Omusumisi ng'amaze okukalaatira omusika ebigambo ebyo ate obudde butuuka n'amwambaza ekifundikwa. Tusaanye tumanye nti ekifundikwa eky'ennono mu Buganda kibeera ku mukono gwa kkono. Kino kibeera ku Kabaka n'Abataka ab'Obusolya bokka kubanga be banannyini Nnono. Ekibeera ku gwa ddyo kabonero ka bukulembeze, anti buli asika aba mukulembeze. Awo nno buli asika ekifundikwa kibeera ku ddyo nga kimujjukiza okulamula era n'okukulembera ab'enju ye, Olunyiriri lwe, Omutuba gwe oba Essiga lye.
Omusumisi ng'amaze okwambaza omusika ekifundikwa tamuviirako awo. Agenda mu maaso n'okumukuutirira ebigambo ebifaananako bwe biti: Beeranga musajja wa mazima, mwesimbu, amanyi abantu, akolagana ne banne, akwana emikwano emirungi, eginaabeeranga naawe mu bulungi ne mu bubi anti, "Munno mu kabi…" Beeranga n'omutima ogusonyiwa, ogutereka ebyama, oguwuliriza ensonga, ogutalwana, ogutasiba busungu, ogusalawo mu mazima ng'omaze okuwuliriza buli ludda n'olondamu omulamwa. Omusumisi agenda mu maaso n'okukuutira omusika mu ngeri efaananako bw'eti: Oyagalanga abantu; oyagalanga baganda bo anti, "Oluganda nkovu…" Banno obayambanga, obamaliringa ebizibu byabwe, tobajuzanga, oyagalanga
abagenyi n'obawa ekyokulya n'okunywa, onyumyanga n'abo. Okyaliranga abantu, oziikanga, okubagizanga, oyabyanga ennyimbe era ogendanga mu nkiiko z'ekika. Omanyanga abakulu abakutwala mu kika okutuukira ddala ku Ssaabasajja Kabaka era okuumanga obuwangwa bwaffe anti ebyo bye bikufuula Omuganda omujjuvu eyeesigika, bikufuula muntumulamu.
Oweerezanga gavumenti, owanga omusolo; beera omusajja omukozi ennyo; toddanga mu kulera engalo bw'otyo oyongere okuzimba enju sso ssi kugoba nnamwandu mu nju, era ssi kutunda ttaka n'ebyo by'osanzeewo. Ebyo by'osanzeewo bikuŋŋaanye obyongereko sso ssi kubisaasaanya. Obeeranga n'ensawo erimu ejjamba anti, "Ensawo y'omukulu tebulamu zziika."
Obeeranga mwesigwa, atatuulira mazima anti bw'ogatuulira gakufumita n'ogaviira ne galabika, ate tegakyuka ne bwegayita mu kyoto go tegasiriira.