Olumbe lutandikira mu kutambuzibwa nga bonna abakwatibwako bategeezebwa ku musajja oba ku muzaana wa Kabaka eyafa. Lutwalibwa eri Owenju, ne lugenda eri Owooluggya, eri Owoolunyiriri, eri Owoomutuba, eri Owaakasolya ate n'ewa Ssaabataka Ssaabasajja Kabaka nayo ne lutwalibwayo. Okwo kwe kutambuza olumbe era emitendera egyo bwe giyitibwamu olumbe olwo luba luteereddwa Iwabizibwe anti luba lukakasiddwa nti ddala lutuufu okwabizibwa.

Okwabya olumbe kiva mu kwabuluza oba mu kwabya ensiisira abakumye olumbe ze baakungubagirangamu, era kitegeeza okusaasaanya abaabanga bakuŋŋaanye okuva omuntu lwe yabanga afudde. Abantu abajjanga mu masanja baabanga bangi nga tebasobola kugya mu Nju. Kye baavanga bazimba ensiisira ku luggya ne bakuma olumbe ne batandika okukungubaga.

Mu kwabya olumbe mwe tufunira omusika. Ekigambo musika ky'ava wa? Edda abantu baalwanyisanga ngabo n'amafumu. Mu kulwana kuno, ng'omunafu bamusikako engabo ye n'effumu, olwo ow'amaanyi ng'abikwata kugenda mu maaso na kulwana. Era omuntu bwe yafiiranga mu lutabaalo, abasigaddewo tebaalonzalonzanga nga basika ku afudde amafumu n'engabo, olutalo ne lugenda mu maaso.

Bwe wabeerangawo olutabaalo kyokka nga ssemaka mulwadde tekyaloberanga mutabani we kusikayo ngabo ya kitaawe n'agenda okutabaala. Ono omutabani bwe yatuukanga eri Omwami ng'ayanjulwayo nti, "Ono y'asise engabo ya musajja wo Ntensibe kubanga ye mulwadde."

Ekigambo kusika nga kiva okwo okutegeeza okudda mu bigere by❜oyo gw'oba osikidde. Oli akwata engabo ye n'atwala obuvunaanyizibwa bwe yabanga nabwo mu bulamu ng'aweereza ekika kye n'eggwanga lye. Ono azze mu bigere, omusika, agenda mu maaso n'okutabaaza engabo eyo okutuusa naye lw'aggya omukono mu ngabo eyo era naye n'asikirwa.

Ate amakulu amalala ag'ekigambo musika gaava wano: nazzikuno omuntu bwe yamalanga okuziikibwa nga Owenju awandiika ebintu by❜omufu byonna olwo ne bisibirwa awantu. Olumbe bwe Iwamalanga okwabizibwa ng'ebintu by'omufu biggyibwa gye byali biterekeddwa nga biteekebwa mu maaso g'abaana. Olwo nga buli mwana asika ekintu kyonna ekya kitaawe gamba ekkanzu, ekkooti, essaati- okusika kuno kwabeeranga nga ngeri ya kujugubanira bintu bya kitaabwe anti nga buli omu ayagala afune akabonero akanaamujjukizanga kitaawe. Olw'okuba nti abaana baasikanga busisi bintu, awo we waava ekigambo kusika era mu ngeri eyo abaana bonna baabeeranga basika. Tusaana tumanye nti eby'obugagga obw'ensibo nga ettaka, enju n'ebirala byagabibwanga mu kiraamo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *