Ebigendererwa mu kwabya olumbe

Ekigendererwa ekisooka era ekikulu ennyo mu kwabya olumbe kwe kufuna omusika. Omusika oyo alagibwa abeekyalo, abeekika, abaami n'Abakungu bamanye azze mu bigere by'omugenzi. Ekirala, mu kwabya olumbe ebintu by'omugenzi bikungaanyizibwa bireme kubbibwa; olwo abaana ne nnamwandu baleme kusigala nga beemagaza nga embwa erwazizza ginnaayo. Eky'okwabya olumbe kitangira abeekika abamu abanditutte ebintu by'omufu sso nga tebalina mulekwa gwe batutte kulabirira.

Omugenzi bw'aba yaleka amabanja basala amagezi gonna okugasasula ate nabo be yali abanja ne basasula. Mu kubanja. kuno, essira baalisimbanga ku baana b'omugenzi be yaleka mu nju ne be yaleka ebbali/ebweru balabe nga babakuliza wamu.

Ate mu nju bwe mwabeerangamu omwana atali wa mugenzi nga bamuwaayo mu beekika kye. Abaganda baalondanga abakuza abaalabiriranga abaana, nga abaana tebalekebwawo ttayo; abaana bwe baabanga abato (bwe baaweebwanga omukuza) baakulanga nga tebamanyi nti kitaabwe yagenda dda okulunda embogo anti abalunda ente badda.

Ezivaamu omukulu zangaala. Kale nno n'abaana ne bwe baba abakulu balekerwa omukuza, naye ono aba tabalabirira kukula wadde okubasalirawo ku bintu byabwe naye abeerawo nga abaluŋŋamya, abalambika, abakumaakuma.

Ekigendererwa ekirala kwe kuleeta emirembe n'obutebenkenvu anti omusika bw'assibwako olwo abo bonna (abaana n'abooluganda) ababadde bakayaana n'okusuubira obusika nga babimma amazzi, nga baweera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *