Bya Kyembe Tom
Ekibuuzo: Frank Kisala Mbaziira obulamu bwo wabutandika otya?
Okuddamu: Nasomera Kawuku Primary School ne Old Kampala, gye nava ne ntandika kkoosi ey❜okubala ebitabo. Bwe mmala okusoma ebyokubalilira ebitabo, ne nfuna omulimu mu UGIL. Eyo nakolerayo okumala emyaka kkumi n'etaano ne nvaayo mu 1989. Natandika okukolera mu kitongole kya Posta. Bwe baatusalako ne ntandika okwekolera egyange. Obukulu bw'ekika nabufuna mu 1983, ne mpasa mu 1985.
Ekibuuzo: Mu biseera byo eby'okukola wafuna bisoomooza ki?
Okuddamu: Twakola emirimu era nga batusasula bulungi. Ekiseera kyatuuka ne tuwummula era tewaaliwo nnyo bisoomooza.
Omusasi waffe yakyalidde omutaka Mbaziira,
era emboozi yaabwe yagudde bw'eti amakerenda.
Omutaka Mbaziira ye mukulu w'ekika ky'Ennyange ekimu ku bika by' Abaganda. Obutaka bwe busangibwa Bulimu mu ssaza Kyaggwe. Erinnya Mbaziira lya bukulembeze. Erinnya lye ettuume ye Frank Kisala, mutabani wa Michael Zinaabala era gwe yasikira, naye yali Mbaziira. Nnyina ye Eveniya Norah Nakato Namubiru Nnaalongo yeddira Mmamba. Yazaalibwa mu mwaka 1954, aweza emyaka nkaaga mu esatu (63).
Ekibuuzo: Mu ndaba yo, Buganda eyimiridde etya?
Okuddamu: Tubadde mu kusoomoozebwa mu buli kintu, naye okutwalira awamu, twefubyeko, tukoze emirimu nga tugitambuza bulungi ne mukama waffe Ssaabasajja okuviira ddala mu 1993 lwe yatuula ku Nnamulondo.
Ekibuuzo: Kimanyiddwa nti Obuganda bika, oyinza kukirambulula otya?
Okuddamu: Obuganda bika, kubanga Obuganda butambulira ku bika. Nga bwe ndi omukulembeze w'ekika, abantu be ntambula nabo mu kika kyange, era be bantu ba Buganda, kye tuva tugamba nti, Buganda bika. Ebika gwe musingi ogutambuza Buganda era ebika bwe bitabaawo, n'Obuganda tebubaawo.
Ekibuuzo: Jjajja Nnamulondo eggumidde ye Buganda ennywevu. Nnamulondo kye ki? Era eggumira Etya?
Okuddamu: Nnamulondo ye Kabaka, bw'aba aggumidde emisingi gyonna egitambuza Buganda giba gitambula bulungi. Era okuggumira kwa Nnamulondo kwe kulaba ng'emisingi gyonna gitambula kinnawadda, tugambe nga ebika, amasaza gaffe, eggombolola, emiruka n'ebirala byonna bwe biba bitambula bulungi tuba tuggumizza bulungi Nnamulondo.
Ekibuuzo: Mwe nga bajjajja, omulimu gwammwe gwe guli wa mu kuggumiza Nnamulondo?
Okuddamu: okuggumiza Nnamulondo kwe kuweereza Kabaka nga tugoberera ebyo ebisaana okukolebwa. Mu kika kyange, abazzukulu tubakunze okwetaba mu musomo gw'omu lubiri abazzukulu bajje bamanye ennono yaabwe. Bayige obukulembeze okuva ku mutaka nga nze, okutuuka ku Ssaabasajja. Bwe tukola ekyo n'ebirala nga tetuleseeyo n'ekimu, obuvunaanyizibwa bwaffe tuba tubuukirizza okusobola okuggumiza Nnamulondo.
Ekibuuzo:
Obuvunaanyizibwa bw'Ekika ky'Ennyonyi Ennyange eri Nnamulondo bwe buli wa?
Okuddamu: Obuvunaanyizibwa bwaffe gye mirimu gyaffe gye tukola eri Nnamulondo, tulina ekyoto kye tukuma, tulina n'abasiige abalala abaweereza Kabaka, obwo bwe buvunaanyizibwa bwaffe bwe tulina okutuukiriza ng'Abennyonyi Ennyange.
Ekibuuzo: Ggwe ng'omutaka Mbaziira, ttoffaali ki ly'ogasse ku kunyweza Obuganda?
Okuddamu: Ettoffaali lye ngasseeko ng'omuntu, Ssaabasajja Kabaka yankwasaako obukulembeze ne nkulemberako bataka bannange. Nagattako amaanyi gange mangi okuggumiza Nnamulondo, nze
Abamu ku Bataka abeetaba ku matikkira aga 24 e Buweekula, 2017 nnavaako ne nziririrwa Omutaka Nakirembeka, kulyoke kuddeko Omutaka Kayiira aliko kati. Twakola ebintu bingi nga tuli wamu ne bataka bannange.
Ekibuuzo: Olowooza tuyinza tutya okukuuma ennono mu kaco kano?
Okuddamu: Ennono ekuumwa ffe, bwe tugikuuma obulungi