

Okuva ku kkono; Maweesano – Omukulu w'Ekika kya ŋŋaali, Kyaddondo – Omukulu w'Ekika ky'Envuma, Ssaababiito Kibulala – ow'Abalangira n'Abambejja ab'Ekibulala, Kayiira Gajuule – Omukubiriza w'Olukiiko lwa Bataka b'Obusolya era Omukulu w'Ekika ky'Embogo, Omuzzukulu Ssaalongo Kawuuki, Eddie Kaggwa Ndagala – Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Nakigoye – Omukulu w'Ekika ky'Ekinyomo
etuuka ku mugigi oguddako era ab'omugigi ogwo bagoberera ebyo bye tubagamba. Olwo ne bamanya nti omukulu w'ekika ky'Ennyange ye Mbaziira, kwe kugamba okukola ebyo ebituufu, bye tuteekeddwa okukola ate ne tubikwasa abalala nabo babitegeera era ne babikwasa abo abaliddawo.
Ekibuuzo: Olowooza mu myaka 100 okuva leero Obuganda buliba bufaanana butya?
Okuddamu: Emyaka 100 okuva kati ndowooza mingi nnyo, wabula bwe tuba tukoze bulungi ebyo ebitusuubirwamu, ne tuweereza bulungi Kabaka waffe, tewali kubuusabuusa Buganda ejja kuba yeegombesa era nga yeyagaza buli alibeerawo. Kino kiri mu mikono gyaffe naddala ffe abakulembeze okulaba nga bazzukulu baffe baddamu nnyo amaanyi okulaba nga bakolerera Obuganda obujja busobole okuba
nga bweyagaza abo abalibeerawo.
Ekibuuzo: Bubaka ki bw'olina eri abavubuka mu Buganda?
Okuddamu: Obubaka bwe mpa abavubuka mu Buganda kwe kulaba nga bagoberera ebika byaffe n'emirimu gyonna egikolebwamu era nga bajjumbira ebitegekebwa mu bika bino era babisseeko okwagala okw'enjawulo nga bamanya nti kye bakola kyabwe kya bwebange, nga kisaanidde okukuumibwa ku lwabwe ssaako n'abo abaliddawo. Wabula kino kyonna okukisobola, walina okubaawo obunyiikivu, okwagala, okumanya n'okutegeera.
Ekibuuzo: Singa abavubuka baba tebasobodde kujja mu misomo egitegebwa olwo tukole tutya?
Okuddamu: Abavubuka bwe
baba tebasobodde kujja ku misomo, kye nkoze kwe kuyita abavubuka bano bajje ku butaka bamanye abataka. Si nze nzekka wabula n'abalala nga abaamasiga, ennyiriri n'abakulu abalala nga bwe bajja baddiriŋŋana era n'ebikolebwa buli mukulembeze, nabo basobole okubisomesa
abaana baabwe.
Ekibuuzo: Waliwo obubaka bwonna oba tugambe akatalekeka?
Okuddamu: Obubaka obulala, bwe nnina eri abantu ba Buganda bonna kwe kujjumbira emirimu gyonna egikolebwa embuga kati nga bwe twabadde ne Bulungibwansi oba kati nga bwe tulina omusomo, tubeeyo ate tukole ebyo ebirina okukolebwa, awo Nnamulondo ejja kunywera, era ffenna etuweese ekitiibwa mu nsi yonna.
Kyembe Tom
Mukozi mu Kabaka Foundation.