Ekigambo 'nkalira' kitegeeza embeera oba ekintu oba akantu akaba ku kintu akakifaananya oba akakyawula ku kirala. Awo nno ekibuuzo ekyo waggulu kikulu ddala, kuba kye kituyamba okutegeera obulungi ebitonde ebirala. Mu kutegeera ebitonde ebirala, mwe musibuka enkizo y'okutondebwa nga tuli bantu. Jjukira nti ebitonde ebikwebunguludde oteekwa okubituuma amannya okusinziira ku mbala yaabyo.
Weebuuze: enkalira za mukyala wo oba ez'omwami wo ozimanyi? Enkalira z'abaana bo, bazadde bo, baliraanwa bo ozimanyi? Zo enkalira z'ebimera, ebiwuka, ebyewalula, ebyomunnyanja, ebisolo, ettaka, ebyomubbanga n'obwengula, amateeka g'obutonde ozimanyi? Ebitonde ebikuliraanye osobola okubituuma amannya okusinziira ku mbala yaabyo? Gye tukoma okutegeera ebitonde bino gye tukoma n'okuzuula emigaso egibirimu. Gye tukoma obutategeera bitonde bitwebunguludde gye tukoma okubeera mu ndasano ezitatadde, n'obutafuna miganyulo gibirimu.