
Bya Anatole J. Kiriggwajjo ne Mutagubya A. Michael
Ekiruubirirwa mu kiwandiiko kino kwe kukubiriza Omuganda yeeyambise obuwangwa bwe okutegeera obukulu bw'obutonde bw'ensi mu kaweefube w'okwekulaakulanya.
Omulaka gussibbwa ku bino wammanga:
.
Obutonde
Obutonde bw'ensi oba obutonde
obutwebunguludde
Obuwangwa
Ennono oba Obuwangwa bw'Abaganda
Omuganda
Ebyenfuna by Omuganda ebisibukira mu
butonde bw'ensi ne mu nnono y'Abaganda

a. Obutonde
Obutonde, nga Raymond Williams (1983) bwe yeekaliriza, kyandiba nga kimu ku bigambo ebisinga obuzibu. Newaakubadde nga kino yakirabira mu Lungereza, naffe kyanditubeerera ekizibu okukitegeera. Ye abaffe oli omu ku butonde oba nedda? Kyo kiki ekikola obutonde?
Bye twanukuza ebibuuzo ebyo byanditwetaagisa okufaayo ku bintu bya ngeri ssatu:
1. Obutonde Obutanuzi obuzingiramu ekyanyi ekifuga ebintu byonna mu nkulungo y'ensi.
2. Obutonde Obutwebunguludde nga bubeeredde (obutannataataanyizibwa).
3. Ekitonde n'enkalira zaakyo ezikyawula ku kirala mu butonde.
Obutonde okubuganyulwamu, tuteekwa buteekwa okufuba okutegeera, nga tusonjodde bulungi, engeri z'obutonde ezo essatu.
b. Obutonde Obutanuzi
Engeri esooka bwe butonde obutanuzi. Obutonde 'obutanuzi' kitegeeza embeera esibukira mu butonzi eviirako ebitonde ebirala okubaawo. Mu butonde muno mwe muli amateeka gonna agafuga obulamu bwa buli kitonde ku nsi kuno. Amateeka gano mu butonde mwegali, era twetaaga kugazuula, abamu kwe bayita okugavumbula. Okugeza, mu bwengula mulimu ebyanyi eby'olulango bya ngeri nnya: ensika (ekyanyi ekisikaasikanya ebitonde okubikuumira ku ttaka), ekyanyi kinnakanyusi eky'amaanyi (ekikuumira awamu ebintu nga tebyabulukuse), ekyanyi kinnakanyusi ekinafu (ekiviirako ebintu okwawukana), n'obusisi kinnamasannyalaze (ekiviirako ebintu okukolaganira awamu). Mu mateeka g'obutonde mwe muli obwetondeke bwa sserwebonga eziri eyo mu bwengula nga zeebonga kyokka nga tezitomeregana.
Nate mulimu okujjulukuka kw'agatundu g'enkulungo y'ensi, okukunta kw'embuyaga, okukolebwa kw'ebire omuva ekisiikirize n'enkuba. Era mu mateeka gano mutegeererwamu okwaka kw'enjuba n'omwezi omuva ebbugumu n'ekitangaala mu bupime obw'ekigero. Weetegereze nti okuzaalukana kw'ebitonde bye tulaba ne bye tutalaba, amasisi agatunywereza ku ttaka n'agatubuusa mu
bbanga byonna bifugibwa mateeka ago. Mu ngeri ye emu, okubaawo kw'omwagaanya n'ekiseera omutegeererwa obujjulukusi bw'ebyo ebitambula n'ebitatambula nga kw'otadde n'ekkekwa, byonna bisibukira mu mateeka ago ag'obutonde. Amateeka gano meekusifu nnyo, era kyangu omuntu obutagassaako mulaka, n'abeera ku nsi okutuusa lw'avaako nga tagategedde era nga tagavumbudde na kugeeyambisa.

c. Obutonde bw'Ensi oba Obutonde Obutwebunguludde
Okufaananako obutonde obutanuzi, n'obutonde obutwebunguludde nabwo butegeerwa mu ngeri za njawulo. Enjawulo zino ziva ku ngeri z'ebigendererwa bya buli omu. Singa tetufa ku bigendererwa bya buli muntu kinnoomu, nze nandirowooza nti Obutonde bw'ensi gwe muyuŋŋano gw'okugabirana (k.k. okugabira n'okugabirwa). Awo nno, obutonde bw'ensi gwe mutendera ogugatta omuntu ku butonde oba amateeka g'obutonde. Tusoma mu Kitabo ky'Amasooka nti, Katonda n'atonda byonna, era n'alaba nga birungi.
Oluvannyuma Katonda n'atonda omuntu, n'amukwasa byonna bye yatonda abituume amannya okusinziira ku mbala yaabyo, era abifugenga. Nga Demeritt (2002) bwe yawandiika, obutonde buliwo ku lwa bulungi bwa muntu, omuntu abweyambisenga okufuna bye yeetaaga.
Weetegereze olabe obuvunaanyizibwa obungi bwe weetisse. Ekimu ku bibuuzo ky'osaana okwebuuza kye kino: "Obutonde obuneebulunguludde mbumanyi?" Baani be mmanyi?
Bimera ki bye mmanyi? Biwuka ki bye mmanyi? Byewalula ki bye mmanyi? Binyonyi ki bye mmanyi? Bisolo ki bye mmanyi? Mikka ki gye mmanyi? Bika bya mbuyaga ki bye mmanyi? Musana gwa ngeri ki gwe mmanyi? Nkuba ya ngeri ki gye mmanyi? Mazzi ki ge mmanyi? Njazi za bika ki ze mmanyi? Ttaka ki lye mmanyi? Nsozi, biwonvu na miseetwe ki bye mmanyi? Mateeka ga butonde ki ge mmanyi? Ebintu bino bya bulijjo ddala. Kirina amakulu omuntu yenna okwebuuza oba abimanyi? Weewaawo. Naye mu kubyebuuza wandyezimuukiriza ng'ozuddemu ebyokuyiga bingi ddala, era nga n'olukalala lw'ebyokuyiga ebyo terumalikayo; era oboolyawo nga kino kitwoleka embeera gye tulimu. Wabula ekibuuzo ekisingira ddala obukulu kye tusaanidde okwebuuza kye kino: Ebinneebunguludde Mbitegeera Bulungi?


