Skip to content
Bya Mutaka Kayiira Gajuule F. D. Kasibante
Abataka abakulira ebika bya Buganda eby’enjawulo okusooka buli omu yali ku lulwe era ng’akulembera abantu be mu ngeri ye. Wabula oluvannyuma baasalawo okutuula wamu era ne bakkiriziganya Kabaka Kintu okuba mukama waabwe. Kino kyabagatta, era enkola y’okutuulanga awamu n’etandikibwawo.
Olukiiko luno nga lukulirwa Ssaabataka Kabaka nga ye mukulembeze waalwo Ow’ku ntikko. Olukiiko luno lwakubirizibwanga Ssaabataka okutuusa bwe yasiima n’atandika okulondanga Omutaka owaakasolya okulukubiriza ku lulwe. Mu kiseera kino olukiiko luno lukubirizibwa Omutaka Kayiira Gajuule Kasibante Fredrick Daudi, ku lwa Ssaabataka.
Ebikolebwa Kaakano
Okukyalira n’okulambula Obutaka bw’ebika eby’enjawulo, olw’okulaba embuga n’okulondoola Ppolojekiti z’enkulaakulana ku butaka bw’ebika byonna.
Okutumbula empisa, obuwangwa n’ennono z’Abaganda. Kino kirabikira nnyo mu misomo n’ebyoto mu bifo eby’enjawulo.
Okwenyigira mu kaweefube akulembeddwamu Kabaka, ow’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya okusingira ddala mu Buganda.
Okutuuza enkiiko mu bika. Kino kyongedde okugatta n’okwagazisa abazzukulu baffe ebika byabwe.
Okwagazisa abavubuka okudda mu bika byabwe okubiweereza.
Okwongera amaanyi mu kulaba ng’olukiiko lukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.
Okuteeka amaanyi mu nteekateeka za Ppolojekiti y’okukulaakulanyiza Abataka awamu.
Okwaŋŋanga ensonga zonna ezisoomooza Obuganda.
Okulaba ng’enteekateeka zonna ezikolebwa okutwala Buganda mu maaso ziwagirwa abazzukulu nga basinziira mu bika byabwe.
Okulaba ng’abazzukulu mu bitundu eby’enjawulo beeyongera okubeera obumu n’okubakubiriza okuyambagana n’okukola ennyo.
Enteekateeka ezomumaaso
Olukiiko luno lwagala nnyo;
Okwongera amaanyi mu nkola y’okukyalira n’okulambula Obutaka bw’ebika eby’enjawulo. Okulaba embuga n’okuloondoola Ppolojekiti z’enkulaakulana ku butaka.
Okwongera amanyi mu kutumbula empisa obuwangwa n’ennono ebya Buganda. Kino kiggya kulabikira nnyo mu misomo n’ebyoto mu bifo eby’enjawulo.
Okwenyigira mu kaweefube akulembeddwamu Kabaka wa Buganda ow’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya okusingira ddala mu Buganda.
Okwongera amaanyi mu kutuuza enkiiko mu bika. Kino kyongera okugatta n’okwagazisa abazzukulu baffe ebika byabwe.
Okwagazisa abavubuka okudda mu Bika byabwe okubiweereza.
Okwongera amaanyi mu kulaba nga lukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.
Okuteeka amanyi mu nteekateeka za Ppolojekiti y’okukulaakulanyiza Abataka awamu.
Okwennanga ensonga zonna ezisoomooza Obuganda.
Okulaba ng’enteekateeka zonna ezikolebwa okutwala Buganda mu maaso nga ziwagirwa abazzukulu.
Okwongera amaanyi mu kukyalira abazzukulu aba Nkoba za Mbogo mu matendekero ag’enjawulo.