Okwabya Ennyimbe n'Obusika mu Buganda

Ekifundikwa mu kusumika

Omusumisi ateekwa okwambala ekyambalo ekyamuwa obuyinza obusumika nga kye kifundikwa ekyamusumikirwa ng'alina omuntu omukulu gw'asikidde. Kino kitegeeza nti omwana bw'aba yasikira mwana munne tasobola kusumika ku lubu lwa bakitaabe.

Omusumisi aleeta olubugo ne lusalibwamu ekyuyi oba olwebajjo oba ekiwayi ekisumikibwa omusika. Omusumisi ng'amaze okulambika obuzaale bwe ate n'alambika n'obwoyo agenda okusika, alaga omusika olubugo lw'agenda okumusumika. Omusumisi aba akyakutte olubugo olwo mu ngalo ze ng'alumulaga. Bwaba tannamwambaza kifundikwa kino, amugamba ebigambo ebifaananako bino: Ekifundikwa kino kibeera ku ddyo. Gano ge makulu g'ekifundikwa: Ebyo byonna by❜osikidde gamba abaana, ab'ekika, ebintu, obuvunaanyizibwa n'okulwanirira ensi yo, bisibe wamu binywere nga ekifundikwa. Bikuume butiribiri ng'okozesa omukono ogusinga amaanyi.

Okufaanana ng'ekifundikwa naawe tokyukanga. Oluuyi olwo mu maaso lutegeeza nti ebirungi n'ebibi by 'osikidde ne by'onoowulira bikuli mu maaso era eyo gye bikulinze ate nga bigazi ng'obugazi bw'ekyuyi ky'olubugo ekyo. Nywera osobole okubiyitamu obulungi. Ekyuyi ekyo mu mugongo kitegeeza nakyo nti by 'oyiseemu, by'olabye

ne by 'owulidde nabyo bingi, ebirungi n'ebibi tobyerabiranga. Ebibi byesonyiwe wabula byonna bijjukirenga bibeere omumuli ogumulisa ekkubo gy❜olaga. Tosaanye kwerabira ate n'okudda mu bizibu bye wayitamu n'abantu bo.