Obukulembeze mu Buganda

Nanzigu

Ono naye muka Kabaka, nga yeddira Mbogo. Nanzigu omuberyeberye yali muka Kabaka Nakibinge (Omulwanyammuli ). Obukulu bwe bwava ku kusuubiza nti ajja kukkiriza okuwaayo omwana we okuliwa omwana wa Wannema ow'e Ssese, eyamanyibwa nga Kibuuka, ssinga afiiranga mu ntabaalo ze Buganda. Baka Kabaka abalala bonna baatya okuwaayo abaana ba bwe. Kino ekisuubizo yakikola ng'ali lubuto. Wabula ebyembi yazaala mwana muwala, ate n'afa mangu. Ate Nakibinge ne Kibuuka baali bafiriidde mu lutabaalo. Abataka bakkiriza n'abafugako ekiseera nga Kabaka, nga bagoberera

ekiraamo kya Kabaka Nakibinge nti ateekebwangamu ekitiibwa kinene.

Tunajjukira nti Kabaka Nakibinge bwe yali aweebwa Ssaabalwanyi Ssekakozi Kyobe Kyomubazzi (ffe gwe twatuuma Kibuuka), Wannema yamukozesa endagaano nti singa omwana we Ssekakozi afiiranga e Buganda, Nakibinge yali wakumuliyirira omwana ye yennyini Nakibinge gw'azaala.

Mu kwebaza Nanzigu olw'okukkiriza okuwaayo omwana we, Nakibinge kwe yasinziira okulaama nti "Abaana n'Abazzukulu bange Nanzigu bamuwanga ekitiibwa kinene nnyo". Wabula olw'okuba omwana wa Nanzigu yali muwala, ate n'afa mangu, teyaweebwayo ewa Wannema.

Kabaka Mulondo yaweebwa abaana b'Omutaka Mukiibi, Ssemakula ne Namakula, ne bawundibwa bulungi, be baba bawebwayo ewa Wannema mu kifo ky'omwana wa Kabaka. Baabatala n'ejjoba ng'abaana b'eŋŋoma. Wabula Lubaale Wannema yabategeera era n'abaddiza Kabaka Mulondo. Ewa kitaabwe Mukiibi, baali tebakyaddayo olw'emikolo egyekirangira egyali gibakoleddwako. Baasigala mu Lubiri, era nagunogujwa Ssemakula (eyafuuka Ssebiiso) y'akuuma Nnamulondo. Ate Namakula yafuuka Nakijoba (kubanga baamutala ejjoba). Mukyala wa Kabaka mukulu mu Lubiri.

Oweek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Katikkiro eyawummula