EKO ng’Ekibiina

Ekibiina Ky’Olulimi Oluganda (EKO)

Ennyanjula, ebyafaayo, entandikwa, ekigendererwa, obwannakibiina n’obukulembeze bw’Ekibiina Ky’Olulimi Oluganda.
ENNYANJULA

EKO kye ki?

Ekibiina Ky’olulimi Oluganda (EKO) ekiwandiise mu Gavumenti eya wakati nga ekitongole ekitakugirwa migabo. Kyawandiisibwa mu mwaka gwa 2011.
Kyali ekimu ku bitongole ebikola minisitule ya Obuwangwa n’ennono. Mu mwaka gwa 2018, Ssaabasajja Kabaka yasiima n’ateekawo Minisitule ya Oluganda era EKO ne kiyingira butereevu mu minisitule eyo.
Oluvannyuma minisitule eyo yagattibwa ne minisitule endala ne zibeera wansi wa minisita omu: Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi, Ebifo eby’enkizo, Embiri, Amasiro, Oluganda ne Ebyokwerinda.
Omulamwa

Okukuuma n’okutumbula Oluganda

EKO egenderera okukuuma, okutaatira n’okutumbula enkozesa y’Olulimi Oluganda ennungi ng’omukutu gw’empuliziganya n’empagi mu kukuuma ebyobuwangwa.
EBYAFAAYO

Omusingi gw’Oluganda entongole

1947

Empandiika y’Oluganda yatereezebwa era n’ekakasibwa gavumenti ya Buganda awamu ne gavumenti ya wakati.

Abakulembeze b’omulimu

Omulimu guno gwakulemberwamu Dr. A.N. Tucker ne bammemba abalala 34 abaava mu gavumenti ya Buganda.

Omusingi

Kino kyateekawo omusingi ogwesigamizibwako empandiika, ensoma entongole, okunoonyereza ku buwangwa n’amagezi g’ekinnansi.
1950

Ebigendererwa EKO kwe yatandikibwawo

ENTANDIKWA YA EKO

Abatandisi ba EKO

Bano be batandisi baakyo okuviira ddala mu 1948, okutuuka lwe kyatongozebwa mu 1950. Omw. Micheal Nsimbi Bazzebulala ye yali Ssaabawandiisi waakyo.

Dr. Micheal Nsimbi Bazzebulala

Omw. Joseph S. Kasirye

Omw. E. M. Ssali

Omw. M. M Kamya

Omw. E. K. Kibirige

Omw. L. Kalya

EKIGENDERERWA KYA EKO

Ekigendererwa eky’awamu

Ekigendererwa kya EKO kwe kukuuma, okutaatira n’okutumbula enkozesa y’olulimi Oluganda ennungi olw’ensonga nti gwe mukutu gw’empuliziganya era empagi sseddugi mu kukuuma n’okutumbula ebyobuwangwa.
EKO kijja kukulemberamu okusaasaanya Olulimi Oluganda n’okulugatta ku ndimi ezikozesebwa mu bitongole by’enkulaakulana.
OBWANNAKIBIINA

Emitendera gy’obwannakibiina bwa EKO

Bannakibiina aba bulijjo

Bano babeera basasudde ensimbi zaabwe eza buli mwaka nga ssemateeka bw’alagira, era babeera waggulu w’emyaka 18. Mu bano mubeeramu n’abayizi ku mitendera gy’ensoma gyonna.

Bannakibiina ab’olubeerera

Bano basasula lumu ensimbi ezaabagerekerwa ne basobola okubeera bannakibiina ab’olubeerera nga ssemateeka wa EKO n’olukiiko lwa bonna bwe biragira.

Ebibiina ebyafuna obwannakibiina

Bino bitongole oba matendekero agawagira ebigendererwa bya EKO era bisasula ensimbi z’obwannakibiina eza buli mwaka.

Bannakibiina ab’ekitiibwa

Bano bankizo nnyo mu EKO, olukiiko lwa bonna kye luva lubawa ekitiibwa ekyo.
ENTEEGEKA Y’OBUKULEMBEZE

Ebikonge bya EKO ebikulu

Olukiiko lwa bonna

Luno lubeeramu buli munnakibiina kya EKO: aba bulijjo, ab’olubeerera, ab’olukiiko olukulembeze, ab’ebitiibwa, ab’ebibiina ebyafuna obwammemba n’ab’akakiiko akawandiisi.

Omuyima

Ssaabasajja Kabaka ye muyima wa EKO.

Akakiiko akakulembeze

Akakiiko kano kabeerako abantu 15 abaweereza okumala emyaka ena. Ke kabaga amateeka era ne kalondoola enzirukanya y’emirimu mu kibiina.

Akakiiko akawandiisi

Kakulirwa omukulembeze ow’oku ntikko era kabeerako abakozi abalina obumanyirivu mu kuteekesa mu nkola enteekateeka ne pulojekiti z’ekibiina.
OBUKULEMBEZE BWA EKO

Abakulembeze okuva mu 1950

1950 – 1953
Omulangira Kayima
1953 – 1954
Omw. J. S Kasirye
1954 – 1963
Omumbejja Ndagire
1963 – 1987
Dr. M.B Nsimbi
1987 – 2003
Prof. L. Walusimbi
2003 – 2012
Oweek. Arthur Bagunywa
2012 – 2018
Dr. Adam Kimala Nsubuga
2018 – 2023
Omw. Lukabwe Fred Kisrikko
2023 – Okutuusa leero
Omuk. Nansubuga Grace Lubowa