olubeerera nga ssemateeka wa EKO n’olukiiko lwa bonna bwe biragira.
Ebibiina ebyafuna obwannakibiina
Bino bitongole oba matendekero agawagira ebigendererwa bya EKO era bisasula ensimbi z’obwannakibiina eza buli mwaka.