EMIKOLO EGYAKULEMBERA AMATIKKIRA GA KABAKA RONALD MUWENDA MUTEBI II MU 1993

BYA KASULE KALULE

Ekirowoozo ky’okutikkira Ssaabasajja Ronald Mutebi II ku Bwakabaka bwa Buganda, kyatandikira mu ssaza ly’e  Buddu nga olutalo lw’okuggyako Gavumenti ya Tito Okello Lutwa lulemedde e Masaka.

Abaaliwo mujjukira bulungi nti ekibinja ky’abayeekera ekyali kiyitibwa National Resistance Army (NRA) nga kikulemberwa Yoweri Museveni, lwatuusa ekiseera ne lulemera  e Masaka. Mu ngeri emu oba endala kyazuulibwa nti kyali kyetaagisamu emaanyi ga Buganda.

Kye baakola kwe kusaba Ssaabataka Ronald Mutebi  eyali abeera mu ggwanga lya Bungereza alwetabemu butereevu. Abaganda mu Buwangwa bwabwe bwe baba tebalina Mulangira kwe balwanira, kuba beebuuza nti bwe tunaaawangula ani agenda okutufuga? N’olwensonga eno, Abaganda , abaamaanyi ennyo abaali ku ludda lwa NRM /NRA, Omwali  Dr.Samson Kisekka, ate nga yaliko mu Gavumenti ya Ssekabaka Edward Muteesa II, Nga Minisita w’ebyobulamu, oyo ye yagenda n’asaba Ssaabataka ayingire mu ddwaniro akkirize Abaganda bawagire NRA, anti Abaganda baali bazuuliddwanti Obwakabaka bwali bugenda kuzzibwawo oluvannuma lw’okuwangula olutalo.

Oluvannyuma lw’entegeeragana wakati wa Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi ne NRA/NRM, Ssaabataka yalagira Abaganda mu masaza : Buddu , Mawogola, Mawokota, Buweekula, Butambala, Ssingo, Bulemeezi , Ssese, ne Kyaggwe,okuwagira abayeekera ba NRA basobole okuwangula olutalo nabo bennyini okulwenyigiramu. Abaganda bo baali batunuulidde nsonga y’Obwakabaka. Wano era kisaana kitegeerekeke Bulungi nti Abaganda okutuuka okwewaayo ennyo mu lutalo lwa NRA n’okuwaayo abaana baabwe mu bungi balwane okuggyako Gavumenti ya General Tito Okello, yali nsonga ya Bwakabaka, ate bwe baalaba Ssaabataka Ronald mu ddwaniro, beeyongera okukakasa nti ddala Obwakabakabwalibugenmda kuddawo.

Mu mwaka 1992, Abataka nga bayita mu lukiiko lwabwe, baawandiikira gavumenti ya NRM batandike enteekateeka ez’okutikkira Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi afuuke Kabaka Omujjuvu ng’akolebwako emikolo egy’ennono ku lusozi lw’ebyobuwangwa e Nnaggalabi.

 

EMIKOLO EGYAKULEMBERA AMATIKKIRA

Okusinziira ku ntegeeragana eyakolebwa wakati wa Mwami Museveni eyali akulira abayeekera ba NRA n’obweyamo bwe eri Ssaabataka ku lwa Buganda. Enteeseganya zino zaali Buddu. Olutalo bwe lwaggwa,Abataka abakulu boobusolya mu Buganda baatandikirawo okusaba Gavumenti ya NRM okukkiriza Abaganda bazzeewo Obwakabaka bwa Buganda . Abataka beekolamu omulimu ne bassaawo Olukiiko olwayitibwanga ‘Bataka council’.

Mu mwaka 1992, Abataka nga bayita mu lukiiko lwabwe, baawandiikira Gavumenti ya NRM batandike enteekateeka ez’okutikkira Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi afuuke Kabaka omujjuvu nga akolebwako emikolo egy’ennono ku Lusozi olw’ebyobuwangwa e Nnaggalabi. Baategeeza Gavumenti nti baali baagala batandike n’omukolo ogw’okugogola ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba.

 

ENSONGA NGA BWE ZAATAMBULA

Ebiseera ebyo, Gavumenti ya NRM obuyinza bw’okukulembera eggwanga lino, okusinga bwali mu lukiiko lw’amagye n’olukiiko olw’ebyobufuzi olwa NRM Secretariat olwali lukulemberwa badayirekika. Ensonga y’Obwakabaka yali egwa mu kitongole ky’ebyobuwangwa ekyali kiyitibwa ‘Directorate of culture Mass Mobilization and Education’, ekyali kikulemberwa Omw. Cosma Warugaba.

Ensonga ezo zaalina okusooka okwetegerezebwa n’okwekenneenyezebwa ekitongole ekyo. Ekyo olwamala okukolebwa, zaaweerezebwa mu lukiiko olugatta ebitongole byonna ebya NRM Secretariat, olwali lukulirwa, ne kati olukulirwa Pulezidenti Museveni nga ayambibwako National Political Commissar, mu biseera ebyo, yali Dr. Kiiza Besigye. Ensonga bwe zaava eyo, zaaweerezebwa mu lukiiko lwa baminisita gye zaava ne ziryoka zoolekera mu Paalamenti. Gye byaggweera nga omukulu eyali atwala ekitongole ky’ebyobuwangwa ku NRM Secretariat, nga kikkiriza Abataka abakulu boobusolya mu Buganda, bakole enteekateeka ez’okukunga bazzukulu baabwe mu bika byabwe bagende bagogole ennyanja ya Kabaka nga beetegekera Amatikkira.

 

ENDOWOOZA Z’ABAKULU MU GAVUMENTI

Endowooza z’Abakulu mu Gavumenti ku nsonga z’Obwakabaka, zaali zaawukana nnyo nga abasing baali batunuulira ensonga ezo nga “Ssemusota guli mu ntamu”, olw’ensonga nti okubugaana okuddawo abamu baali bakiraba nga ekyali kisobola okuvaako Gavumenti ya NRM okugwa. Ate abamu nga bagamba nti Abaganda abasinga abaali abawagizi b’Obwakabaka baafa ne baggwaawo. Noolwekyo abo abatono abaali bakyaliwo, baali tebalina kye bayinza kukola ne batamanya nti Obwakabaka buli mu musaayi ate n’omwoyo gwa Buganda ogutafa gutambulira mu musaayi gwa buli Muganda yenna.

Abakulu abamu baagambanga nti Abaganda balinga nva za binyeebwa nti bw’oba waakabiteeka ku Kyoto bibimba, naye ate bwe bimala akabanga bikka ne bitaddamu kubimba. Ab’endowooza eyo baagamba nti Gavumenti ebakkirize bazzeewo Obwakabaka bwabwe nga balowooza nti baali bagenda kulemererwa okubuyimirizaawo bulyoke bugwe bwokka ng tewali abuggyeewo era ne bagamba nti Abaganda akajanja ke balina lwe kaali kagenda okubaggwa nga Obwakabaka bubafiiridde mu ngalo.

Ab’endowooza eno baali bangi ddala mu Gavumenti kubanga waali wabagiddwawo ppulaani enkuukuutivu wy’okulemeza Abaganda mu Byenfuna. N’olwekyo abaali bayiiyizza ppulaani eyo baali tebalaba nsonga yali egaaniyisa Obwakabaka okuddawo ate nga bwali tebugenda kuwangaaala1 Abamu ne bagamba n’okugamba mbu bwali tebugenda kusussa myaka ena nga weebuli.

 

OKUGOGOLA ENNYA YA KABAKA MU NDEEBA.

Abataka abakulu Boobusolya mu Buganda baalaga amaanyi gaabwe ne bakakasa buli omu nti ddala bo ge masiga Obwakabaka kwe butudde, kubanga oluvannyuma lw’emyaka 27 nga Obwakabaka tebuliiwo, Abataka baasobola bulungi okukunga bazzukulu baabwe ne bagenda mu bungi okugogola ennyanja ya Kabaka nga beetegera Amatikkira ga Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi II mu 1993.

Ebika by’Abaganda byonna byayanukula omulanga gw’Abataka abakulu b’ebika ne bagenda mu bungi ddala okugogola ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba. Okumanya eby’okugogola ennyanja byakwata abantu omubabiro, n’abakukembeze b’eddiini tebaalutumira mwana. Kalidinaali Wamala yaliyo nnyo nga yajjira mu kika kye Ngabi, ate Omugenzi Bishop Nankyama naye yajjira mu kika kye Nkuka, Abakuku mu Gavumenti ya NRM, nabo tebaalutumira mwana; Omugenzi Sam Ssaabagereka eyali minisita mu gavumenti ya NRM,, naye yaliyo mu kika kye Nkula, ate omugenziSamson Kisekka naye yajjira mu kika kye Mpolooma. Leero nnamyuma ki nnaaleka ki? Guli gwali mukolo gw’amaanyi nnyo ate nga gwa kitiibwa ddala,

Kino Abaganda kye baakola kyalaga obumu olw’ekika ekya waggulu ekitaasanyusa abamu ku bakulu ab’oku ntikko mu Gavumenti ya NRM. Ate kyayongera okujungulula endowooza y’abo abaali balowooza nti Abaganda baali basigadde batono nnyo abaali balowooleza mu Bwakabaka. Ku ludda lw’Abaganda, ekikolwa eky’okugogola ennyanja ya Kabaka kyabongera obuvumu n’okumalirira nti singa Gavumenti yali agenda okubakkiriza ne bazzaawo Obwakabaka bwabwe, baali bagenda kukola waabwe. Era ogwo gwe mwoyo ogwabasobozesa okwaŋŋanga omulimu ogw’Amatikkira ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II e Nnaggalabi mu 1993, ogutali mwangu n’akamu.

 

OKWETEGEKERA AMATIKKIRA GA 1993

Oluvannyuma lw’okugogola ennyanja ya Kabaka, Abataka Abakulu boobusolya mu Buganda, baatandika okwetegekera Amatikkira ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II. Kye baakola kwe kukoowoola bazzukulu baabwe bonna bagende baweebwe obuvunaanyizibwa n’emirimu gye baali bagenda okukola okusinziira ku busobozi obwa buli omu. Emirimu gyonna gyateekebwa mu bukiiko obutali bumu, nga bwe tukiraze mu kiwandiiko kyaffe ekikwata ku bukiiko bw’Amatikkira.

 

EMIKOLO EMIRALA EGYAKOLEBWA EGITALI GYA NNONO.

Waliwo emikolo emirala egyakolebwa egitali gya nnono nga Amatikkira ga Kabaka tegannabaawo mu 1993. Naye ogumu ku egyo ogwali omukulu ennyo, gwe mukolo ogw’okukyusa ssemateeka wa Uganda basseen mu akawaayiro akakkiriza Obwakabaka okuyinngizibwa mu Ssemateeka w’eggwanga lino Uganda.

Omukolo guno gwe gumu ku egyo egyasinga okuteeka Obuganda bwonna ku bunkenke, kubanga teri kintu kyonna kyali kigenda kuteekebwa mu nkola ku nsonga z’Amatikkira ga Beene, nga Ssemateeka wa Uganda tasoose kukyusibwa. Kinajjukirwa bulungi nti oluvannyuma lw’okulumba Olubiri lw’e Mmengo mu 1996, Gavumenti ya Kawenkene Obote eyali omukulembeze wa Uganda nga ye Ssaabaminisita, yawera Obwakabaka bwa Buganda n’obukulembeze obwensikirano mu Uganda yonna bwaggyibwamu. Noolwekyo okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa ky’Abaganda eky’okutikkira Kabaka, Ssemateeka yalina kukyusibwa muyingizibwemu ennyingo y’Obwakabaka.

 

OBWERALIIKIRIVU MU KUKYUSA SSEMATEEKA

Olukiiko oluteesiteesi olw’Amatikkira ga Kabaka n’Abaganda bonna okutwalira awamu, baalina obweraliikirivu bw’amaamyi ku nsonga y’okukyusa Ssemateeka; muyingizibwemu ennyingo y’Obwakabaka, kubanga waaliwo amaloboozi agaawulirwa okuva mu bamu ku babaka ba National Resistance Council (Paalamenti y’ekiseera ekyo), naddala abo abaali bava mu bukiikakkono bwa Uganda. Nti baali bagenda kusimbira ekkuuli ekiteeso ekyali kigenda okwanjulwa mu Paalamenti eky’okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda nga bo tebwabwagala.

Naye Omugezi Abu Mayanja eyali minisita mu Gavumenti ya NRM nga ye yali avunaanyizibwa  ku nsonga za Ssemateek, yakola kinene nnyo okukakkanya bammemba b’olukiiko oluteesiteesi olw’Amatikkira ga Kabaka olwali mu lusirika mu ssomero lya KING’S COLLEGE BUDDO. Yabagamba nti ensonga z’okukyusa Ssemateeka zaali zikwatiddwa n’amagezi mangi nnyo. Yagumya abo bonna abaalimu obweraliikirivu nti waali tewagenda kubeerawo buzibu bwonna mu kuyisaamu ekiteeso eky’okukyusa Ssemateeka olw’ensonga nti ababaka okuva mu Buganda abaali mu Paalamenti, baali bakoze kakuyege mungi okumatiza babaka bannaabwemu Paalamenti abaali bagenda okuwagira ekiteeso kya Buganda eky’okukyusa Ssemateeka.

 

AKABUGUUTANO MU LUKIIKO LW’AMAGYE

Eby’okyusa Ssemateeka mu Paalamenti nga obitadde ku bbali,naye waaliwo ekizibu ekirala eky’olukiiko lw’amagye. Ensonga z’okukyusa Ssemateeka muteekebwamu akawaayiro k’Obwakabaka, Olukiiko olufuga amagye ga Uganda (Army Council ), nalwo lwalina okusooka okutuula nga lukubirizibwa ssentebe waNRM era Omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Museveni, alwanjulire Abaganda kye baali baagala. Eyo nayo ebintu tebyali byangu, kubanga waaliwo abakulu abamu mu magye abalina endowooza nti okuzzaawo  Obwakabaka mbu kyali kituzza mu bisibu.

Abo abaali balowooza new batyo baali beerabidde nti gaali maanyi ga Buganda olw’obugezi obumwnyi obwava mu Buganda oluvannyuma lw’ekiragiro kya Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi II kye yaweerae Masaka mu Buddu; naalagira Abaganda bonna bawagire n’okuyingira olutalo; ekyasobozesa abayeekera ba NRA okuwangula olutalo olwali lugaanidde ku Katonga. Naye nno abakulu abamu nga Serwanga Lwanga, Fred Rwigyema, eyali aduumira eggye lya Uganda mu kiseera ekyo nga abalala baawagira ekiteeso eky’okuzzaawo Obwakabaka, n’ekyokukyusa Ssemateeka, kitwalibwe mu Paalamenti, nga basinziira mulukiiko lwabwe olwatuula e Gulu. Oluvannyuma lwa bino, olukiiko NRC lwayisa ekiteeso eky’okukyusa Ssemateeka ne bassaamu akawaayiro ak’Obwakabaka.

 

OKUSOOMOOZEBWA

Enteekateekazonna ez’Amatikkira ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II mu 1993, okusoomoozebwa okw’amaanyi kwali kwa butaba na nsimbi. Gavumenti eyaawakati yagaana okubaako ensimbi zeewa olukiiko olwali luteekateeka emikolo gy’Amatikkira. Noolwekyo buli kakiiko kalina okunoonya ensimbi ezikayimirizaawo. Naye olw’okuba nti Abaganda baali baakamala okugogola ennyanja ya Kabaka, baakozesa obumalirivu obw’okukola nga beetengeredde nga tebalina gwebawanjagira; nga buli   kakiiko kakola buteebalira, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II naasobola okutikkirwa nga 31 Kasambula 1993.

 

EBYOKUYIGA OKUVA MU KUSOOMOOZEBWA ABAGANDA KWE BAAFUNA MU 1993

Emikolo gyonna egyakolebwa ku Matikkira ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, gyalimu okusoomooza okw’amaanyi ennyo eri Abaganda. Naye ate okusoomoozebwa okwo kwayigiriza Abaganda okwagala ennyo Kabaka waabwe. Era ebibala ebivudde mu kino ye JUBIREEWO (ekijaguzo eky’emyaka abiri mu etaano). Abaali balowooza nti Obwakabaka bwali bugenda kulemererwa Abaganda babusuulewo., kibabuuseko okulaba nga kati tujaguza emyaka 25 nga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, atudde ku  Nnamulondo ya bajjajja be alamula.,  Ku ludda lw’Abaganda, tukirabye nti wookoma okubanyigiriza ennyo, bo we batandiki okwagala Kabaka waabwe n’okumwekwata. WANGAA;A AYI SSAABASAJJA KABAKA!

Omuwandiisi yali mmembe ku kakuuko k’ebijjukizo ku lukiiko oluteesiteesi olw’Amatikkira, era ye yayiiya n’okukola bbaagi z’Amatikkira ga Kbaka Ronald Muwenda II MU MWAKA 1993.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *