Effumu likwasibwa omusika anti nazzikuno omuvubuka yenna eyabanga atuuse okufuna omubeezi ng'abeera mulwanyi kubanga Kabaka teyabanga na ggye ddwaanyi, wazira yakuŋŋaanyanga bantu olwo ne bakekeza ennyago. Effumu okusinziira ku biririko liraga bino wammanga:

1) Ekijugo: Ye eyo gye twandiyise

waggulu w'effumu awafumita. Wasala emirundi ebiri, ekiraga nti abantu bangi omusika baba asikidde abanaaleetanga ensonga mu maaso ge ajja kubalamula nga talina kyekubiira, ng'asala buli ludda n'amazima.

2) Omuwunda: Eyo nga ye wasemba ku ffumu, kye twandiyise amagulu oba okugulu kw'effumu. Kano nno ke kabonero akalaga nti omusika mu bukulu bwe bw'aba afunye ayimirira ku magulu ge n'asala ensonga yonna n'amazima ebeera ereeteddwa.

3) Olunyago: We wo awakwatibwa ng'effumu ligenda okukasukibwa. Ng'omuntu anaakasuka effumu, alikwata ku lunyago. Ennyago eyo eriko amakulu ga mirundi ebiri, nti lye litumwa ekitegeeza nti n'omusika asaanye abeere muwulize nti bwe bamutuma asaana okugenda buli wamu ku lw'ennyumba eyo. Kyokka mu lunyago olwo mulimu akawenda kasikattira. Kano ke kabonero akalaga nti nga omusika nga tannasalawo nsonga yonna ebeera emuleeteddwa asookanga kusirikiriramu ne yeebuuza mu mutima gwe oba ku mukulu omulala yenna olwo n'alyoka asalawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *