Okwabya Ennyimbe n'Obusika mu Buganda

Lwaki tusula mu lumbe?

  • Okusobola okukeera ennyo okufulumya olumbe
  • Okukeera okuzikiza ssessiriiza, anti ezikizibwa olumbe lwakamala okufulumizibwa olwo Omukulu w'Oluggya n'asuulako enkejje n'alaamiriza nti, "Olumbe lwa muzzukulu/ muganda wange gundi… ne ez'ebibamba zonna wamu ne ez'embuto ezaavaamu nzabirizza wano, era okumanya nti olumbe lwa gundi ndwabizza, n'enkejje eyamwalula esiridde."

Amangu ago olumala okusuula enkejje mu gwoto ng'abajjwa baguggyawo, ebisiki nga bizikizibwa era ne bikasukibwa mu ngeri egamba nti olumbe tuluwonye lwabiziddwa. Olwo enkeera nga bamaze okulima ebiggya bakuma ekyoto ekirala ebbali w'oluggya lubuga kw'afumba emmere ey'omuzzo, nga ge matooke g'eminwe omutali munnyo.