Obukulembeze mu Buganda

Abakiise b’Olukiiko

Okuva edda n'edda nga Kabaka alina Olukiiko olwamuyambangako okukola amateeka, luzze lukyukakyuka okusinziira ku mbeera. Olukiiko luno lukulu nnyo, kuba lwe lukuŋŋanya ebirowozo by'abantu ba Buganda bonna. N'olwekyo abakiise abalutuulamu bantu ba kitiibwa. Mu kiseera kino lutuulibwamu Ababaka abalondeddwa

Ssaabasajja, Abaami ab’Amasaza, Ababaka abalondeddwa okuva mu Masaza, Abakyikirira abakyala, Abakyikirira Abavubuka, Abakyikirira abaliko obulemu, n'ababaka abakyikirira emirimo egy'enjawulo. Olukiiko luno lukubirizibwa Omukubiriza (Sipiika) n'Omumyuka; era lulimu n'Omuwandiisi w'Olukiiko.