Ebika by’Abaganda

Ennono y’Abaganda yeetaagibwa?

Ennono y'Abaganda yeetaagibwa?

Ennono ye nteekateeka erambika obulungi enkolagana y'abantu n'obutonde. Enteekateeka eno esibukira mu bumanyirivu bw'abantu ab'obuwangwa obw'engeri emu ku nkolagana yaabwe n'obutonde. Ate, eba esobola okuwanirira abantu be kikwatako mu kiseera kyenkyukakyuka. Ennono y'Abaganda bw'etyo ezingiramu okumanya n'okutegeera kw'Abaganda, amateeka gaabwe, emirimu n'enkola yaagyo, enteekeranya y'embeerabantu, enneeyisa yaabwe, olulimi lwabwe n'enkulaakulana yaabwe, naddala mu byenfuna nga bitabibbwa ku butonde.

Ekibeezaawo ennono y'Abaganda kwe kusobozesa Abaganda ab'emirembe egijja giddiriŋŋana okwaŋŋanga ebibasoomooza. Obusobozi buno busimba ku kutegeera n'okweyambisa obulungi amateeka g'obutonde obutanuzi, amateeka agafuga enkolagana y'Omuganda n'obutonde bw'ensi, kw'ossa n'amateeka agafuga embeera y'Omuganda ne muntu munne. Ennono nsonga nkulu nnyo, kubanga y'eganya abantu bannyiniyo okufuga obutonde n'obuwangwa, oba byo okubafuga. Obuwanguzi bw'Abaganda buli mu kutegeera bulungi nnono eno wamu n'okuginnyonnyola abaana ne bazzukulu baffe nga kw'otadde n'okubannyonnyola obukulu bw'obutonde obutanuzi, obutonde bw'ensi yaabwe, wamu n'okulambika obulungi enkolagana y'Abaganda ne bannaffe. Muno mwe muva amaanyi agatusobozesa okutuuka ku ntikko. Bwe katanda Abaganda ne tulemwa okutegeera n'okunnyonnyola abaana ne bazzukulu baffe ebintu bino byonna ng'olwo emiteeru gy'obwavu, okubundabunda, emirerembe n'okusaanawo bitwolekedde.

Obusobozi bw'okufuga embeera zino obusibukira mu nnono yaffe (Abaganda) bwe butuyamba okukenga amangu enkyukakyuka ezijja mu butonde bw'ensi, okuzikolako mu bwangu, wamu n'okutaasa abantu baayo

Omutaka Mukalo Omukulu w'Ekika kye Njovu nga alambuza Abataka b'Obusolya, olusuku ku butaka e Kambugu mu Busiro
Omutaka Mukalo Omukulu w'Ekika kye Njovu nga alambuza Abataka b'Obusolya, olusuku ku butaka e Kambugu mu Busiro

Ennono ye etusobozesa okweyambisa obutonde obutanuzi ne tubuganyulwamu. Okufuga obutonde kwe kumanya n'okukozesa obutonde mu ngeri etebusaanyaawo ate nga bwe tubuganyulwamu. Ekirala, tuteekwa okwongera endasi mu butonde obutanuzi tusobole okwongera okubweyambisanga obulungi. Okugeza, tusobola okweyambisa Ennyanja Nalubaale, Omugga Kiyira, emigga, enzizi, ensulo n'ebintu ebirala ebiri mu bitundu gye tusibuka ne bisigalawo nga tetubyonoonye. Abaganda tusobola okweyambisa enjuba, omwezi, emmunyeenye, embuyaga, enkuba, enjazi oba ettaka mu ngeri esinga okuba ey'omuganyulo. Abaganda, tusobola okwongera embavu mu butonde era ne tubweyambisa nga bwe buli lubeerera.

Ennono y'Abaganda y'esobozesa buli Muganda okufuga, okweyambisa obulungi n'okukulaakulanya obutonde bw'ensi. Obutonde buno njagala tuleme kubwawula ku muntu, wabula naye abeere kimu ku bibalirwa mu butonde obwo. Mu ngeri eno Abaganda ab'edda baasobola okubangawo enkolagana wakati waabwe n'Obutonde bw'ensi. Muno mwe mwava enkola ya bulungibwansi. Nate mu ngeri eyo mwavaamu emiziro n'ebika, obulombolombo ko n'emizizo. Ate tetuyinza kubuusa maaso amagezi g'okweyambisa obutonde mu ngeri ez'enjawulo ko n'amateeka agafuga enneeyisa y'Omuganda ku butonde ne ku bantu banne.

Eby'okulabirako:

  • Olw'obwetaavu bw'okukuuma n'okutaasa ebimera n'ebisolo okusaanawo, ennono yagunjawo engeri y'okulima n'okulunda olw'okwaza ebirime n'ebisolo.
  • Olw'obwetaavu bw'okutumbula ebyenfuna, ennono yassaawo emirimu gy'ebika mu lubiri.
  • Olw'okunyweza obwannannyini obutebenkedde ku ttaka, ennono yassaawo obutaka mu bika, mu bwami ne mu bantu kinnoomu (ku lwa bonna).
  • Olw'obutebenkevu bw'Abaganda, ennono yassaawo obukulembeze bw'enjawulizwa, obuyungibbwa ku Kabaka gamba nga amasaza ga Buganda, n'ebika.