Eno ye nsiisira ebeeramu omusumisi era obutafaananako n'ensiisira zonna ezibeera mu lumbe, ensiisira eno (lwayaba) yo tekandulwa oba teyabizibwa bajjwa esigalawo okutuusa lw'egwa yokka. Esigalawo nga akabonero akalaga abayise nti nnyinimu yafa era n'olumbe lwamala okwabizibwa- "lwayaba"- ate era nga singa wabeera omuzzi oba owooluganda ataaliwo mu kufiirwa oba mu kwabya olumbe nga bw'ajja tayingiza maziga mu nju, wazira agenda mu nsiisira eyo mw'akaabira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *