Obukulembeze mu Buganda

Nakku

Ono abeera mukyala wa Kabaka nga yeddira Ffumbe era ng'atuula Gganda mu Busiro. Nakku omuberyeberye yaliwo ku Kabaka Chwa Nabakka, era nga yali muwala wa Mutaka Walusimbi, eyaliko Katikkiro wa Chwa Nabakka.

Obukulu bwa Nakku bwava ku kubeera nti ye ne Katikkiro Ssebwana be basigala bakuuma Obwakabaka nga Kabaka Chwa Nabakka abuze, ate nga n'Omulangira Kalemeera awaŋŋangusiddwa, ate n'afiira mu kkubo ng'akomezebwawo. Era Nakku ono ye yateesa n'Abataka okunona Omulangira Kimera okuva e Bunyoro, ajje atuule ku Ntebe ya bajjajja be. Era ye yamwaniriza e Gganda mu Nsumbi Busiro, nga Ssebwana eyali akuuma Obwakabaka tategedde.

Oluwanga lwa Nakku omuberyeberye lukuumirwa Gganda mu Busiro. Obuganda bwe buba bwabya olumbe lwa Kabaka e Gganda, y'asooka okutema enkumbi mu Mbuga okutegeeza Obuganda nti olumbe luwedde abantu badde ku mirimo.

Nakku mukyala wa nnono nnyo mu Bwakabaka.