Obukulu bw'Ebika mu Buganda

Bya Oweek. Charles Peter Mayiga

Ensibuko y'Ebika by'Abaganda Omuntu bw'ayogera ku kika mu Buganda, abeera ategeeza ekibinja ky'abantu abakkiriza nti balina olulyo lumu, era nga bakkiriza nti basibuka mu muntu omu gwe bayita Jjajjaabwe, nga ono y'atwalibwa nga omukulu w'Ekika ekyo.

Omukulu w'ekika mu Buganda ayambibwako abakulembeze abalala mu kika ekyo okuli Abaamasiga, Abeemituba, Abennyiriri, abakulira Ennyumba ate n'abakulira Empya ezikola ekika ekyo.

Mu ntandikwa, Obwakabaka bwa Buganda bwatandikibwa n'ebika mukaaga (6) ebimanyiddwa nga binnansangwa okuli Effumbe, Olugave, Enjaza, Ennonge, Abakerekere n'Ennyonyi. Wabula ebika bino byagenda byeyongera obungi.

Obwakabaka lwe bwalumbibwa, byali biweredde ddala 52. Ebika mu Buganda tebituumibwa mannya g'abo araabitandikawo, wabula bituumibwa amannya ag'emiziro ate ebirala birina amannya agatuumibwa ekibinja ekyo okugeza aboomutima bayitibwa Abayanja, abeemmamba kakoboza bayitibwa Abakerekere n'ebirala. Era buli kika kirina omuziro, akabbiro n'omubala era biba n'amannya ge batuuma abazzukulu baamwo.

Omugaso gw'Ebika mu Buganda:

i. Lujegere

Ebika lwe lujegere olugatta abantu ba Buganda obutereevu ku Ssaabasajja Kabaka wa Buganda. Buli Muganda ava mu nnyumba; Ennyumba erina Olunnyiriri mweva;

Olunnyiriri lulina Omutuba mwe luva; Omutuba gulina Essiga mwe guva; ate essiga lye lituusa Omuganda ku Mutaka ow'Akasolya ate n'Omutaka n'atuusa bazzukulu be ku Ssaabasajja Kabaka.

Abataka ab'Ekika ky'Ekibe nga bawa Ssaabasajja Omwendanvuma; Ab'Ekibe be bassenero ba Kabaka
Abataka ab'Ekika ky'Ekibe nga bawa Ssaabasajja Omwendanvuma; Ab'Ekibe be bassenero ba Kabaka

Omukomazi; Ab'Ekika ky'Eŋŋonge be bakomazi ba Kabaka abakulu

Olujegere olwo terukoma

ku mitendera gya bika gyokka. Wabula, bwe tuwasa oba okufumbirwa, tuyunga oluganda mu bika gye tuba tufunye abakyala oba abaami, owoomutima bw'awasa owembogo, ne bazaala abaana, abaana abo baba n'oluganda n'ekika kya Jjajjaabwe azaala nnyaabwe. Mukyala wange nnyina wa Nkima, ate Mmange wa Ngabi. Awo kitegeeza nti abaana baffe balina oluganda ku Nkima, n'Engabi. Era n'abo bajjajjaabwe balina bannyaabwe ababazaala ba bika bya njawulo.

Ate buli Muganda alina oluganda ku Kabaka, olw'okuba Kabaka awasa okuva mu bika eby'enjawulo. Ate Kabaka abeera ku Nnamulondo atwala muziro gwa nnyina, kino kitegeeza nti ebika eby'enjawulo bifuna omukisa okufuga Obuganda. Awo nno, ebika lwe lujegere olutugatta awamu ne lututuusa ku Kabaka.

ii. Okukola emirimu

Enkola ey'ebika eyamba okwanguya emirimu egikolebwa mu Buganda. Abantu ba Buganda bwe bayitibwa okubaako emirimu gye bakola eginaagasa bonna, gyanguwa nnyo bwe bakungibwa mu bika byabwe, kubanga bakunnaana mangu olw'obutaswaza Jjajjaabwe. Kino era ne mu biseera ebyayita kyakolebwanga, olw'ensonga nti abantu ab'ekika ekimu baabeeranga mu kifo kimu era nga bwe baayitibwanga nga bajja mangu okukola emirimu eginaabagasa.

Mu bika byaffe era mwe muva abantu abakola emirimu gya Kabaka egy'enjawulo era mu nnono ya Buganda, buli kika kirina emirimu emitongole gye kikola embuga. Buvunaanyizibwa bw'abakulu mu kika okuwaayo abantu abasunsuddwa obulungi bakole emirimu gy'ekika mu Lubiri, ng'abasiige. Kino kikuuma

obwesigwa nga batya okuswaza ebika byabwe.

Ennaku zino, ensi egenze ekyuka. Kizibu okugamba omwana azaaliddwa ku mulembe Omutebi guno nti omulimu gw'Abenηonge kwe kukomagira Kabaka embugo n'akitegeera, kubanga olubugo terukyayambalwa, okuggyako ku

mikolo.

Kizibu okugamba Owente nti omulimu gwabwe gwa kuweesa, anti obwambe bugulibwa mu maduuka. Abantu abamu kye bava bagamba nti, Ssaabasajja asiime ebika abyongereko emirimu egiriwo mu nsangi zino. Omuteregga ayinza okulaba ekika n'akikwasa omulimu ogw'ebyuma bikalimagezi (IT); ekika ekirala ayinza okukikwasa omulimu ogw'okunoonyereza ebyafaayo; ekirala ne kiweebwa ogw'obutunzi bw'engoye okusinziira ku bukugu bw'abazzukulu abali mu bika ebyo eby'enjawulo.

Kabaka ng'akuba ku ŋŋoma Buganda Bumu ku bikujjuko by'amatikkira aga 24 e Buweekula
Kabaka ng'akuba ku ŋŋoma Buganda Bumu ku bikujjuko by'amatikkira aga 24 e Buweekula

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *