Obusika n'Ebyobugagga mu Nnono ya Buganda

Bya Rev. Fr. Lawrence Yawe Mudduse

Mu kusomesa kuno ngenda kugoberera olukangaga lw'emitwe gino: Eby'obugagga n'engeri gye byafunibwangamu mu Buganda. Ekiraamo n'ensonga eziyinza okuviirako ekiraamo okumenyebwawo, empagi z'obusika mu Buganda, ebitono ku lubuga, okwabya olumbe, ebigendererwa mu kwabya olumbe, ebibeera mu lumbe, ensonga ezitusuza mu lumbe, n'ebitonotono ku bikwata ku musika omukazi ate n'ekifundikwa.

i). Ebyobugagga byafunibwanga bitya mu Buganda?

Omwana omulenzi bwe yatuukanga okufuna omubeezi, kitaawe yamuwanga ekibanja era n'amusimbiramu n'emituba. Gino nno gye gyalaganga omulenzi ekibanja kye we kikoma. Kino nno kiyitibwa kibanja anti oyo nnyinikyo kimubanja ebintu bingi:

Naye ennaku zino "ekibanja" kiyinza okuba, omulimu oli gw'akola gwe yasomerera oba gw'alinamu obumanyirivu nga: munnamateeka, munnamawulire, omusubuuzi, omusomesa, omusawo, omuyimbi, omubazzi oba omuweesi. Obutetenkanya mu mirimu buyamba oyo agikola okufuna eby'obugagga.

Omuntu ng'amaze okufuna ebyobugagga, aba alina

okubikuuma. Edda, omuzadde omusajja yamanyanga nti abaana naddala abalenzi basobolera ddala okukuuma eby'obugagga bwe ne bw'aba nga avudde mu nsi, era abaana abo be baafuukanga abakuumi be bintu bya bakadde baabwe-ennaku zino kye twandiyise abaana okufuuka yinsuwa y'ebintu ebyo, nga ku mulembe gwaffe abantu bwe basobola okussa ebintu byabwe mu yinsuwa n'ebibakuumira era singa bituukibwako ekizibu, yinsuwa ebaliyirira.

Mu Buganda okussaako omusika kya nnono
Mu Buganda okussaako omusika kya nnono

ii). Ekiraamo

Newankubadde guli gutyo obudde butuuka nga tulina okuva mu nsi muno. Okwetegekera obudde buno, tuwandiika ekiraamo nga tulaga omusika n'engeri ebyobugagga bwaffe bwe tubigabanyizza mu baana; bwe gaba makampuni ne tulaga engeri gye ganaddukanyizibwamu. Mu kulonda omusika n'okugabanya ebyobugagga tukugirwa oba tuluŋŋamizibwa ennono, obuwangwa

n'obulombolombo.

Ennono ye nsibuko n'obuzaale bw'omuntu era kino kizingiramu ekika omuntu mw'ava wamu n'olulimi lwe.

Obuwangwa ze mpisa z'ensi ezitukuuma nga tuli bumu nga Abaganda. Zitwawula ku balala mu nneeyisa naye sso ssi mu nkolagana. Muno mulimu okuyingira mu kyama, okutta ekyama (okwanjula), okufumbirwa (okuwasa), okuwayira, okwalula abaana, okuziika, okwabya ennyimbe, okulaama, okutta omukago, okuyigga, okuzuuka enswa n'ebirala.

Eyasikira Obwa Kyeyune ng'ayanjulirwa Kabaka mu Lubiri e Mengo, 2017
Eyasikira Obwa Kyeyune ng'ayanjulirwa Kabaka mu Lubiri e Mengo, 2017

Obulombolombo ge mateeka agafuga ennono n'obuwangwa era agafuga ensi Buganda n'abantu baamu. Emizizo gyonna egikolebwa mu kwabya olumbe okuviira ddala mu nju gituukira ddala ku Kabaka kubanga Maasomoogi ye Nannyini bifundikwa byonna.

Oyo alaama, akugirwa ebyo waggulu. Kino kitegeeza nti ennono, obuwangwa n'obulombolombo birina okugobererwa mu kulaama ne mu ngabanya y'ebyobugagga by'omuntu. Kale nno singa omuntu agoberera ennono, obuwangwa n'obulombolombo ng'alaama, ekiraamo kye tekisaana kumenyebwa. Omufu byonna bye yaba yalaama bigobererwa era oyo gw'aba yalaamira okumusikira asika ate n'ebyobugagga ne bigabibwa nga ekiraamo bwe kyawandiikibwa.

Omugenzi bw'aba teyalaama, abeekika batuula ne balonda omusika; omwana omulenzi omukulu y'atera okulondebwa naye oyo ayinza okuba ng'obusika tabwagala. Bwe kiba kityo, balonda

amuddako.

Omugenzi bw'aba teyazaala mwana, muganda we ddala bwe bazaalibwa kitaabwe y'amusikira. Bwe waba tewali muganda we, balonda omwana wa muganda we ku lunyiriri kwennyini nga ne jjajjaabwe y'omu.

Omugenzi bw'aba teyalaama, abeekika baleka abo be yawa mu bulamu ne batwala ebyo bye yabawa mu bulamu. Tukimanyi bulungi nti, "Ky'ofa togabye, Walumbe yakigaba." Kale nno ebintu ebirala ebiba bisigaddewo bigabanyizibwa mu baana kyenkanyi awatali kugoberera nzikiriza oba ddiini oba mateeka ga nsi gonna. Ebiseera ebisinga obungi amaka gasigalawo nga omusika mwakuŋŋaanyiza banne anti bateekeddwa okukuŋŋaananga buli bbanga eggere.

Kyokka omufu bw'aba yalaama nga ekiraamo kye kikontana n'ennono, obuwangwa n'obulombolombo olwo kimenyebwawo. Zino ze zimu ku nsonga eziyinza okuviirako ekiraamo okumenyebwawo:

1.Taata okulaamira omwana we omuwala y'aba amusikira. Ennaku zino omuntu agenda n'alaba nti amenyese nnyo okufuna ebyobugagga. Olwo nno n'ayagala abaana be baba babisigalamu. Ekyo kituufu naye mu kukola ekyo, omuntu oyo asobola okutyoboola ennono, obuwangwa n'obulombolombo anti eyazaala abaana abawala bokka, yeesanga alonze omu ku baana be abawala amusikire. Kino kiva ku ndowooza nti obusika kitegeeza kufuna oba "kugwa" mu bintu ekintu ekitali kituufu! Anti obusika kuba kukuuma musaayi gwa kika. Aba alaamye bw'atyo aba yeerabidde ebintu bibiri: mu Buganda omwana omuwala (gannemeredde) tasikira kitaawe, tasikira mwannyina oba jjaja we omusajja. Kino kitegeeza nti omuntu tasikira bwe batafaanagana mu buzaale ne bwe baba ba muziro gumu. Omuwala tasikira kitaawe anti tebafaanagana mu butonde bw'obuzaale kubanga omwana omuwala tayinza kufuuka taata w'abaana ate n'omulenzi tayinza kusikira mukazi kubanga tayinza kufuuka ssenga/maama w'abaana.

Omukolo gw'olumbe gubaako abantu ab'enjawulo
Omukolo gw'olumbe gubaako abantu ab'enjawulo

2. Ekyokubiri: omukyala gy'afumbirwa n'azaalayo abaana y'ebeera ewaabwe. Kale mu Buganda kizira omuwala okugenda n'ekifundikwa ky'ekika ku buko. Agendayo na kifundikwa kya mukazi munne. Ky'ava asikira ssengaawe oba muganda we oba jjajjaawe (nga ono ye ssenga wa kitaawe). Abakyala tebawasa, bo bawayira buwayizi (anti 'bawaayirwa' mu kika ekitali kyabwe) ne bagenda. Awo nno omusajja ng'afudde asobola okusikirwa muganda we, omwana we omulenzi, muzzukulu we (ng'ono ye mwana wa mutabani we).

Bw'aba yazaala baana bawala bokka, olwo bw'alaamira muganda we oba omwana wa muganda we okumusikira aba wa ddembe okuwa ku musika ebintu n'atasikira musaayi busaayi ate abaana be abawala nabo n'abagabanya eby'obugagga. Ate nno ne bano abaana abawala ebintu bye basikidde bibeera bya Kika n’olwekyo balina kubiraamira ba Kika sso ssi baana baabwe be bazaala anti abo baba bajjwa, abatalina kugabana bya kika okuggyako okukooza obukooza ate era babeera ba muzizo, anti tebaziikibwa ku biggya bye bukojja.

Omuntu okulaamira Ssaalongo, Nnaalongo n'Omulongo. Bano nabo tebasika okuggyako nga asika ne gwe basikira Ssaalongo, Nnaalongo oba Mulongo. Awatali ekyo, ekiraamo kisazibwamu. Omuntu okulaamira eyakola amawemuukirano. Amawemuukirano gano gayinza okuba okwagala mwannyina n'amusobyako oba okusobya ku muntu omulala amuzira nga nnyina, ssengaawe, omwana we, kizibwe we. Ekiraamo kimenyebwawo.

3. Omwana okulaamira kitaawe. Omuntu tasikira mwana we oba oyo yenna ali mu lubu lw'abaana. Okulaamira omwana gwe baamenyerako olukanda. Omwana bw'ati aba yakwasibwa ekifundikwa kya jjajjaawe; tasikira kitaawe kubanga olwo ate omwana y'abeera omukulu.

4. Okulaamira atali mwalule. Embeera eno eviirako omuntu obutasika okuggyako nga bamala kumwalula.

Tusaanye tujjukire nti ensonga enkulu eteekesaako omusika, kuba kusikira musaayi gw'oyo aba yafa kyokka ate era n'asikira n'ebyobugagga. Omusika ng'asikidde ebyobugagga, taba na lukusa lutunda byabugagga ebyo okuggyako okuggyamu ensimbi okusobola okuyamba abo b'aba yasikira, n'okubikuuma olwo n'abaliddawo basobole okubiggyamu omuganyulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *