Bya Oweekitiibwa Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere
Ettutumu lya Buganda, Eggwanga Buganda n’okutuuka okubeera empagi Sseddugge era omubumbirano okwazimbirwa ensi Uganda, kyava ku nsonga enkuku bbiri:
- Esooka, y’ennambika, ensengeka n’emitendera mu bukulembeze wamu ne mu mirimo;
- Eyokubiri ye ya Bulungibwansi;
Enjawulo n’Amawanga amalala
Abagwira – Abawarabu n’Abazungu abasooka okujja mu Afirika, bewuunya nnyo okusanga ensengeka (pulotoko), engoberera y’amateeka (law and order) n’enkola y’emirimo okuva waggulu, ku Kabaka, okutuukira ddala wansi ku mutuuze owa bulijjo. Kino baali tebakisanze wantu walala wonna gye baayita, okuggyako mpozzi mu nsi zaabwe.
Ennambika y’Obukulembeze ey’Ennono
Mu Buganda mulimu obukulembeze bwa mirundi mingi; Obumu bwa nsikirano, obumu si bwa nsikirano, obumu buli mu lulyo lulangira, obumu buli munda mu Lubiri, obulala buli bweru, obumu buli mu Bika.
i. Kabaka

Mu Buganda Kabaka ye muntu asinga obuyinza, ekitiibwa wamu n’ettutumu. Kye kitikkiro kya Buganda, era ye asooka mu byonna. Kyekiikyo Kabaka alina amannya agalaga ebitiibwa bye mangi ddala. Agamu kugo ge gano; Ssaabasajja, Ssaabalongo, Beene, Mpologoma, Omutanda, Magulunnyondo, Sseggwanga, Ssaabataka, Mugema, n’amalala mangi ddala, okulaga obukulu bwe.
Okuva edda nga Kabaka era ye mukulu w’enzikiriza yaffe, ye mukulu w’amateeka, ye mulamuzi Owookuntikko, ye Ssebintu, era nga ye Bbaffe.
ii. Nnamasole

Omukyala azaala Kabaka ayitibwa Namasole, Nnabijjano, Kanywabibumba, oba Kanywabirezi. Nnamasole mukyala wa kitiibwa nnyo, era ne mu Lusaka lwe, Kabaka alonderayo Katikkiro. Era nga olw’ekitiibwa ekyo nga Nnamasole tafumbirwa. Era tebalabagananga na mwana we oluvannyuma lwa Kabaka okumaliriza emikolo gy’okukula ewa Nankere, mu nnyumba Namiryango.
Naye eno empisa eya Nnamasole obutalabagana na Kabaka yadibizibwa Ssekabaka Ssuuna II, Noolwekyo edda Nnamasole teyatuulanga ku lukiiko lwa Kabaka.
Nnamasole yalondanga baganda be mwenda, nga bonna wamu be bamanyiddwa nga Bannakazadde ba Kabaka; Wannyana, Nabikande (ono y’azaalisa baka Kabaka), Nyika (ono ye Ssaabaddu wa Nnamasole), Nalyana, Nantaba, Mubisi, Nakaberenge, Bayomba ne Nalufuvu.
iii. Nnaalinnya Lubuga

Ono ye Mumbejja asika n’omulangira alidde Obwakabaka. Omumbejja Damali Nkinzi, Lubuga wa Ssekabaka Muteesa 1, ye yasooka okuyitibwa Nnaalinnya. Yali wa lulembe nnyo, ate nga wa ssimbo. Kino kyamuwalirizanga okulinnya mu bibbo bya Kabaka. Lubuga eyasookera ddala okusika ne Kabaka yali ku Ssekabaka Chwa Nabakka.
Amannya ge yali Kwamagezi Nabachwa Owennonge. Nnaalinnya Lubuga wa kitiibwa nnyo, era naye akongojjebwa nga Kabaka. Olw’ekitiibwa kino, nga Nnamasole bw’atafumbirwa, ne Nnaalinnya teyafumbirwanga, era ng’ayitibwa Ssebo. Kaadibizibwa ku Ssekabaka Muteesa I, eyafumbiza abaana be mu bakungu be.
Akalombolombo kano Nnamasole Margaret Ssiwoza ng’asoma ekitundu mu mwoleso gw’ebitabo mu Bulange, 2017.
Obwa Nnamasole bwatandikira ku Kabaka Kimera. Era olubiri lwa Namasole luyitibwa Lusaka. Lino lyatandikira ku Kisaka Wavvuvvuumira Kasamba ow’Embogo we yasambira Olusaka we baakuumira Wannyana. Erinnya Nnamasole lyatandikira ku kiti ekiyitibwa “Ekyeggamasole” Wannyana mweyakumirwa, nga Kimera agenze e Gganda mu Busiro okulya Obuganda.
Nnaalinya Lubuga ng’abuuza ku Ssaabasajja ku mukolo gw’amatikkira e Buweekula, 2017.
iv. Nnaabagereka

Okuva edda n’edda muka Kabaka eyakuliranga banne yayitibwanga Kaddulubaale. Erinnya eryo Nnaabagereka lyatandikira ku Ssekabaka Daudi Chwa II, bwe yagattibwa ne Irene Drusilla Namaganda mu Kkanisa y’eddini z’Abazungu e Namirembe. Bannaddiini Abazungu, erinnya Kaddulubaale tebaalyagala, era ne basaba Kabaka alonde erinnya eddala. Ssekabaka Daudi Chwa n’alonda Nnaabagereka, era okuva olwo ne lifuuka erinnya ettongole erya muka Kabaka. Wabula mu buwangwa bwaffe erinnya Nnaabagereka lituumibwa bawala mu kika ky’Obutiko. Kaddulubaale teyeetabanga ku Lukiiko lwa Kabaka.
v. Katikkiro

Mu Buganda Katikkiro ye Mwami oba Omukungu asooka era asinga ekitiibwa mu baami ba Kabaka bonna ebweru w’Olubiri. Okuva edda n’edda nga abaami bonna abaagala okulaba Kabaka, basooka kulaba Katikkiro. Ye n’alyoka abatuusa ku Kabaka. Era omwami yenna eyamenyanga etteeka lino yeesanganga mu buzibu bunene era nga ne Ssaabasajja tamutaasa.
Obuyinza bwa Kabaka kumpi bwonna abukwasa Katikkiro. Era bw’aba amukwasa omuggo gw’obwakatikkiro, oguyitibwa Ddamula oba Mbagambira, amugamba nti; “Twala Ddamula ono, ogende onfugireko Obuganda”. Era Katikkiro bw’amala okukwata Ddamula, tafukamira kweyanza, wabula akyuka bukyusi n’agenda e Butikkiro okulya ekibumba ky’ente.
Katikkiro taziyizibwa kulaba Kabaka wonna w’abeera, kubanga era akabi konna bwe kagwa ku Kabaka, Obuganda busooka kuvunaana Katikkiro. Era omulangira bw’aba asikira Obwakabaka, Kasujju Lubinga Owoolugave, amuleeta eri Katikiro; ate Katikkiro n’amwoleka eri Obuganda n’agamba nti “Ono ye Kabaka wammwe, mumuwulirenga, mumuwanga ekitiibwa, mumugonderenga, era mumulwaniriranga”.
Edda nga Bakabaka bakyatta abantu, kyaziranga Kabaka okusimba effumu ku Katikkiro. Ssekabaka Ssuuna Katikkiro yamwongerako erinnya eddala erya Kamalabyonna. Erinnya lino yalituuma Katikkiro we Kayiira ow’Embogo, ng’amaze okuwangula Busoga mu lutabaalo oluyitibwa olwomubigo.
Era Katikkiro y’alamula emisango gyonna egy’ebika mu linnya lya Kabaka. Emirundi mingi yeeyambisa Katikkiro we ow’eddiiro (Kisekwa). Obwakatikkiro bwatandikira ku Kabaka Kintu, Katikkiro Ssemwogerere Kakulukuku, mutabani wa Mukiibi Ssebukko.
Omutaka Mukiibi ng’amaze okukwatizaako Kintu okuwangula Bemba (musota) eyali Kabaka omukambwe ennyo mu kiseera ekyo. Kintu yasaba Mukiibi abeere Katikkiro we, kyokka Mukiibi yasaba Mukama we akkirize amuwe mutabani we, kubanga ye Mukiibi yali akuze.
Okuva edda ng’ekisaakaate kya Katikkiro kibeera kumpi awo mu maaso g’Olubiri lwa Kabaka. Era oluusi Katikkiro ky’ava ayitibwa ow’omu mbuga.