a. Okukuuma Empisa y'Ensi

Ebika bituyamba okukwata n'okukuuma amateeka nga tuyita mu miziro gyaffe egy'enjawulo. Okugeza, abeddira ekika ekimu tebafumbiriganwa era kino kimanyiddwa buli Muganda. Olumbe mu Buganda terwabizibwa nga terutambuziddwa mu bakulu ba kika omufu mw'ava.

Waliwo n'abagamba nti enkola ey'ebika mu Buganda erimu ssaayansi. Bagamba nti Kintu yalaba olulyo lw'Abachwezi engeri gye lwasaanawo, olw'okuba baafumbiriganwanga (nga tebaagala "kusaabulula" musaayi gwabwe).

Abalina omusaayi oguliraaniganye bwe bazaalaganamu abaana, kitumbula endwadde n'obunafu obusangibwa mu lulyo olwo.

Singa omwana alina nalubiri (sickle cell) awasa owa nalubiri (sickle cell), kitegeeza nti abaana baabwe balibeera ne nalubiri (sickle cell). Singa aboluganda abalina nalubiri bafumbiriganwa, kitegeeza nti bajja kuzaala abaana abagongobadde olw'obulwadde obwo obutambulira mu musaayi gwabwe.

b. Okukuuma Obutembenkevu

Ebika era bikola kinene nnyo okukuuma obutebenkevu bw'Obwakabaka. Olw'okuba nti ebika bisobola okwegattira awamu singa Obuganda bubeera bulumbiddwa, bisobola bulungi nnyo okulwanyisa omulabe yenna abeera abalumbye, ne basobola okukuuma Kabaka waabwe.

Ebika era bye byakolanga eggye eryakuumanga Kabaka. Kino baakikoleranga wamu ne bawangula omulabe eyabanga abalumbye.

Obwakabaka bwe bwaggyibwawo, essiga eryasigala likumaakuma Abaganda lyali bika. Mu 1971, Abataka baasisinkana Idi Amin eyali pulezidenti wa Uganda mu budde obwo nga bamusaba okuzzaawo Obwakabaka. Ne mu 1986, Abataka baali basaale okujjukiza Pulezidenti Museveni nti Buganda erina Nannyiniyo. Enteeseganya nnyingi baazirimu butereevu era n'olukiiko lwa Ssaabataka olwokuntikko bwe lwateekebwawo mu Ssebaaseka, 1991, lwakoleranga wamu n'Abataka.

Mu budde ng'Obwakabaka tebuliiwo, empisa zaffe ng'Abaganda twaziragiranga mu mikolo egikolebwa ebika/ Abataka, gamba okwabya ennyimbe.

c. Okunyweza Obumu

Ebika bigatta Abaganda ne bafuuka ng'abenda emu. Kino kinyweza nnyo obumu mu Baganda. Mu Buganda tewali akwatirwa munne buggya olw'okuba baawula ebika. Enkola eno singa tugigenderako ne mu ddiini, oba mu bibiina byobufuzi, kyandiyambye okunyweza obumu. Okubunyisa Amawulire Okutambuza amawulire ag'enjawulo mu kika kyanguwa olw'obukulembeze obw'emitendera egy'enjawulo obulambikiddwa obulungi mu buli kika. Kino kiyamba okuleetawo enkulaakulaana ate n'okwongera okunyweza empuliziganya.

Kino kitwetaagisa okunyweza emitendera gy'ebika egyo, okuba n'enkiiko mu masiga, mu mituba n'okutuuka wansi.

d. Enkulaakulana

Ebika bikola kinene nnyo mu by'okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda olw'ensonga nti, buli kika kirina abantu abalina obukugu obw'enjawulo awamu n'ebitone eby'enjawulo ebyeyambisibwa okukulaakulanya Obuganda mu ngeri ezitali zimu. Ekyokulabirako, gye mizannyo egiwakanirwa mu bika byaffe gikola kinene nnyo okutumbula ebitone by'abaana mu Buganda abawala n'abalenzi.

e. Obutonde bw'ensi

Ebika mu Buganda bisaale nnyo ku nsonga y'okukuuma obutonde bw'ensi. Kino kikolebwa olw'okuba nti ebika byonna birina obutaka bwabyo ate ne bye bikkiririzaamu eby'enjawulo omuli; ensozi, enzizi, amayinja, ebibira, emigga n'ebirala bye balinako emizizo era nga kitwalibwa nti kizira okubisaanyawo.

Waliwo n'abagamba nti enkola y'ebika mu Buganda mu ntandikwa yagenderera okutaasa ebitonde ebyali byolekedde okusaanawo. Ebyo bye tweddira naddala ng'ebisolo, oba ebimera bulijjo tuba twagala okubikuuma n'okubitumbula bibeerewo ebbanga lyonna.

f. Okukuuma Ebyafaayo

Obuvo bw'ebika buyamba nnyo okukuuma ebyafaayo by❜ekika ekyo.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale.. ng'Enkumbi ku Bbega!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *