Obuganda

Muzzaŋŋanda n’Obwesigwa

Ekimu ku by'obugagga Abaganda bye balina kyokka nga kati bakirinnyirira bwe buntubulamu. Ebyembi, obuntubulamu bugenda bukunguyizibwa obunnanfuusi oba enkwe! Ennono y'Abaganda eggumiza nnyo obuntubulamu, era nga muno mugenderamu muzzaŋŋanda n'obwesigwa. Empeera ya muzzaŋŋanda bwesigwa, ate n'empeera y'obwesigwa muzzaŋŋanda era nga bino bisuubirwamu abantu okujuna bannaabwe ku lw'obulungi bwa bonna. Abagagga ab'omutima omulungi baagala nnyo okukolagana n'abantu abeesimbu era abeesigwa.

Abagagga ab'omutima omulungi tebeesembereza n'akamu bantu batali beesigwa. Ensi yonna olwaleero eri mu kuyaayaanira bantu beesigwa kyokka nga tebakyalabikalabika. Ensonga eno ennono yali yagirambika dda ng'erijuna abaana n'abazzukulu. Mu Uganda mulimu emirimu egyetaaga okutandika ne ssiringi 1,000,000/= omuntu n'aviisaamu emitwalo esatu buli lunaku. Ne mu Buganda mulimu abantu abasobola okutuukirirwa ne batandikira emirimu egyo abantu abagyetaaga era nga nnyini nsimbi yeetaagako omutwalo gumu gwokka buli lunaku. Singa abavubuka Abaganda baali bakulaakulanyizza ekirungo ky'obwesigwa, ate nga bakozi, abavubuka bonna bandibadde n'emirimu. Lwaki Emirimu Egyo Abaganda Tebagirina? Kubanga Si Beesigwa!!

Bingi bwe tusobola okwongera okufumiitirizaako ne tutuuka ku buwanguzi nga twesigamye ku nnono yaffe. Twongere bwongezi kugitegeera.

Ku lwa Katonda n'ensi yange;

Anatole J. Kiriggwajjo ne Mutagubya A. Michael bombi basomesa ku Ssetendekero wa Makerere