Ebika by’Abaganda

Okukuuma Ennono kya Nsonga eri Obuganda

Bya Mutaka Kayiira Gajuule Kasibante F.D

Olukiiko lw’Abataka ba Buganda lwatuula ne lulaba nga waliwo ebitagenda bulungi mu Nnono zaffe. Lwasalawo okugenda mu lusirika olwatuula e Mugulu Ssingo mu Mbuga y❜Omutaka Kayiira, mwe Iwakubaganyiza ebirowoozo ne lukkiriziganya okwongera amaanyi mu kusomesa n’okwejjukanya eby’Ennono, Obuwangwa, Obulombolombo, n’Empisa.

Mu lusirika luno, Abataka baatunuulira ebintu bingi ebisoomooza Obuganda; nga muno mwe muli entaputa y’Ennono, Obuwangwa, empisa n’Obulombolombo ekifuulannenge. Emirundi mingi omuntu akkiririza mu nnono atwalibwa ng’atali wa mulembe, era omusamize, owa wansi oba alina endowooza y’ekikadde.

Omuntu amanya Ennono, Obuwangwa, Empisa n’Obulombolombo yeezuula mangu era aba munywevu mu kukkiriza n’okumanya Katonda we wamu n’okumussaamu ekitiibwa. Aba asobola okwawula ekirungi ku kibi, assa mu bantu banne ekitiibwa, amanya bw’ateekeddwa okutambula ne bantu banne, amanya ky’asaana okukola ne ky’atasaana kukola n’ebirala bingi.

Abataka kye twava tusalawo ttuttukize okusomesa abazzukulu, naffe okwejjukanya okw’omuggundu nga tuzuukusa ensonga z’ennono naddala ze tulaba nga ziseebengerera mu kiseera kino. Olw’obutamanya makulu makusike gali mu Nnono eyasibibwa Kabaka Kintu ne Bajjajjaffe Abataka abaaliwo mu kiseera ekyo, omulembe gwa Kintu we gwatandikira okuva ku mulembe gw’Ensi Muwawa. Mu nnono n’obuwangwa bwaffe, Kabaka Kintu n’Abataka Abakulu b’Ebika, ebintu byonna baabisiba bulungi nga buli nsonga esibibwa tekoonagana na ndala. Okugeza; Abakulembeze n’abaweereza nga buli omu alina obuvunaanyizibwa bwe bw’ateekwa okutuukiriza nga tayingidde mu bwa mulala.

Abakulembeze nga bateekwa kuba ba bifundikwa era nga ba nsikirano. Bano nga bavunaanyizibwa okukuuma, okulwanirira, okusomesa, n’okulambika ensonga ezikwata ku nnono n’obuwangwa bwaffe, n’okulaba nga bitambuzibwa bulungi. Mu bano mwe muli; Kabaka, Lubuga we, Nnamasole, Abataka abakulu ab’Obusolya, Abaamasiga, Abeemituba n’abalala.

Abaweereza be bayambi, oba be basiige abateeka mu nkola emirimu bakama baabwe abeebifundikwa gye baba babatumye okukola. Abaweereza abasinga si ba nsikirano, wewaawo nga ne mu bo mulimu ab’ensikirano, emirundi egisinga babeera bazzukulu nga bava mu bika eby’enjawulo.

Emirimu gy’Abaweereza mingi gya Nnono ebyokulabirako; okukuuma Ddamula – ono aba Katikkiro, si wa nsikirano naye alina obuyinza obumwawulizibwako Kabaka mu nnono.

Abaamasaza nga; Pookino, Mukwenda, Kasujju, Ssebwana; n’abalala bonna si ba nsikirano, kyokka ebifo byabwe bya nnono era bikulu nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda. Kaamuswaga Owessaza Kooki ye aba wa nsikirano mu ssaza eryo.

Lwaki tukuuma ennono n’okugitambulirako? Kituyamba okugabanya obuvunaanyizibwa n’emirimu mu Bwakabaka, nga buli muntu yeenyigira butereevu mu kukuuma, okutaasa n’okutumbula Buganda ng’ayita mu nnono yaffe;

Okukuuma ensikirano zaffe nga zitambula mu mitendera emituufu. Abasika nga ba lubu lumu, ekika kimu era nga ba kikula kimu, omusajja asikirwa musajja n’omukazi bwe gutyo. Wazuuseeyo abazzukulu abamu

Abaana nga basanyusa abagenyi mu Bulange, Mengo; mu Buganda amazina kya nnono
Abaana nga basanyusa abagenyi mu Bulange, Mengo; mu Buganda amazina kya nnono

abatandise okulaga abasika nga n’omulambo gukyali mu ddiiro oba nga baakava e magombe. Kino si kya Nnono ya Buganda; omuntu bw’afa, babikira abantu be era n’aziikibwa. Okuziika nga kuwedde, abenju batuula ne bakuma. olumbe mwe bakunnaanyiza bino; ekiraamo, abaana be (ba mulekwa), ebintu bye n’ebirala, era babikira abakulu mu mitendera egy’enjawulo mu kika ky’omugenzi;

Okukuuma empisa zaffe ez’obuntubulamu omuli enjogera, ennyambala, entambula, okuwasa n’okufumbirwa, okwogereza oba okukyala mu bazadde, ekizza ennanda, okuyigiriza abaana okulamusa abantu, n’ebirala.

Okukola emirimu kya nnono yaffe. Mu kiseera kino abamu ku bazzukulu baffe tebakyayagala kukola kuba tebatendekebwa, bakeera mu zzaala era ekivuddemu be bamu okwagala okufuna eby’obwereere n’okubba. Abakulu n’abavubuka basudde obuvunaanyizibwa ekivuddeko abasajja okuwasibwa, abakazi n’abawala okukuba obwamalaaya, ebitali bya nnono yaffe;

Obujjanjabi mu nnono nga okuyunga abamenyese, bamulerwa (abazaalisa abakazi), okugaba enzaalo, okukuula abaana amannyo, n’obujjanjabi bw’endwadde obulala. Abafere babiyingirira olw❜okwagala okufunamu ensimbi. Kino ne kituviirako okuvumirira abasawo baffe ab’ekinnansi, Katonda be yawa ebitone by’okuvumula abantu endwadde ez’enjawulo;

Obutonde bw’ensi bwonoonese olw’okusuula ennono, obulombolombo n’emizizo ebyali biziyiza n’okutaasa emiti n’ebifo ebimu eby’obuwangwa. Ku nsonga eyo, ensi yaffe eguddemu ekyeya, enkuba tekyayala, emmere tekyamala kulya na kutundako. Kaakano bazzukulu baffe baavuwadde ne baggwaamu essuubi;

Emikolo gy❜ennono gitaputibwa bubi. Abazzukulu abamu

balowooza nti buli mukolo gulina kutambuzibwa nga bwe baloowoza, ekitali kituufu. Mu nnono yaffe emikolo girina amakulu amakusike, tetuteebereza buteebereza. Emikolo giteekeddwa okukolebwa mu butuufu bwagyo, ng’ennono bw’erambika;

Enkuza y’abaana mu nnono yaffe erambikiddwa bulungi, twakizuula nga ebintu bikyuse nnyo, abaana bakuziddwa mu mpisa ngwira ekyeraliikiriza ennyo. Eky’okulabirako, olulimi Oluganda mu maka mangi terukozesebwa ate ng’amasomero agalusomesa, abazadde balaba nga ga mutindo gwa wansi. Ennyambala mu baana baffe abawala n’abalenzi mbi nnyo.

Abawala bambala nkunamyo, abalenzi empale bazisibira mu butuuliro. Tebakyamanyi kulamusa bantu. Byonna ebyo byetaaga kutereeza.

Ennono y’ Okuteesa egenda eseebengerera mu bazzukulu. Kaakano, buli nsonga yonna baagala kugitwala mu kkooti naddala enzungu. Mu maka, mu masomero ne mu bika, ennono y’okuteesa ekendedde nnyo songa awabeera okuteesa wabeerawo okukkaanya n’emirembe, kino kiviiriddeko n’okulwanagana era mpozzi n’okwawukana mu bantu ku mitendera gyonna.

Mu Buganda, kya nnono omuntu okuba omuyonjo nga tutandikira mu maka ne ku mibiri gyaffe. Mu nju nga muteekwa okubaamu ekitanda, omufaliso, ebyokwebikka, ensuwa omussibwa amazzi aganywebwa, olweyo n’ebiringa ebyo.

Effumbiro eriyonjo, kaabuyonjo, oluggya olwerebwa buli lunaku, akatandaalo byonna bya nnono mu Buganda. Enzizi nga ziba ngogole ate nga ziriko emizizo gyakwo egyakuumanga obuyonjo. Enkola ya Bulungibwansi. yayambanga nnyo okuteekateeka abantu baffe mu nsonga zino;

Mu nnono yaffe abantu baasobolanga okwewummuza nga bazannya emizannyo egy’enjawulo okugeza; Omweso, Ssekitulege, Enkuyo, Ekigwo, Goggolo n’emirala; Era mu kwewummuza, baakubanga ebivuga nga bwe bayimba. Ebivuga bino mwe muli; Ennooma, Endingidi, Amadinda, Ensaasi, Endongo n’ebirala. Bino byonna byabayambanga okwewummuza, ne basobola okulowooza n’okwefumintiriza ku bintu bingi, ekyabaviirangamu okuvumbula n’okussaawo enkolagana eya nnamaddala ne bannaabwe;

Okugaba n’okugabula bya nnonno mu Buganda. Ku mulembe guno, bazzukulu baffe bakodo nnyo. Tebalumirirwa bannaabwe n’enkolagana mbi kubanga buli omu yeefaako yekka, kino kireeseewo obutayagalizaganya. Nazzikuno ng’omuntu bw’akungula, ng’awerezaako mulirwana we. Obumu buno bwazimbanga obwasseruganda mu bantu ne ku kyalo kyonna.

Amannya mu Buganda gaatuumwanga mu Nnono, naye mu kiseera kino bazzukulu baffe bagenda bakkopa ennono y’ekizungu, n’osanga abaana abenju emu nga bonna beeyita linnya lya Kitaabwe. Ekyokulabirako; Bbosa, abalenzi ne beeyita Bbosa n’abawala nabo bwe batyo, wano olemwa okwawula muka nnyinimu

n’abawala b’awaka. Anti bonna be bamukyala Bbosa. Emirundi egimu weesanga nga kitaabwe mulongo, okugeza Omulongo Kato/Wasswa, abaana be ne beeyita batyo. Kino kya bulabe. Tusaana tutuume amannya g’abawala eri abaana abawala n’abalenzi tubatuume ag’abalenzi. Ate abatali balongo tebatuumwa mannya ga balongo.

Ebyemizizo mu nnono yaffe bikulu nnyo kubanga bituyamba okwewala ebintu bingi ebisobola okutuviiramu ebizibu, okugeza; obuko, ebivve amawemuukirano, okuboolagana, obukyayi, endwadde, obugayaavu, ebikolwa eby’obuseegu n’ebirala bingi. Egimu ku mizizo gye gino; tokwata kizibwe mu ngalo oba mu kiseke (wakati w’omukono n’ekibatu), mukaamwana tomukwata mu ngalo wadde

okumusemberera, mukaamwana tayita mu luggya wakati, teweebaka mu luggya enjuba kukubuuka, teweebaka mboleera n’emirala. Emizizo gyonna girina ekigendererwa okutangira akabi akasobola okuva mu bikolwa ebyo.

Empisa y’okudduukirira bannaffe abagudde ku buzibu yetaaga okunnyikiza, ate abo abadduukiridde abafunye obuzibu baleme okubanyaga obunyazi. Era n’okudduukirira enduulu nga bwe gwali edda. Empisa eyo nayo yetaaga eddemu okukolebwa;

Ensalo za Buganda nazo za nnono. Tusaanye tuzikuume butiribiri okulaba nga tewali azizannyirako. Mu nsalo zino mwe musangibwa ebifo byaffe eby’ennono ng’embiri, embuga z’ebika byaffe, Amasiro ga Bassekabaka, ebifo by’ebyobuwangwa, ebintu eby’enkizo, emigga, ebibira omusangibwa emiti egimu nga gya ddagala n’emirala egy’obuwangwa. Ensalo zino zikolebwa amasaza 18 agamanyiddwa obulungi awamu n’obwami bwago, abaamasaza, abeggombolola, abeemiruka n’abatongole.

Ssaabasajja Kabaka yasiima wabeerewo emisomo ku nnono, Empisa n’Obuwangwa bwa Baganda buli mwaka. Omusomo guno gutegekebwa olukiiko lw’Abataka abakulu ab’Obusolya nga bali wamu n’Ekitongole kya Kabaka Foundation. Tusaba abantu baffe bagujjumbire.

Awangaale Ssaabataka.