Okuyigga mulimu gw’Abaganda ogwakolebwaanga abantu ab’enjowulo era nga kya buwangwa mu nnono ya Baganda. Okuyigga kuliko Lubaale akutambulirako era nga teri ayigga nga Lubaale DDUNGU tamukutte. Okuyigga kulimu emitendera ebiri; okuziga n’okuyigga, era nga buli mutendera gukolebwa mungeri yaagwo nga bwetugenda okukittaana wammanga. Okuyigga kwa bika bibiri omuli; okwandaaza ne kuno okwa bulijjo.
EBIKOZESEBWA MU KUYIGGA
Ebiyiggibwa n’ebikozesebwa
| Ebiyiggibwa | Ebikozesebwa |
|---|---|
| Ensolo ennene: engabi, enjobe, ensama, envubu, enjovu, enjiri, namulimi | Bitimba, mafumu, mbwa |
| Ensolo entono: emisu, empeewo, obumyu, namunnungu, amafumbe | Ntuula, mbwa, miggo |
| Ebinyonyi: enkofu, enkwale, entawuluzi, amayiba, entiitiri | Byategebwanga n’emitego; enkofu yakubwanga na muggo |
Emiguwa/ebitimba n’entuula
Eŋŋwany(o)u
Eŋŋombe
Embwa
Ebide
Amafumu
Amalenge
Abantu
Emiggo
OKUYIGGA KWENNYINI
Nga bwetwalabye okuyigga kulina emitendera ebiri; okuziga n’okuyigga okw’ekirindi
Okuziga
Omuyizzi omu asooka n’agenda mu ttale, naalaba ensolo weeri, neyeetoloola ekizigo okumanya ensolo we yayingiridde, empungu eziri ku kizigo n’okukakasa nti oba teyayiseemu n’egenda oba ku kizigo kweri era n’amanya awanaategebwa emiguwa n’abakoobezi we banaayimirira olwo naagenda ayita banne.
Ekikolwa ekyo kiyitibwa kuziga ate akikoze ayitibwa muzizi. Omuzizi yakozesanga ŋŋombe okuyita banne. Omuzizi bwamala okulaba ensolo, alambawo okutegeeza omuzizi omulala nti ensolo eyo yazigiddwa dda, ekyo akikola nga yeeyambisa buti era kiyitibwa okulamba ekizigo.
Bino byebikakasa nti ensolo ku kizigo kweri; ebigere, olusu, obwoya, weyayingiridde ate nga weyafulumidde tewalabika.
Okuyigga
Omuzizi aba yamaze okukakasa ekifo we bagenda okuyigga era ekifo ekyo kiyitibwa kizigo. Bwafuuwa eŋŋombe, buli muyizzi wonna waali atambula agenda gy’evugidde olwo ne bakuŋŋaana. Buli muyizzi agenda n’ebyo byetwalabye ebikozesebwa mu kuyigga okusinziira ku buli omu kyalina. Bakuŋŋaanira ewooyo azize oba ew’omukulu w’abayizzi, awo webava ne bagenda ng’omuzizi abakulembeddemu. Batambula kasirise era bagenda basuula obusubi okulagirira bannabwe abakeereye basobole okumanya we bakutte era obusubi obwo buyitibwa obuwa.
Bwebatuuka ku kizigo batega ebitimba, omuyizzi omukulu alagira abalala aw’okuyimirira olwo ne batandika okuleekaana nga bwebakubirira ku nsiko. Embwa ezibaddemu ebide ebizibikire, biggyibwamu ebisubi olwo omwasirizi n’aziwunyisa mu buufu bw’ensolo ne zigenda nga ziwunyiriza (zikonga) olusu era nga naye bwazigoberera, agenda aziwereekereza n’ebigambo bino; ‘’Aiiiiiii, wuyo, wuyo, wuyo, mukwate omulye, iriya nnyaabula nnyange’’ nebirala bingi. Olwo embwa zitandika okuleekaanya ebide okukanga ensolo, abagoba baba baleekanira oludda olulala olutaliiko bitimba, ensolo bwewulira awatali lwogaano, efubutuka gye dda kumbe weewali abalina amafumu era n’ebitimba.
Ensolo bwe bagifumitira mu bbanga nga tennatoola, ekyo kyetuyita okufumita obutanga era kikolebwa bantomo era omuyizzi akikola atenderezebwa nnyo. Ensolo bweyeesogga ekitimba, bagikasukira amafumu era asooka okugifumita alayira nti, “Ku lwa Kabaka”, amakulu nti ekikolwa ekyo kya buzira era akikoze ku lwa Kabaka oba mu linnya lya Kabaka. Addako okufumita n’alayira nti ku lw’ebikya, ate asembayo n’alayira nti ku lw’amayiŋŋaanyi(ze mbiriizi z’ensolo essatu).
Nannyini kitimba omugudde ensolo tafumita olw’okwewala omuntu omu okutwala emigambo emingi. Omuntu bwafumita ensolo n’ataginoza ate ow’okubiri n’agifumita eriginoza ekyo kyetuyita okuweekula omuntu
Ensolo ntono nga omusu, empeewo oba entalaganya, tebifumitibwa wabula babituulako ne babituga.
ENGABANA Y’ENNYAMA
Afumise ensolo okusooka era nga y’aba nnyini kitimba atwala omukono n’ekisambi. Ate bwaba nga si yennyini kitimba, atwala omukono ate ne nnyini kisambi n’atwala ekisambi, ate bwattiramu omulundi ogw’okubiri, ng’atwala ekisambi ate nga nnyini kitimba ng’atwala omukono.
Omuzizi w’ensolo atwala ekisambi, omutwe, omutima, ekitundi kya ssebusa, n’eddiba.
Afumita omulundi ogw’okubiri atwala nsikya gy’alayira oluvannyuma lw’okufumita.
Afumita omulundi ogw’okusatu atwala mayiŋŋaanyi (mbiriizi ssatu)
Omugoberezi/omwasirizi atwala kifuba
Nannyini ttaka aweebwa kigongo.
Abagoba batwala mukono oguba gusigaddewo.
OKUYIGGA KW’OKWANDAAZA
Abayizzi bagenda nga bayita mu bizigo bye baali bayizzeemu. Kuno okuyiga tekubaako muzizi wabula abayizzi bonna batambula basaggula ebizigo era bwe balaba ensolo, nga bagigoba n’okugikasukira amafumu okutuuka lwe bagikwasa era ab’entomu baafunanga nnyo omukisa okuzitta.
Mu kuyigga kuno, abayizzi bakozesa omusulo gw’abantu ne ogw’ensolo nga gutabuddwamu omunnyo (engugo) ne guterekebwa okumala emyezi ng’esatu. Baguyiwa mu kifo ekisuubirwa ensolo okutuukira, bwezituukawo zitandika okugulya olwo nebazigwamu okuzigoba olwo nebattamu zebasse.