Ogwoto ogwo gukumibwa bajjwa era nga teguzikira. Gwe gufumbirwako buli kimu mu maka ago okutuusa ng'olumbe lumaze okwabizibwa. Kano nga ke kabonero akalaga nti amaziga n'okukungubaga biweddewo tutaddeko addidde omugenzi mu bigere newankubadde awava munno tewadda munno…