a. Omuwanika w’Enkuluze

Omuwanika w'Enkuluze ye mukungu wa Kabaka awanika ensimbi za Kabaka eziva mu Lusuku lwe, mu Mailo 350, eziva mu Byalo bya Kabaka, n'endala zonna ezitatunulwamu. Era Omuwanika ono y'akulira n'emirimo mu Lubiri naddala egiba gyetaagisa ensimbi.

b. Ssaabaganzi

Ono ye mwannyina wa Nnamasole omukulu. Obutaka bwe obukulu buli Kkojja mu Kyaggwe. Erinnya lino lyagunjibwawo Ssekabaka Ssuuna II. Edda yayitibwanga Nakasese, kubanga yagendanga nnyo e Ssese mu Balubaale okufunayo amagezi ag'okuwangaaza omwana waabwe ku Bwakabaka. E Kkojja, kkojja wa Kabaka Mawanda ye yasooka okubeerayo. Bakkojja ba Kabaka bonna awamu babeera mwenda:

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *