Omusajja bw'afa ayinza okusikirwa omu ku bano: omwana we omulenzi oba muzzukulu we ow'omwana we omulenzi. Bw'aba teyazaala mwana, muganda we ddala bwe bazaalibwa kitaabwe y'amusikira. Bwe waba tewali muganda we, balonda omwana wa muganda we ku lunyiriri kwennyini nga ne jjajjaabwe y'omu.
Omukazi bw'afa ayinza okusikirwa bano: muganda we, omwana wa mwannyina oba muzzukulu we ow'omwana omulenzi mwannyina gw'azaala.
Omuntu asikira wa muziro gwe; atali wa muziro gwo tomusikira. Omuntu tasikira bwe batafaanagana mu buzaale ne bwe baba ba muziro gumu. Kale olw'obutonde bw'obuzaale omwana omuwala (gannemeredde) ky'ava tasikira kitaawe. Gannemeredde asikira Gannemeredde ne Nnaatuukirira asikira Nnaatuukirira.
Ssaalongo, Nnaalongo n'Omulongo tebasika okuggyako nga be basikira nabo baali batyo. Atasikangako tasumika. Ssaalongo (mu mbeera eya bulijjo) tasika naye asumika.