Ebika by'abaana abaalulwa mu Buganda.

Tulina ebika by’abaana bya mirundi ebiri.

Abaana abaabulijjo

Abaana abalongo.

Abaana abaabulijjo,

Bano babeera abaana abazaaliddwa nga ba nsuusuuba omulundi gumu nga enjuba tennagolooba. Omwana omu, basatu, bataano n’abalala. Abaana bano tebabaako nsonga ndala yonna.

Abaana Abalongo.

Be baana abazalibwa nnyaabwe ku lunaku lwe lumu nga bali mu bulongo / nga si ba nsuusuuba, gamba babiri, bana, mukaaga n’omuwendo omulala.

Waliwo abalongo abalala abatali mu bulongo, naye nga obuzaale bwabwe oba enkula y’omubiri gwabwe kye kibafuula abalongo era abalina emikolo ekibakolebwako.

Okwalula abaana;

Okwalula abaana gwe mukolo ogukolebwa mu Buganda okuyingiza abaana mu kika n'okubatuuma amannya g'ebika byabwe okugeza nga Nnamutebi nga lino lituumibwa muwala, Mubiru nga lino lituumibwa mulenzi, gano amannya nga ga kika kya Mmamba n’amalala mangi nnyo okuva mu bika ebirala mu bwakabaka bwa Buganda.

Erinnya ly’ekika omwana balimutuuma amaze kwalulwa, kuba aba akakasiddwa nti wa kika ekyo. Amannya g’ekika gakuumibwa Jjajja Owooluggya ku lw’omukulu w’Essiga era yaaba nnyinigo.

Omwana nga tannayalulwa, aweebwa erinnya ly’oku kifugi kwayonkera okutuusa okwalulwa. Amannya g’oku kifugi gaba; ery’olugero, erya lubaale, ery’embeera omwana mwazaalidde oba okubbula erinnya ery’omuntu eyagenda naye nga si lya kika.

Omwana atuumibwa linnya lya kika kye so si ag’ekika ekirala.

Mu kwalula abaana, Bajjajja b’omwana mu luggya be batuuma amannya mu mpalo.

Okwalula abaana abatali balongo

Kuno kukulemberwamu Jjajja w'abaana omukyala azaala kitaabwe. Bamaama b'abaana baluka ekibbo, ekiba kigenda okukozesebwa nga kirina ebika ebisuka mu kimu.

Bassenga b'abaana bagenda ku lusaalu oba ku lutobazi ne banogayo olusa (kiba kiddo ekikulira mu ntobazi) ne bakyanika ne bakissa okusobola okufunamu oluvu (olukozesebwa nga omunyu mu kijjulo ekiriibwa mu kwalula, era kifumbibwa Jjajja w'abaana omukyala azaala kitaabwe).

Bataata b'abaana bagenda ne bakima amazzi okuva ku nnyanja, nga gano ge gakozesebwa ku mukolo. Bamaama b'abaana batuula ku lubugo nga balanamye era nga baleze abaana baabwe, Jjajja w'abaana omukyala anaaza bamaama b'abaana ebigere naye omukyala alina olubuto takirizibwa kutuula ku lubugo ku munaazibwa bigere.

Bw’amaliriza okubaanaza ebigere akwata ekibbo naakiyiwamu amazzi g’ennyanja n'omwenge omuganda, oba amata awonno naasaba bamaama b'abaana obulira bw'abaana naabusiiga omuzigo omuganda nga bwa buteeka mu kibbo omuli amazzi oba amata nga bwe bukka ku ntobo y'ekibbo nga bwe bubbulukuka.

Atandikira ku bw’abaana abalenzi. Akalira akabbulukuka, nga oyo omwana aba wa kika, naye singa kasigalirayo ku ntobo, oyo omwana ateekebwa wabbali era maama we aba wakunnyonnyola nnyo abakulu. Oluusi bassenga b’abaana be basiiga omuzigo obulira. Kyokka abamu bayinza okuba nga tebaagala omu ku bakazi baabwe era ne batasiiga kalira muzigo, ekikaleetera okuyingiza amazzi ne kazitowa.

Omwana akakasiddwa mu kika, nnyina amusitula naamukwasa ssezaalawe okumutuuma erinnya.

Okutuuma erinnya ly’ekika.

Maama w’omwana asitula omwana n’amukwasa ssezaalawe (Jjajja w’omwana omusajja ku ludda lwa kitaawe) asobola okuba mugandawe oba atudde mu ntebe ya mugandawe oba eyiye singa aba nga yagalamira.

Jjajja akwata omwana n’amulaamiriza obujjajjabwe nga bwe batambula.

Awo amukuba akaama nga amutuuwa erinnya lyayoleseddwa / lyalonze. Singa omwana takaaba nga awo erinnya alisiimye, bw’akaaba nga erinnya talisiimye era nga omulondera eddala. Erinnya bwalisiima nga eryanjulira eri abasigadde. Nga balaya enduulu.

Jjajja w’omwana asobola okuwa omulala yenna obuyinza okutuuma erinnya ku lulwe. Kyokka abalala tebaba na buyinza kutuuma amannya.

Nga bamaze okutuuma amannya, baaniriza omwana omuggya mu kika/Oluggya nga bamuwa ebirabo naddala ebyensibo. Ebinaayala nga omwana akula. Abalala bayinza okumwongera amannya amalala.

Bino bigenda mu maaso nga bwe bayimba ennyimba bbiri ezitali za nsobi oba nsuusuuba ez'okwalula n'olwokuweesa nga luno luyimbibwa nga waliwo akutte enkumbi eyengera ( eno tebeera mpange ekitegeeza okuweesa) nga bwagikoona okuvaamu eddoboozi.

“ejjembe lya ssebo kalyabula

(ogye oweese……….)

“aaaaa kalya bugalula

(ogye oweese …….)

“mpesabuweesa simanyi ku wanga……”

Bbajjula ekijjulo ekiba ekyafumbiddwa Jjajja w'abaana omukyala. Ku kijjulo kino basiba empombo bbiri, olumu basibamu obutiko n’ebinyeebwa, ate olulala basibamu enkejje enkalirire ne bateekamu omunnyo ogw’ekisula.

Weetegereze: Bwe baba bakalirira enkejje ez’okwalula abaana, bafuba nnyo obutazisiriiza kuba bwe zisiriira nga omwana gwe basibidde oluwombo olwo ali ku kizibu, tuba tulowooza nti alina akikwa oba ayitidde buyitizi naye nga si wa mu nju omwo. Emikisa gye mu bulamu bwe mu maaso nagyo gisiriira, era okwalula kwe kusazibwamu. Ayokya enkejje kyava atulula enkaliriza oba enkakaba nga alagiriza omusota.

Omuntu mu bulamu bw’agwa ku matigga, batera okumujjukiza kye yakwako mu muto era bamugamba nti “eyakwalula esiridde”.

Mu kwalula abaana, maama w’omwana bye yabulangawo nga muggya we akola oli bye yalikoze nga maama; muggyawe bwe bafumbirwa mu nnyumba oba oluggya olumu oba bwe bafumba ewa bbaabwe.

Ettooke erifumbibwamu omuwombo liba lya Nnakitembe. Olujjuliro luba wakati mu ddiiro era we baalulira abaana, bwe bamaliriza okulya Jjajja ne bamaama b'abaana basitula olwaliriro ne balufulumya ne balufugika mu lusuku.

Awo Jjajja w'abaana omukyala afumita mu kitooke kya nnakitembe ekitanateekako ttooke n'akwata obulira bwonna n'abuteekamu wakati nga obusiize omuzigo omuganda, nga bw’alaamiriza obujjajja bwabwe n'ekika kye bavaamu.

Bw’amaliriza naasibawo w’abutadde nga bw’alamiriza nti "abazzukulu mumaze okwalulwa kati mubbulukuke", bwe bamala okubbulukuka nga obulira buli waggulu ku lulimi lw'ekitooke, nga emmambya esala Jjajja agenda nabuggyayo naafugika mu kitooke kya nnakitembe nga butegekebwa mu kigogo kya nnakitembe n'ekyembide eŋŋanda , awo nga baweebwa amannya.

Weetegereze: Singa mu kika mubaamu eyazaala abalongo nga tebannayalulwa, abaana abatali balongo tebaba ba kwalulwa wabula baalula balongo olwo n’abalala baba baaluddwa.

Wano obuko bukwatira ddala n’okusinga mu mukwalula abalongo.

Emizizo mu kwalula abaana abatali balongo

Omukyala alina olubuto takirizibwa kutuula ku lubugo kunaazibwa bigere, kubanga Jjajja w'abaana abeera anaaza batali ba kika kyabwe ate nga omwana ali mulubuto wa kika ekyo.

Ekijjulo tekirina kubaamu munnyo.

Omwana atali mwalule tasikira muntu mu kika / luggya.

Buli mwana ayalulwa alina okulya ku kijjulo, atakirya okwalulibwa kwe kuba tekuwedde.

OKWALULA ABALONGO.

Abalongo be baana abazaalibwa mu bulongo (obubiri) mu maama omulundi ogumu mu lunaku lumu. Waliwo abalongo ab’ebika ebirala ab’ennono nga bava ku buzaale ne ku nkula y’emibiri gyabwe. Okugeza:

Kasowole

Nnakimu

Ssemafumu

Nnamagoye n’abalala basange mu bika by’abalongo mu Buganda.

Okwalula abalongo kwawuka ku baana abaana aba bulijjo olw’okuba kwo kubaamu okusiba nga omukolo omukulu awamu n’emirala nga okumenya olukanda.

Abantu ababiri bwe bazaala abaana babiri omulundi ogumu, baweebwa ekitiibwa kya Nnaalongo (Omukazi) ne Ssaalongo (Omusajja). Ate abaana be bazadde nabo ne bafuna ekitiibwa ekya; Babirye oba Nnakato nga muwala, Wasswa oba Kato nga Mulenzi.

Abalongo bonna basibibwa era bwe batasibwa wabaawo ebituukawo mu luggya. Abalongo be twogerako me muli naabo abazaalibwa olw’embeera endala.

Abalongo bwe bazaalibwa babikibwa Ssaalongo nga emmambye esala era talina kulabwako muntu wa waka awo (kye kikolwa eky'okutegeza ab'oludda lwa Nnaalongo okuzaalibwa kw’abalongo).

Okubika abalongo:

Ssaalongo atambula n’agenda gye bazaala mukaziwe aba afuuse Nnaalongo mu budde bw’emmambya (nga busaasaana). Alinnya ku kasolya akaliraanya amaka g’abakadde abamuzaalira omukyala, naalangira era n’awanukayo misinde nga tebannamulaba gyagenze okubika.

Bano bamuwa Nnaalongo omukulu ava mu kika kya mukyalawe (Nnaalongo kazaala baana) ne Ssaalongo omukulu ava mu kika kye (Ssaalongo kazaala baana) bano be baba abakulu ku mukolo gwo.

Awunda oba omusibi nga asamira emmandwa Nnamalere oba Ndawula yaakulira omukolo, mu ku bawunda buli mulongo abeera ne kasowole we, singa kasowole taba mwalule. Wabula singa obulira bw'abaana buba bwabuzibwa, Awunda akwata olubugo n'akagoye akeeru naabyalirira wabbali w'oluggya nga olubugo lwe lusoose wansi ne bazzaako akagoye nga bwe bayimba ennyimba z'abalongo n'ezeemizimu nga teri kulekeraawo nga n'omuwunzi bw’abakoowoola nti " twasobya mu butanwa naye tuze okubanoonya mujje mu ddiiro tubawunde n'okubaalula" okutuusa bwe bajjira mu kintu kyonna bwe kiggwaako okugeza nga akanyenyenkule, ekovu, munyeera oba omusota.

Obulira busibibwa wamu n'olulimi lw'enkoko eŋŋanda nga bisiigiddwaako omuzigo omuganda. Enkoko eno ekwatibwa omujjwa nga Awunda bwa giggyamu olulimi, naye omusaayi teguteekeddwa kutonnya wansi ku lubugo.

Singa abalongo baba nga mmeeru (abaana abatali ba kikula kimu) bakozesa enkoko empanga ku mulenzi n'enkazi ku muwala ate singa baba nga maddugavu (abaana ab'ekikula ekimu) bakozesa enkoko empanga ku balenzi n'enkazi ku bawala, nga babawunda walina okubeerawo ekita ky'omwenge omuganda, emmwanyi z'empokota ( enfumbeko),ebibbo, esimbi eŋŋanda, obuso, ebbombo n'olweza n'endeku.

Awunda asiba ebituttwa bibiri erudda n’erudda ekya Nnakato ne Wasswa, bino bikolebwa nga eŋŋoma bweraya ennyimba z'abalongo n'ezeemisambwa nga tebasirisa ( ekiyitibwa okusula ku ntujjo ). Buli aliwo akirizibwa okunywa ku mwenge oguva mu kita n'okubamwako era tewabaawo buko. Abajjwa balinnya mu kijjulo, ekikolwa ekikomekkereza ekijjulo era olujjuliro luzingibwako. Awo abaana bambalwamu nga babataddemu olweza n'ebbombo, era ne babagabula. Olumala babakwasa Jjajja waabwe omusajja nga bwe bayimba:

“Nnannyinimu weelyowe, tuleeta…..”

“Ssebo Ssaalongo weelyowe tuleeta abalongo bo

“Nnannyini tokuba ku baana ……….”

“Kigongo Ssaalongo tukuba ku baana, kigongo bbaale…."

Weetegereze:

Nnakato ne Kato be balongo abatuuma erinnya ly’abalongo, kubanga bamala kuzaalibwa.

Kasowole y’alanga abalongo.

Abalongo tebaba b’omu kubanga baba bazze kulongoosa kika kyonna

Ekyogero ky’abalongo kiyitibwa ‘ekibogabaana’.

Ssaalongo tawasa mulongo.

Omulongo tawasa oba tafumbirwa mulongo munne ne bwe biba nga ebika bya njawulo.

Mu kumala abalongo, abaana mu luggya bonna ababa tebannaba kwalulwa, baba baaluddwa /baalulwa olwo.

Emizizo mu kwalula abalongo.

Abalongo tebaalulwa nga kasowole si mwalule, kubanga ye mulongo omukulu.

Omuntu eyazaala Abalongo nga si baalule takkirizibwa kulya ku kijjulo na kubambalamu, kubanga abalongo be bayinza okumusala.

Singa Abalongo baba baanikiddwaako, tewali kirina kubabuuka kubanga singa babuukibwa, awo muba mukuuma lubugo nga lubaale mubbe.

Nga baggyamu olulimi mu nkoko omusaayi tegulina kutonnya wansi ku lubugo, era singa gutonnyako tebabasiba babiddamu, kubanga singa basiba baba basibye mmandwa n'amayembe aganabasanga omusaayi wabula si balongo.

Emigaso gy’okwalula abaana:

Okwalula kutabaganya ekika.

Kuleeta okumanyagana mu bantu b’ekika

Okwalula kwongera ku bungi bw’abantu mu kika.

Okwalula kuggyamu abaana abatali ba kika ekyo, n’okubazza mu bika byabwe.

Okwalula kuggyawo ebyamba n’ebisirani mu kika

Okwalula kuleeta essanyu n’emikisa mukika

Kuvumula endwadde n’obubenje

Ebisoko, Enjogera, Engero engereesa mu kwalula abaana.

Baana ba nsibirwe, tabagwako migeeneekerozo (Lug…)

Olegesa nga gwe baayaluza omukalo gw’endeya (Njog..

Bakinaanise akyagala, muk’omubbi okuzaala abalongo. (Njog..)

Nnaalongo tabba, aba asakira baana (Njog…)

Eyakwalula esiridde. (Kisoko)

Bikuŋŋaanyiziddwa:

Nnalwanga Haliyah

+256 704450930 haliyah580@gmail.com

Ssentebe Nkobazambogo, S