Obuwangwa, okufaananako ne bye tulabye waggulu, nsonga etatera kutegeerwa bulungi; n'okusingira ddala, tetera kutegeerwa bumu. Mu ngeri ye emu nga bwe tuzze tubembula empola obutonde okutuukira ddala wano, obuwangwa ye nkolagana wakati w'omuntu n'obutonde. Ebitonde byonna birina obuwangwa bwabyo mu butonde, n'okusingira. ddala omuntu. Obuwangwa busobola okubeera obw'omugaso naddala eri abantu, abantu bwe basalawo bube bwe butyo. So era obuwangwa busobola okuzikiriza, era abantu bwe basalawo bube butyo. Ezimu ku nsonga z'obuwangwa ziyinza okudibizibwa, ate endala ne zitumbulwa. Obuwangwa bwe butyo nno busobola okubeera obw'edda oba obw'omulembe omuggya. Obuwangwa bugabanibwa okusinziira ku bwetaavu mu kiseera ekibaawo. Sso n'obuwangwa obumu busobola okubuutikira bunnaabwo okusinziira ku ngeri abantu gye bakolaganamu n'obutonde, naddala obutanuzi.

Nga bwe tutera okulaba, obuwangwa nsonga ya muwendo nnyo mu kwoleka olujegere lw'enkolagana wakati w'omuntu n'obutonde. Kyova olaba abantu abaliraanye ennyanja obuwangwa bwabwe bwogerwako nga obw'abalunnyanja. Ate abantu abeesudde ennyanja kyokka ng'ettaka lyabwe lisobola bulungi okubalako emmere, obuwangwa bwabwe buba bwa balimi, n'ebiringa ebyo. Awo nno obuwangwa si bwe bumu. Ekyawula obuwangwa bw'abantu abamu okuva ku bw'abalala ye nkolagana ennambike obulungi n'ebintu ebyo bye tumenyedde mu butonde. Kyova owulira nti buno obuwangwa bwa Baddugavu, buno bwa Bazungu, buno bwa Bayindi, buno bwa Bacaayina, buno bwa Baganda n'ebirala ebiringa ebyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *