Obukulembeze mu Buganda

Abeemiruka n’Abatongole

Abaami ba Kabaka bano baabanga ba kitiibwa nnyo, era nga balina obuyinza bungi ddala. Weewaawo Amasaza nga galimu emitendera;

  • Kaggo afuga Kyaddondo, nga ye Ssaabaddu w'Obuganda,
  • Mukwenda afuga Ssingo nga ye Ssaabagabo w'Obuganda.
  • Ssekiboobo afuga Kyaggwe, nga ye Ssaabawaali w'Obuganda,
  • Lumaama afuga Kabula.
  • Buddu afugibwa Pookino,
  • Butambala afugibwa Katambala,
  • Ssese afugibwa Kweeba, ng'aberamu abantu batono ddala. Wabula nga Ssese erina ebizinga ebisukka mu 64.