Obuganda

Omukubiriza w’Olukiiko (Sipiika)

Buno obwami bwateekebwawo endagaano ya 1955, era ono y'akubiriza Olukiiko olukulu olwa Buganda. Edda olukiiko luno lwakubirizibwanga Katikkiro. Era endagaano eno yatondawo ne Baminisita abalala nga; ow'ebyobulamu n'emirimo, ow'ebyenjigiriza, ow'ebyobugagga ate n'oluvannyuma owa Gavumenti z'Ebitundu, nga tumaze okufuna obwetwaaze. Bano bonna wamu n'Abakulu Abasatu, be baayitibwanga Abeebitiibwa e Mengo.