N'ono yatekebwawo mu ndagaano y'olwenda, okukuuma ensimbi z'emisolo egisasulwa mu Gavumenti Eŋŋanda, era nga y'akulira n'emirimo egikolebwa mu nsimbi ezo.
Katikkiro, Omulamuzi n'Omuwanika be baayitibwanga Abakulu Abasatu mu Bwakabaka bwa Buganda. Era bano be baakuumanga Obwakabaka nga ba "Regents" buli lwe kyaba nga kyetaagisizza.