Engeye kika kya byafaayo nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda; olw’ensonga nti kye kimu ku bika omukaaga binnasangwa (Engeye, Effumbe, Olugave, Ennyonyi, Enjaza n’Emmamba Kakoboza). Kiyinzika okuba nti kye kyasooka, kubanga abantu abaasooka mu nsi eno Buganda nga ekyayitibwa Muwawa, baali bayitibwa Abalasangeye.
Engeye kika kya byafaayo nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda olw’ensonga nti kye kimu ku bika omukaaga binnasangwa (Engeye, Effumbe, Olugave, Ennyonyi, Enjaza n’Emmamba Kakoboza). Kiyinzika okuba nti kye kyasooka, kubanga abantu abaasooka mu nsi eno Buganda nga ekyayitibwa Muwawa, baali bayitibwa Abalasangeye. Bakabaka abateberezebwa okuba nga baafuga ensi Muwawa nga Kintu tannajja, baawerera ddala 101, nga Bbemba Musota ye yasembayo mu luse olwo. Kati oluse lwa Kintu lwe tulimu lwakaweza Bakabaka 36 nga obaliddemu ne Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II.
a. EBYAFAAYO BY’EKIKA KY’ABEDDIRA ENGEYE
Jjajja w’ekika kino ye Bakazirwendo Ssemmandwa.
Kabaka Kintu okutandika okufuga Buganda yamusanga ku mutala Bumpenje mu Busiro. Kintu yawasa Nnambi Nnantuttululu muwala wa Bakazirwendo e Bumpenje. Ono ye yazaala Ccwa Nnabakka eyasikira Kintu, Kintu yafuga Obuganda wakati wa 1295 ne 1365.
Omulangira Kalemeera bwe yasindiikirizibwa okugenda e Bunyoro okupakasa aliwe omusango gw’olufulubanja ogwamuteekebwako nti yali avugudde muka Katikkiro Walusimbi, Bakazirwendo yalonda mutabani we Lule kyesimba awerekere ku Mulangira. Kyesimba yali amanyi okujjanjaba omusujja, era ye yali omusawo w’Omulangira.
Kalemeera bwe yafa Lule najjanjabanga omulangira Kimera, naamutuuma erinnya Kasujja, n’amuwa n’omutala Zibaale ogwatuumibwa Busujja, asinziirenga omwo okujjanjabanga Kabaka (Kimera yali afuuse Kabaka) Bakazirwendo bwe yalaba nga mutabani we agenze nnyo ewa Kabaka n’amuwa n’obukulu bw’ekika , olwo ye Bakazirwendo naafunda ku bwajjajja bw’Ekika
b. OKUTEREEZA EBYAFAAYO BY’EKIKA.
Oluvannyuma lw’emyaka 89 nga ekika ky’abeddira Engeye tekirina bukulembeze obw’ennono mu kifo ky’Obwakasujja, Ebintu bingi byasoba. Wabula nga 12 Mugulansigo 2016, ekika lwe kyafuna Kasujja owennono omutuufu. Ono ye Hajji Muhmoud Minge Kibirige.
c. EBYAFAAYO BY’EKIKA MU BUFUNZE
Engeye kasolo akafaananako enkima naye nga ko keeru nnyo ate nga kayonjo kitalo. Mu biseera eby’edda, Abalasangeye, nga be bantu ababeeranga mu nsi Muwawa bwe yali nga tennafuuka Buganda, engeye zaayiggibwanga nnyo olw’okuziggyako amaliba gaazo ge baayagalanga ennyo olw’obulungi bwago.
d. ENNONO Y’OKWEDDIRA ENGEYE
Kigambibwa nti okutuuka okweddira engeye Abalasangeye baayagala okutaasa ensolo zino okuzikirizibwa abayizzi abaali baziyigganya ennyo nga bazitta okuziggyako amaliba gaazo bagatunde mu busuubuzi obwa ‘”mpa nkuwe”. Akabbiro k’Abebgeye, baalonda akanyonyi akasinga okulabika obulungi akafaanana nga Nnamunye. Wabula kalina akensuti kawanvu okusinga aka Nnamunye nga kalina n’amatabi abiri.
e. OMUBALA GW’ABEDDIRA ENGEYE
“Tatuula, asuulumba busuulumbi. Ttutu lifumita likyali tto, bwe likula lisereka nnyumba”. Mu mubala guno mwe muva ekisoko ekikozesebwa ku muntu atatuula wamu nti, “Gundi akuba ya Bageye”.
f. AMASIGA G’EKIKA
Balina amasiga mwenda, era asatu ge tusoose okulaga gayitibwa gannansangwa. Ge gano:
1. Bakazirwendo e Bumpenje mu Busiro. Lino lye ssiga nnakazadde.
2. Kasule e Buwembo mu Busiro
3. Mpoza mu Ggwaatiro e Butambala
4. Ggayi e Bugayi mu Mawokota.
5. Nnamungo e Kaabagolo mu Ssingo
6. Muwuluzi e Kigo mu Buddu.
7. Muwuluzi e Misasa mu Buddu.
8. Kisero e Busero mu Mawokota
9. Ssebatta e Mutundwe mu Kyaddondo.
Balina n’emituba egyetuukira giri esatu: Ogwa Kalutte oguvaamu alya Obwakasujja, ogwa Museruka oguvaamu abeera Lubuga wa Kasujja n’ogwa Ssebuloolo. Emituba egyo gyonsatule giri ku butaka e Busujja mu Busiro.
Oluvannyuma Bakazirwendo yasalawo okuwa Mutabani we Lule Kyesimba obukulembeze bw'ekika kye Ngeye akikulembere nga asinziira Busujju. Kati obutaka bw'e Busujju bumaze emyaka 645 okuva ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera. Naye Kya nnaku nnyo ate kati okulaba nti abaali bakulembera ekika kye Ngeye nga abakuumi (ensowole), Kati bakaayanira obutaka bw'e Busujju mbu bwabwe so si bwa kika kye Ngeye.
Obukulembeze obw'ennono obwazzibwawo mu mwaka 2016 nga bukulemberwa Omutaka Kasujju Kyesimba VII, Hajji Muhmoud Minge Kibirige bwamala dda okuwaayo okwemulugunya mu kakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemereire mu mwaka 2017, ku nsonga Eno era ekika kisuubira nti ensonga zino nazo zigenda kuggwa mu mirembe nga Obwakasujja bwe bwagonjoolwa mu mirembe oluvannyuma lw'emyaka 89, okuva mu mwaka 1927, Kasujja Obw'ennono Alikaali Zzibuyimbwa Kasujja VI lwe yafa.
(Amannya agatuumibwa mu kika ky'abeddira Engeye kyonna.
ABALENZI: Ggayi Naluswa, Buwembo, Kasule, Ssemugenyi, Kalule, Mugga, Ssekitto Ssebunnya, Kibirige, Kakande, ne Ssejjongo.
ABAWALA: Nnaggayi, Nnakayiza, Nnanfuka (nnyanga eri Ttanda), Nnakkubulwa, Nnakalule, Nnabunnya, Kisero, Muyingo, Nnambajjwe, Nansukusa, Nnamugga, Nnabatta, Nnakakande, Nnalukenge.
Wabula waliwo n’amannya agatuumibwa mu masiga agamu naye nga tegabuna mu masiga gonna.
Bakasujja abazze bakulembera ekika kye Ngeye:
Mu luse luno olwa Kintu lwe tutambuliramu, Kintu we yakwatira obuyinza mu mwaka nga 1295, egyo nga gye myaka 724 egiyise Bakasujja bazze baddiriŋŋ ana bwe bati;
1. Lule Kyesimba Kasujja I
2. Kasookolindo Kasujja II.
3. Musanaalumbwa Kasujja III
4. Bwagu Kasujja IV
5. Petero Kanyambo Kasujja V
6. Alikadi Zzibuyimbwa Kasujja VI
7. Hajji Muhamoud Minge Kibirige Kasujja VII. Ono y’aliko Kati oluvannyuma lw’okusinga omusango mu 2016.
g. EMIRIMU GY'ABENGEYE KU KABAKA.
Abengeye balina emirimu mingi gye bakola ku Kabaka era gye gino.
1. Okukuuma abalongo ba Kabaka era Kisumugungu nga ali ne kitaawe Bakazirwendo be bakola emikolo ku Mutabani wa Kabaka Omukulu agimufuula Kiweewa, Oluvannyuma lw'okumubakwasibwa Omutaka Kasujju Kyesimba Omukulu w'Akasolya k'ekika kye Ngeye.
2. Okukuuma oluzzi lwa Kabaka Kanywabalangira – omusiige ye Kalindaluzzi
3. Okusereka enju za Kabaka n'Amasiro – omusiige ye Wabulaakayole ava mu ssiga lya Ssebatta e Mutundwe mu Kyaddondo.
4. Okubumbira Kabaka ebibumbe – omusiige ye Sseddagala
5. Okulunda embuzi za Kabaka – Omusiige ye Kawuka, ava mu saiga lya Bakazirwendo.
6. Okukuuma ennombe za Walumbe e Ttanda – Omusiige ye Nnakabaale ava mu saiga lya Kasule e Buwembo.
7. Bambowa ba Kabaka abakulu.
8. Okukongojja Lubaale wa Kabaka Wanneme – Omusiige ye Nnakalago.
9. Okuvuba ebyennyanja bya Kabaka (Enkejje) – Omusiige Kisero.
10. Mpoza mu Ggwaatiro ye Ssaabaddu mu ssenero lya Kabaka.
h. EBIFO EBY'ENNONO MU KIKA KY'ABEDDIRA ENGEYE
1. Ennyanja ku mutala Bumpenje –Busiro
2. Oluso lwa walumbe e Ttanda
3. Embuga ya Majanja e Kitukutwe
4. Omutima Namadengede – e Mawokota
5. Obutaka bw’e Busujja ,Okulirana,
a. Oluzzi lwa Nnambi
b. Ejjinja Nnanfuka
c. Ejinja Ngalama
d. Omuti Nnabonganaani
e. Embuga y’omutuba Kalutte
f. Embuga y’omutubawa Museluka
g. Embuga y’omutuba Ssebulooko
h. Ennyumba Busujjabuladde
Kikakata ku buli muzzukulu okulambula embuga zino, asobole okumanya ebyafaayo by’ekika kyaffe, nga bwe kiri kya buwaze Abaganda bona okulambula ebifo by’ennono mu bika byabwe.
i. AKAKWATE K’EKIKA KY’ENGEYE
Ekika ky’Engeye kirina oluganda n’ekika ky’Engo kubanga Nnambi Nnantuttululu maka Kintu, omwana we omulenzi gwe yazaala mu Kabaka Kintu, ye yalya obwa Muteesaasira, kati omukulu waakasolya mu kika ky’Engo. Noolwekyo Omutaka Muteesaasira aba mujjwa mu kika ky’Engeye
Ekirala mu kika Ky’Emmamba y’e Buwaya omukulu w”ekika Gabunga abeera mukodomi wa Kasujja, kino kiri bwe kiti, Nnanfuka muka Mubiru Gabunga I yali wa Ngeye .Olw’okuttukiriza oluganda luno, Abemmamba baategeka omukolo kkuulaamalungi nga 27/12/2017 ku butaka bwabwe obukulu e Nkajja mu Busiro gye bazimba ekijjukizo ekirungi ennyo ewaaziikibwa omutaka Gabunga I ne mukazi we Nnanfuka .Baayita omutaka Kasujja n’agenda abeere omugenyi omukulu ku mukolo ogwo. Omukolo guno gwali gwa kitiibwa nnyo nga Omutaka Gabunga ayaniriza mukodomi we Omutaka Kasujja. Noolwekyo Abemmamba nabo babeera bajjwa mu kikka ky’Engeye.
Nga 11,01,2019, Omutaka Kasujja kyesima,omukulu we kika ky’abeddira Engeye yalangirira amannya g’abakulembeze b’agenda okukulembera nabo ekika okumala emyaka ena (4)
Ate bo Aboobutiko batta omukago n’ekika ky’Egeye. Kye baava bakiteeka ne mu mubala gwabwe nti “Ensuku zaffe bbiri olwa Kasujja ne Ggunju ezaatuwonya ankolo.” Era olw’okunyweza omukaga ogwo, abeddira Engeye be bokka abakkirizibwa okwetaba mu mazima Aboobutiko ge bazinira Kabaka abayitibwa”Amaggunju.”
OBUBAKA: Ebika bya Baganda byonna byandibadde byettanira nnyo okukolera awamu kitole, ne bigatta amannyi gaabyo byonna nga bwe byakola ku Matikkira ga Beene mu 1993, Awo lwe bijja okuzza Buganda ku ntikko. Naye enkola eno eya ‘Nnaasiwa mu kange’ nga buli kika kikola kyokka ,terina gy’ejja kututwala ,kubanga Buganda Bika.
j. Enteekateeka Y’enkulaakulana mu kika
Nga 11/01/2019, Omutaka Kasujja Kyesimba, omukulu w’ekika ky’abeddira Engeye yalangirira amannya g’abakulembeze b’agenda okukulembera nabo okumala emyaka ena (4). Abakulembeze abo baagabanyizibwamu ebitongole 15, era nga bye bino: Ekitongole ekiwandiisi, ekitongole eky’amawulire, ekitongole ekiwanika, ekitongole eky’ebyennono, ekitongole ekitaawulula enkaayana, ekitongole ekyabavubuka, ekitongole ekifulumya ebiwandiiko. Ebirala mulimu, ekikulaakulanya ebitone, ekyebyemizannyo, ekyebyettaka n’obutebenkevu, ekiteekerateekera ekika, eky’ebyekkaddiyizo n’olukiiko lw’abayima. Buli kimu ku bitongole bino kirina egyakiweebwa gye kiteekwa okukola ku lw’obulungi bw’ekika kyonna.
Bikuŋŋaanyiziddwa:
Kasule Kasule Charles
eyali Omuwandiisi Oweekyama owa Kasujja
Omukulu Owaakasolya k’ekika Engeye