Babamwako enviiri, akabonero akategeeza nti okukungubaga kuwedde, emirimu girina okuddamu okukwajja ate nnamwandu bw'aba akyalimu eriiso wa ddembe okufumbirwa. Bw'aba omulangambi (omusajja eyafiirwako mukazi we) naye wa ddembe okwefunira omubeezi. Mu kwabya olumbe mubeeramu okumanyagana anti buli yenna akwatibwako ajja. Kino kyongera abantu okumanyagana, okukolera awamu, okuyambagana ate ne kiyamba n'abaana obutafumbiriganwa. Olw'okuba abantu be kikwatako bakuŋŋaana bangi, okwabya olumbe kuleetera ab'eŋŋanda okulaba bamulekwa. Olwo bamulekwa abo (bwe baba bato) ne bagabanibwa anti baba bakyetaaga obuyambi bungi ddala oba ne balonderwako abakuza nga bwe tugambye waggulu.

Tuyigiramu ennono, obuwangwa n'obulombolombo ng'okusumika n'abajjwa okukooza. Ebyokulabirako: 1). Bamulekwa ne nnamwandu batuula ku kifugi ng'omusika ateekebwako. Okussaako omusika bwe kuggwa, abaana babikkibwa olubugo jjajjaabwe ne batwalibwa okunaazibwako amaziga nga babasalako enjala n'enviiri.Ye omusika aba yasaliddwako dda enviiri nga tanateekebwako. 2). Namwandu akaayanirwa bannyina ne balamu be; bannyina nga be bako baba baagala okumuzzaayo ewaabwe anti eyamuleeta mu bufumbo aba yafa nga n'olumbe lwabiziddwa ate balamu be nga bamwagala asigale mu baana, abalamulenga. Singa abako baamutwalanga, balamu be baabanga balina okumununula nga bawaayo embuzi.

Kiyamba okumanya ensibuko n'ennyiriri; okumanya n'okulaba abakulu ababatwala mu kika be bawa ensiisira zaabwe. Kale nno oyo abatamanyi nfuga ya bika ennuŋŋamu wamu n'Obuganda agimanyira mu kwabya olumbe. Ab'ekika bakuba olukiiko lw'ekika mu kiro ky'okusula mu lumbe nga bagenderera okumerengula ensonga ezikwata ku kiraamo ne ku kika kyonna. Olwo lwe baagera ne lutuukirira nti, "Abataka mbizzi zikkuta kiro."

Bwe wabeerawo abakaayana, nga ensonga abeekika bazitunulamu era eyasingibwanga yasalirwanga embuzi oba ekita ky'omwenge ssaako n'okufumba ekijjulo nga engassi.Ng'olwo obwasseruganda buddawo.

Kwe kumanya okutambula nga Abaganda. Asumika atambula nga omusajja Omuganda ate n'abo abasumikira bakola kye kimu.

N'ebirala nkumuuliitu. Ebitonotono ku Musika Omukazi Nga sinnaba kutandika kulombojja bya kifundikwa njagala okubajjukiza nti omusika omukazi ayambazibwa lubugo okutuukira ddala mu kifuba. Taweebwa kifundikwa kubanga abeera asikidde mukyala era bwe kityo tafundikira nsonga za mu nju omwo.

Omusika omukazi taweebwa ffumu wabula akambe akayitibwa mukazitatuma era kano ke kambe akaganda. Akambe kano ke kabonero akalaga nti mu maka omukazi tatuma wabula y'aweereza emirimu gyo mu maka gyonna. Akambe ako keewetako waggulu ekiraga nti omukazi Omuganda ng'aweereza emirimu gyo mu maka alina okwewetako "n'atalalambala ng'eryambe ezziba".

Omusika omukazi aweebwa ekibbo nga ke kabonero akalaga nti engeri gy'afuuse omuzadde alina okukola emikolo maama wo mu maka gye yali akolera abaana be. Era omulimu gw'ekibbo omukulu kwe kwalula abaana anti abaana baalulirwa mu kibbo.

Aweebwa n'olwendo olukozesebwa mu kusena amazzi mu nsuwa olw'okukuuma obuyonjo mu maka anti okusena mu nsuwa n'ekikopo kireeta okutoga mu mazzi olwo ne kivaako endwadde, ate ng'abayise alina okubawa ku lwendo lw'amazzi ne batagenda nnyonta kubanga mu nju temuba kkubo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *