Okwabya Ennyimbe n'Obusika mu Buganda

Lubuga

Buli musika aba ne lubuga. Ono aba mukazi era bamusiba olubugo ate n'atuula ku lulala oluyitibwa omweranga. Aweebwa ekibbo nga ye nsawo ye ey'entandikwa. Oyo ye mukyala w'omusika. Lubuga abeera wa kika kya musika. Noolwekyo taba mukazi we mu bufumbo. Lubuga ono

ateekebwawo okujjukira omwana eyazazikibwa mu lusuku (gwe bayita omwana owookubiri omugenzi gwe yazaalibwa naye).

Ekirala ekiteekesaako lubuga kwe kutegeeza nti amaka gabaamu omukazi n'omusajja nga bayambagana. Kati omusajja bw'asikisa omwana we omuwala, olwo amakulu gano aga lubuga gavaayo gatya?

Lubuga bamujjukiza nga bwe basise ababiri. Amakulu ga kino ge gano: kwe kutereeza ekika ng'omusika yeebuuza ku munne bwe basikidde omugenzi.